Jump to content

Peter Ogwang

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Peter Ogwang (yazaalibwa 15 Omwezi ogwekkumineebiri 1983) munnayuganda munnabyabufuzi . Mu kiseera kino ye minisita omubeezi ow'ebyemizannyo mu kabineti ya Uganda .Yalondebwa ku kifo ekyo nga 22 Omwezi ogwomusanvu 2022, n’adda mu bigere bya Denis Hamson Obua. Emabegako, yali Minisita omubeezi ow’okulondoola ebyenfuna [1] era emabegako yali aweerezzaako nga minisita omubeezi ow’amawulire, empuliziganya, tekinologiya w'empuliziganya (ICT) n’okulungamya eggwanga. [2] N'era ye mubaka wa paalamenti omulonnde ow'essaza ly'e Usuk mu disitulikiti y'e Katakwi, mu paalamenti ey'ekkumineemu ( 2021-2026 ). [3]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ogwang yazaalibwa nga 15 Omwezi ogwekkumineebiri 1983 mu disitulikiti y'e Katakwi. Yasomera ku ssomero lya pulayimale erya Moruapesur Primary School . Yasomera ku somero lya siniya erya Soroti Secondary School ku misomo gye egy'omutendera gwa siniya eyokuna ( O-level ), naafuna satifikeeti ya Uganda emalako omutendera gwa siniya eyokuna O-level okuva eyo. Yakyuka n'agenda mu Tororo Progressive Academy, gye yamalira emisomo gye egy'omutendera gwa siniya eyomukaaga (A-Level) , naafuna satifikeeti ya Uganda emalako omutendera gwa siniya eyomukaaga , mu 2001. [3]

Alina satifikeeti ne dipuloma mu by’emirimu n’okuddukanya embeera z’abantu, zombi nga zaamuweebwa ettendekero lya Makerere Institute for Social Development (elikolaganira awamu n'ebbanguliro lya Makerere yunivasite ery'ebyobusuubuzi erya Makerere University Busines School ). Omwezi ogwokubiri 2020 wegwatuukira , yali asoma ddiguli esooka mu mbeera z'abantu n'okubakulembera okuva mu yunivasite ya Victoria University . [3]

Abasajja basatu ab'ensonga mu Uganda, Justus Mugisha (ku kkono), Hon. Peter Ogwang (wakati) ne Christopher Mugisha Banage (ku ddyo) akulira kkampuni ya USSSA
Peter Ogwang In a Group Photo
Peter Ogwang Mu Kifaananyi ekya wamu

Okuva mu 2007 okutuuka mu 2010, Ogwang yakolera mu State House nga Assistant Private Secretary wa Pulezidenti wa Uganda. Mu 2011, yavuganya bulungi ku kifo kya Palamenti y’abavubuka mu buvanjuba bwa Uganda, ku tikiti y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement ekiri mu buyinza. Yawangula era n’akiikirira abavubuka mu Palamenti ey’omwenda (2011-2016). Mu 2016, yalondebwa okuba omubaka wa Usuk County era ye mubaka ali mu ntebe. [3]

Mu nkyukakyuka ya kabineti, nga 14 Omwezi ogwekkumineebiri 2019, Peter Ogwang yalondebwa ku kabineti. [4] Oluvannyuma lw'okukakasibwa paalamenti, yalayira nga minisita omubeezi ow’amawulire, empuliziganya, tekinologiya w'empuliziganya (ICT) n’okulungamya eggwanga, nga 13 Omwezi ogusooka 2020. [5]

Ebimukwatako ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Peter Ogwang mufumbo. [3]

Emirimu gya paalamenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Alina obuvunaanyizibwa bwa paalamenti obulala buno wammanga : Mmemba ku kakiiko akakola ku nsonga z'obwapulezidenti era nga ye mmemba ku kakiiko ka paalamenti akakola ku mbalirira. [3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kazibwe, Kenneth (2021-06-25). "Peter Ogwang assumes office as State Minister for Economic Monitoring". Nile Post (in American English). Retrieved 2022-07-27.
  2. Administrator (14 December 2019). "Museveni Reshuffles Cabinet". New Vision. Kampala. Retrieved 7 February 2020.
  3. Parliament of Uganda (2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Ogwang Peter". Kampala: Parliament of Uganda. Archived from the original on 29 April 2021. Retrieved 7 February 2020.
  4. Daily Monitor (14 December 2019). "Museveni Shuffles Cabinet, Drops Muloni, Appoints Magyezi". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 7 February 2020.
  5. "New ministers take office". New Vision. Kampala. 13 January 2020. Retrieved 7 February 2020.
  1. Kazibwe, Kenneth (2021-06-25). "Peter Ogwang assumes office as State Minister for Economic Monitoring". Nile Post (in American English). Retrieved 2022-07-27.
  2. Administrator (14 December 2019). "Museveni Reshuffles Cabinet". Kampala. Retrieved 7 February 2020.
  3. 1 2 3 4 5 6 Parliament of Uganda (2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Ogwang Peter". Kampala: Parliament of Uganda. Archived from the original on 29 April 2021. Retrieved 7 February 2020. Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  4. Daily Monitor (14 December 2019). "Museveni Shuffles Cabinet, Drops Muloni, Appoints Magyezi". Kampala. Retrieved 7 February 2020.
  5. "New ministers take office". Kampala. 13 January 2020. Retrieved 7 February 2020.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]