Jump to content

Peter Waiswa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Peter Kyobe Waiswa (yazaalibwa 29 Omwezi ogwomunaana 1971) munnayuganda omunoonyereza musawo era addukanya ebyenjigiriza. [1] Ali ku ddaala ly'anaatera okufuuka pulofeesa omujjuvu (An associate professor) ow'enkola y'ebyobulamu, okuteekateeka n'okuddukanya emirimu ku yunivasite y'e Makerere . [2] [3] Waiswa mukugu mu nkola y’ebyobulamu n'engeri gyebitambuzibwa ng’afaayo nnyo ku bulamu bwa ba maama, abaana abawere n’obulamu bw'abaana abakuzeemu mu mawanga amankuseere n'agali yaddeyaddeko. Ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Busoga Health Forum. [4] [5]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Waiswa yazaalibwa mulongo nga 29 Omwezi ogwomunaana 1971 eri bazadde Kyobe Kasiko Isabirye ne Gladys Kasiko Nabirye ab’oku kyalo Naigobya, ggombolola Bukooma mu disitulikiti y’e Luuka . Yasomera ku lya pulaimale erya Iganga Town Council Primary School,olwo n'agenda ku somero lya siniya erya Budini Secondary School ku siniya eyokuna (O'level) ne Jinja College okusoma ku siniya eyomukaaga (A'level). [6]

Mu 1992 yawandiisibwa ku yunivasite y'e Mbarara mu Uganda n'atikkirwa ddiguli esooka mu busawo n'okulongoosa . Ddiguli ye eyokubiri mu by'obulamu ebikwata ku bantu bonna mu bitundu okuva mu yunivasite y'e Hebrew ey'e Yerusaalemi , ebbanguliro lya Braun ery'ebyobulamu ebikwata ku bantu bonna mu bitundu n'obujanjabi bw'ebitundu (Braun School of Public Health and Community Medicine.) [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (October 2020)">citation needed</span> ] Ddiguli ye eyokusatu (PhD) mu busawo n'omulimu gw'okunoonyereza ogw'ekiseera gweyakola ng'agimalirizza bye yasomera mu matendekekero ag'emirundi ebiri, yunivasite y'e Makerere n'ettendekero lya Karolinska Institute mu Sweden

. [7] Waiswa Munoonyereza akyalako okusomesa mu ttendekero lya Karolinska, Sweden. [8] [9]

Waiswa yakola okugezesebwa kwe okw’obusawo ku ddwaaliro ly'abaminsani ery'e Lubaga mu Kampala (1997–98) weyava oluvannyuma naakola nga omukozi w'eggwanga omudduukirize ow'ekitongole ekidduukirize ki Uganda Red Cross, nazzaako 'okukola ng'omusawo omukugu era nga omumyuka w'omusawo atwala eby'obujanjabi owa disitulikiti y'e Iganga [10] Yaweebwa yunivasite y’e Makerere omulimu , ng’aweereza mu kitongole ky’enkola z’ebyobulamu, okuteekateeka n’okuddukanya emirimu eky'ebbanguliro ly'ebyobulamu ebikwata ku bantu bonna mu bitundu ku ttendekero lya ssaayansi w'ebyobulamu okuva mu 2008 okutuuka kati. [11] Ye mutandisi era mmemba w’ekibiina ky'obwannakyewa ekya Uganda Development and Health Associates (UDHA) ne One Village At A Time (OVAAT). N'era yatandikawo era y’akulembera ebibiina by’okunoonyereza ebya The INDEPTH Network Maternal, [12] Newborn & Child Health Working Group (MNCH-WG) ne The Makerere University Center of Excellence for Maternal Newborn & Child Health era mmemba w’ekibiina kya Uganda National Immunization Technical Advisory Group. [13] Yeetaba obutayosa ng’omuwabuzi ow’ebyekikugu mu bibiina bingi ebyomukitundu, eby’eggwanga, n’eby’ensi yonna omuli ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna-WHO , ekibiina ky'ekitongole ky'amawanga amagatte ekikola ku nsonga z'abaana n'ebyenjigiriza byabwe -UNICEF ,The Bill & Melinda Gates Foundation, International Pediatric Association, African Academy of Sciences ne XRP Healthcare . [14] [15] [16]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.

  1. "Dr. Peter Waiswa". 23 September 2019. Archived from the original on 16 December 2023. Retrieved 6 November 2025.
  2. Tamale, Raymond (May 7, 2020). "PROFILE: Makerere University's Prof. Waiswa appointed on WHO advisory board". Education News. Archived from the original on May 17, 2020.
  3. Mwambazi, Norman (7 May 2020). "Who is Dr Peter Waiswa, the MUK professor that was appointed on the World Health Organization Advisory Board?". Matooke Republic. Kampala. Archived from the original on 15 July 2020. Retrieved 14 June 2020.
  4. "Jinja Hospital gets sickle cell diagnosing machine". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-08-08.
  5. "Pre-royal wedding medical camp leaves over 10,000 treated". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-08-08.
  6. Vision Reporter (17 March 2013). "He turned down a posh job to save mothers". New Vision. Kampala. Retrieved 22 April 2020.
  7. "Dr Peter Waiswa, Team Leader | Makerere University Centre of Excellence for Maternal Newborn & Child Health".
  8. "Peter Waiswa | Medarbetare". staff.ki.se. Archived from the original on 2020-07-13. Retrieved 2025-11-06.
  9. Kyotalangirire, Agnes. "Kampala Slum Maternal Newborn project launched". New Vision (in British English). Retrieved 2020-05-24.
  10. "Peter Waiswa - Participant - SAFE MOTHERS & NEWBORNS". www.safemothersandnewborns.org. Archived from the original on 2020-07-12. Retrieved 2025-11-06.
  11. "Peter Waiswa, MBChB, MPH, PhD". East Africa Preterm Birth Initiative.
  12. "Prof. Peter Waiswa | INDEPTH Network". www.indepth-network.org. Archived from the original on 2025-08-03. Retrieved 2025-11-06.
  13. Andrew Masinde (16 April 2020). "COVID-19: What Uganda should do after the pandemic". New Vision. Kampala. Retrieved 22 April 2020.
  14. "Member Profile - Peter Waiswa". Healthy Newborn Network.
  15. Bernard Mubiru (7 May 2020). "Makerere's Prof Peter Waiswa Appointed to World Health Organisation (WHO)". Campus Bee. Kampala. Retrieved 22 June 2020.
  16. "Renowned Industry Expert Peter Kyobe Waiswa Joins XRP Healthcare to transform Private Healthcare in Uganda". Yahoo Finance. Yahoo Finance. 16 April 2024. Retrieved 16 April 2024.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.

  1. "Dr. Peter Waiswa". 23 September 2019. Archived from the original on 16 December 2023. Retrieved 6 November 2025.
  2. Tamale, Raymond (May 7, 2020). "PROFILE: Makerere University's Prof. Waiswa appointed on WHO advisory board". Education News. Archived from the original on May 17, 2020.
  3. Mwambazi, Norman (7 May 2020). "Who is Dr Peter Waiswa, the MUK professor that was appointed on the World Health Organization Advisory Board?". Archived from the original on 15 July 2020. Retrieved 14 June 2020.
  4. "Jinja Hospital gets sickle cell diagnosing machine". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-08-08.
  5. "Pre-royal wedding medical camp leaves over 10,000 treated". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-08-08.
  6. Vision Reporter (17 March 2013). "He turned down a posh job to save mothers". Retrieved 22 April 2020.
  7. "Dr Peter Waiswa, Team Leader | Makerere University Centre of Excellence for Maternal Newborn & Child Health".
  8. "Peter Waiswa | Medarbetare". staff.ki.se. Archived from the original on 2020-07-13. Retrieved 2025-11-06.
  9. Kyotalangirire, Agnes. "Kampala Slum Maternal Newborn project launched". New Vision (in British English). Retrieved 2020-05-24.
  10. "Peter Waiswa - Participant - SAFE MOTHERS & NEWBORNS". www.safemothersandnewborns.org. Archived from the original on 2020-07-12. Retrieved 2025-11-06.
  11. "Peter Waiswa, MBChB, MPH, PhD". East Africa Preterm Birth Initiative.
  12. "Prof. Peter Waiswa | INDEPTH Network". www.indepth-network.org. Archived from the original on 2025-08-03. Retrieved 2025-11-06.
  13. Andrew Masinde (16 April 2020). "COVID-19: What Uganda should do after the pandemic". Retrieved 22 April 2020.
  14. "Member Profile - Peter Waiswa". Healthy Newborn Network.
  15. Bernard Mubiru (7 May 2020). "Makerere's Prof Peter Waiswa Appointed to World Health Organisation (WHO)". Retrieved 22 June 2020.
  16. "Renowned Industry Expert Peter Kyobe Waiswa Joins XRP Healthcare to transform Private Healthcare in Uganda". Yahoo Finance. Yahoo Finance. 16 April 2024. Retrieved 16 April 2024.