Jump to content

Phoebe Awere Otaala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Phoebe Awere Otaala era amanyiddwa nga " Phibby Otaala," munnabyabufuzi munnayuganda. Yafumbirwa Emmanuel Otaala, ono nga yali Minisita omubeezi ow’ebyobulamu era yali mubaka wa palamenti owa West Budama South. [1] Yakola nga Commissona omukulu mu Kenya okuva mu 2017-2020 oluvannyuma lw'okudda mu bigere by'Omubaka Angellina Wapakhabulo. [1] [2] [3] Yalekulira obwa Ambassador n'adda mu Uganda okwetaba mu kamyufu ka NRM ak'omubaka omukyala owa Disitulikiti ya Tororo naye teyayitamu. [3] [4] [5]

Awere Otaala yaliko Omubaka wa Uganda mu Kenya okuva mu 2017 okutuuka mu 2020. [2] [6] [7] Mutandisi w’ekibiina ky’obwannakyewa ekimanyiddwa nga Hands of Hope. [8]

Yaweebwa engule y’omukyala ow’omwaka okuva mu kitongole kya American Biographical institute olw’enkola ze ez'okuyamba abaana abali mu bwetaavu era erinnya lye lyagattibwa mu kitabo ky’omwaka ekya American Who is Who. [9]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-06-19. Retrieved 2025-09-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 1 2 https://chimpreports.com/letter-shows-otaala-resigned-as-ugandas-ambassador-to-kenya/
  3. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/politicians-stir-up-anger-at-ugandan-embassies-1873994
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/video/uganda-s-ambassador-to-kenya-refuses-to-hand-over-3213364
  5. https://observer.ug/news/ambassadors-basoga-to-sue-over-king-appointment/#google_vignette
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uganda-s-high-commissioner-to-kenya-dr-hassan-galiwango-is-dead-4087680
  7. https://www.independent.co.ug/hassan-ggaliwango-ugandas-ambassador-to-kenya-is-dead/
  8. https://nilepost.co.ug/news/241249/former-ambassador-otaala-launches-shs400m-fundraising-drive-to-upgrade-tororo-rural-health-centre-ii
  9. https://www.newvision.co.ug/news/1257186/brief