Jump to content

Philip Ridsdale

Bisangiddwa ku Wikipedia

Philip Ridsdale eyazaalibwa nga 2 Ogwekumineebiri mu 1915, n'afa nga 14 Ogwomukaaga mu 2000, yali Mulabirizi w'Ekanisa mu Zaire:[1] yaweereza ng'Omulabirizi wa Boga-Zaire eyasooka.[2]

Ridsdale yasomesebwa ku Harrow; Etendekero lya Trinity College, e Cambridge; ne Ridley Hall, mu kibuga Cambridge. Ridsdale yaweereza mu Uganda ne Democratic Republic of the Congo, ng’omuminsani wa CMS ng’olutalo terunabaawo era nga Faaza eyatuuzibwa oluvannyuma lw’olutalo.[3] Mu Sematalo Ow'okubiri mwenyini yaweereza ng'omu kubaali mu magye agaali gakolebwa Abangereza abaali badukanya amatwaala G'omubuvanjuba bwa Afrika, era yafuna ebisago mu Burma mu 1945. Yaliko eyali Akulira Ekanisa mu Hoima mu kiseera ekyo eyali Omubuulizi w'ebitundu bya Rwenzori. Okuva mu 1964 okutuuka mu 1972 yeeyadizibwa mu kifo kyeyalimu ku Stapleford, Hertfordshire era Akulira Ekanisa owa Hertford. Mu 1972 yaddayo ng’omulabirizi, n’awummula mu 1980.[4]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Cambridge Centre for Christianity Worldwide
  2. "Lives in brief" The Times Monday, July 3, 2000
  3. "An Introduction to an Oral History and Archive Project by the Anglican Church of Congo" Wild-Wood, E in 'History in Africa' Vol. 28 (2001), pp. 445-462
  4. The Papers of Bishop Philip Ridsdale