Jump to content

Pione Sisto, musambi wa mupiira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Pione Sisto Ifolo Emirmija (  Yazaalibwa 4 Ogwokubiri 1995) Muzannyi wa mupiira agukyangira e ggwanga lya Denmark ng'azannya ng'omuwuwuttanyi ku lugoba olwa kkono mu Liigi y'e Greeck gy'asasambira ogw'ensimbi mu ttiimu ya AEL.[1]

Yatandika omupiira gw'ensimbi mu ttiimu ya Midtjylland mu Liigi ya Denmark ey'okuntikko, gye yazannyira emipiira 114 n'abateebera ggoolo 31 mu sizoni ttaano. Mu 2016 yeegatta ku Celta Vigo ku bukadde 5 ensimbi za Bulaaya, eno yabateebera ggoolo 18 mu nzannya 135 games. Mu 2020, yaddayo mu Midtjylland ku bukadde 3 eza Bulaaya.

Sisto yazannyira ttiimu y'e gganga lya Denmark omupiira ogwasooka mu 2015, era yali omu ku kibinja ekyayungulwa okuzannya empaka z'omupiira ez'ensi yonna ezaakamalirizo mu 2018.

Emirimu gya ttiimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Pione Sisto yazaalibwa mu Kampala, Uganda, mu maka g'aba South Sudan.[2] Oluvannyuma baasengukira e Denmark nga wa myezi ebiri. Yazuulwa Tjørring IF mu 2002, nga wa myaka musanvu n'ekyaddako kwali kuyingira mu ttiimu ya FC Midtjylland ey'abavubuka mu 2010.[3]

Sisto yasamba omupiira gwa liigi ogwasooka mu sizoni ya 2012–13 n'ateeba ggoolo ye eyasooka mu sizoni yeemu bwe baali battunka ne AGF. Nga 2 Ogwokusatu 2014, yalengera akatimba emiirundi 2 FC Midtjylland's 5–1 ku bugenyi bwe batimpula Copenhagen mu liigi ya Denmark.


Mu Gwekkumineebiri 2014, Sisto yalondebwa bazannyi banne ng'omuzannyi abakize mu Sizoni.

Oluvannyuma lw'obuvune yazannya omupiira gwa ttiimu ogwasooka mu 2015 mu Gwokutaano bwe yava ku katebe nga bazannya Copenhagen. Nga yaakayingizibwamu yakola omukisa ogwavaamu ggoolo esooka oluvannyuma naye n'ateeba ey'okubiri ekyabayamba okusitukira mu kikopo kya liigi ya Denmark ekyasooka.

Abanoonya abazannyi okuva mu Barcelona,[4] Milan,[5] ne Juventus[4] beetala mu Denmark enfunda eziwera nga baagala okumukansa era ne Arsenal yalaga obwagazi mu muzannyi ono.[4] Okusinziira ku lupapula lw'amawulire g'e Dutch De Telegraaf Ajax nayo yassaayo okusaba kwa bukadde 7 eza Bulaaya okumukansa kyokka ne bigwa butaka.[6]

Sisto ng'azannyira Midtjylland mu 2015

Yateebera Midtjylland nga bamegga Manchester United 2–1 awaka mu mpaka za Europa nga 18 Ogwokubiri 2016.[7] Era yateeba ggoolo eyaggulawo mu luzannya olw'okubiri ku kisaawe kya Old Trafford kyokka eby'embi Midtjylland yameggebwa 5–1 (6–3 ku mugatte) ku United ne bawanduka mu mpaka.[8]

Nga 31 Ogwomusanvu 2016, ttiimu okuva liigi ya Spain, Celta de Vigo yatuuka ku nzikiriziganya okukansa omuzannyini ono ku bukadde 5 eza Bulaaya era n'assa omukuno ku ndagaano ya myaka etaano.[9] [10] [11]

Yazannya omupiira ogwasooka ne ttiimu eno nga 22 Ogwomunaana era yasooka na kkubwa 0–1 awaka nga CD Leganés y'ekibatuusizzaako.[12] Nga 25 Ogwomwenda yateeba omulundi ogwasooka nga bamegga RCD Espanyol 2-0, bwe yadduka kumpi mmita 80 okuva mu bbokisi ye okutuuka mu y'omulabe mu ddakiika ezisembayo mu muzannyo.[13] Oluvannyuma lwa ggoolo ye eyasooka mu Galicia, Sisto yazannya emipiira 13 games n'ateebamu ggoolo bbiri n'ayamba ttiimu ye okutuuka ku luzannya oluddirira olwakamalirizo mu mpaka za UEFA Europa omulundi ogwasookera ddala. Ggoolo ze zonna zaali mu nsamba bbiri lwe baawandulamu K.R.C. Genk ku ggoolo 4-3 omugatte ku luzannya lwa quarter-finals mu Gwokuna gwa 2017.[14][15]

Mu Gwokutaano 2020, Sisto yatanzibwa ttiimu ye emitwalo €60,000 ezaali ekibonerezo ekyali kitaweebwangako musambi wa Celta olw'okuvuga kumpi kkilo mmita 3,000 okudda e Denmark mu Gwokusatu nga tagoberedde biragiro bya COVID-19 .[16]

Yakomawo mu Midtjylland

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 7 Ogwomwenda 2020, Midtjylland yalangirira nga bw'ezzeemu okukansa Sisto ku ndagaano ya myaka 4.[17] Baamugula obukadde 22 mu nsimbi za Denmark oba ezikunukkiriza mu bukadde 3 eza Bulaaya.[18] Okumulaangirira kyatwala akaseera olw'enkaayana ezaaliwo wakati waabwe ne ttiimu y'embiranya eya, FC Copenhagen,[19] abaalina obukadde buna wansi waabwe.[18] Bwe yali ayogera ku kukansibwa kwe, Sisto yategeeza nti okuddayo mu ttiimu ye, kyava ku mutima olw'okugyagala ennyo. 'Nakizuula nti nti kyali kisuubizo kyange naye nga kizibu okutuukiriza olw'okugezesebwa'[20] Yagattako nti yali muwagizi ow'amagezi nga yeegaraageranya ku muntu ow'okusatu, era yaweebwa omujoozi nnamba musanvu.[20] [19]

Nga 14 Ogwomwenda 2023, Sisto yeegatta ku ttiimu ya Alanyaspor ezannyira mu Liigi ya Turkey ey'okuntikko.[21][22]

Nga 23 Ogwomusanvu 2024, Sisto yeegatta ku ttiimu ya Aris egukyangira mu liigi ya Greece.

Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw'okuba Sisto si mutuuze w'e Denmark naye yabeerayo obulamu bwe bwonna, omutendesi w'eggwanga Morten Olsen yamumatira era n'amuyita ku ttiimu y'eggwanga.[23] Nga yaakafunibwa obutuuze bwa Denmark mu Gwekkumineebiri wa 2014, yayitibwa ku ttiimu y'abali wansi w'emyaka 21 newankubadde tegwali mupiira gumanyiddwa FIFA. Ebiseera ebyo yali tateekeddwa kuzannyira Denmark olw'obukwakkulizo bwa FIFA. Nga 23 Ogwoluberyeberye 2015, mu yazannya omupiira omutongole mu y'abali wansi w'emyaka 21 era yateeba ggoolo 3 nga bakuba ttiimu ya Romania eya FC Dinamo București 7-1.[24]

Nga 8 Ogwokutaano 2015, Sisto mu butongole yafuna ekigambo okuva mu FIFA ng'akkirizibwa okukiikirira eggwanga lya Denmark nga talinze kya myaka etaano oluvannyuma lw'okuweza emyaka 18 ng'amateeka bwe galagira.[25] Oluvannyuma lw'ennaku 12 yayitibwa ku ttiimu enkulu eya Denmark nga battunka ne Montenegro ssaako Serbia.

Mu Gwomukaaga 2015, yakiikirira Denmark eyabali wansi w'emyaka 21 mu mpaka z'ekikopo kya Bulaaya eky'abali wansi w'emyaka 21 mu ggwanga lya Czech Republic, n'ateeba ggoolo eyasembayo nga bawangula abategesi mu mupiira ogwaggulawo mu kisaawe kya Eden Arena mu Prague.[26]

Sisto yasabamba ogwasooka n'ettiimu ya Denmark enkulu nga 4 Ogwomwenda 2015 mu kikopo ky'okusunsulamu abaneetaba ku kikopo kya Bulaaya ekya 2016 nga battunka ne Albania. Yasamba eddakiika 45 ezaasooka ng'omupiira guli mu maliri ga 0-0 era yasikizibwa omuzannyi Yussuf Poulsen.[27] Yateeba ggoolo ye eyasooka nga 22 Ogwokusatu 2018 mu mupiira gw'omukwano nga bwe baali battunka ne Panama mu Copenhagen.[28]

Mu Gwokutaano 2018, Sisto yakola ekibinja y'abasambi 35 abanaasunsulibwa okuzannya ekikpo ky'ensi yonna ekya 2018 mu ggwanga lya Russia era oluvannyuma yakola abasembayo 23 abaasamba.[29] [30]

Oluvannyuma lw'ekikopo ky'ensi yonna ekya 2018 , Sisto yeerangirira ng'omuzannyi wa Denmark akyasinze okukyayibwa ku mutimbagano olw'omutindo gw'ekiboggwe gwe yayolesa . ebigambo bye byewunyisa emikutu ky'amawulire gya Denmark.[31][32][33]

Mu Gwokutaano 2019, Sisto yeenenya yekka nti yali ku mmere ezimba omubiri nga yali alya bibala byokka ekiseera ekyo okumala ennaku 21.[34] Yakkiriza nti yali tasobola ku kyebeera olw'okuba yali ekiseera ekyo kumpi alaba kizikiza kyokka.[35]

Mu Gwokutaano 2020, Sisto yakyatula yali atawaanyizibwa obulwadde bwa ssenyiga ng'akolola nnyo ekyatandika mu kiseera nga bagenda mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2018.[36] Yagattako nti era yafuna okusoomoozebwa kw'okusosolebwa mu langi okuva mu bazadde b'abazannyi banne mu kiseera kye yali ku ttiimu ya FC Midtjylland ento mu Ikast.[37]

Mu Gwomusanvu 2023, Sisto yalangirira nga bwe yali aguze ettaka eriwezaako yiika 4.3 mu bukuubagano obwaliwo mu Bwakabaka bwa Pineal mu masekkati ga Portugal ensi eyeetengeredde n'obubonero bw'akakundi ak'okufuna obukumanyi mu ggwanga olw'okuttaba abaana mu kyalo mu ngeri emenya amateeka.[38]

Template:Updated[39]

Emipiira ne Ggoolo z'ateebedde ttiimu, Sizoni n'empaka
Ttiimu Sizoni League Ekikopo Ssemazinga Omugatte
Liigi Apps Goals Apps Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo
Midtjylland 2012–13 Liigi y'e Denmark 10 0 1 0 — 11 0
2013–14 Liigi y'e Denmark 27 6 2 3 — 29 9
2014–15 Liigi y'e Denmark 22 8 0 0 2 0 24 8
2015–16 Liigi y'e Denmark 29 4 0 0 13 4 42 8
2016–17 Liigi y'e Denmark 2 2 0 0 5 4 7 6
Omugatte 90 20 3 3 20 8 113 31
Celta Vigo 2016–17 Liigi y'e Spain 30 3 6 1 13 2 49 6
2017–18 Liigi y'e Spain 34 5 2 1 — 36 6
2018–19 Liigi y'e Spain 25 2 2 0 — 27 2
2019–20 Liigi y'e Spain 21 2 2 2 — 23 4
Omugatte 110 12 12 4 13 2 135 18
Midtjylland 2020–21 Liigi Y'e Denmark 30 8 4 0 8 0 42 8
2021–22 Liigi Y'e Denmark 24 2 5 0 10 0 39 2
2022–23 Liigi Y'e Denmark 12 3 0 0 8 2 20 5
Omugatte 66 13 9 0 26 2 101 15
Alanyaspor 2023-24 Liigi y'e Turkey 20 1 3 1 — 23 2
Aris 2024-25 Liigi y'e Greece 20 0 3 0 — 23 0
Omugatte 306 47 24 8 59 12 396 66

    TTiimu y'eggwanga

    [kyusa | kolera mu edit source]
    Ebibalo bituufu okuva omupiira ogwazannyibwa nga 15 Ogwekkuminoogumu 2021 [40]
    Denmark
    Omwaka Emipiira Ggoolo
    2015 2 0
    2016 2 0
    2017 6 0
    2018 11 1
    2019 0 0
    2020 4 0
    Omugatte 25 1
    Obubinja n’ebyavaamu biwandiika ggoolo ya Denmark esoose. [40]
    Olukala lwa ggoolo z'ateebedde ttiimu y'eggwanga
    No. Ennaku z'omwezi Ekifo Omulabye Bwe gwaggwa Ebyavaamu Empaka
    1. 22 Ogwokusatu 2018 Brøndby Stadium, Brøndbyvester, Denmark  Panama 1–0 1–0 gwa mukwano

    Midtjylland

    Omuntu ssekinnomu

    Ebijuliziddwa

    [kyusa | kolera mu edit source]
    1. ↑ PAE ARIS announces the acquisition of Pione Sisto
    2. ↑ "Forslag til Lov om indfødsrets meddelelse" [Proposals to Act on naturalization] (PDF) (in Danish). Danish Parliament. 30 October 2014. Retrieved 11 December 2015.
    3. ↑ "Pione Sisto: the Uganda-born Dane who gunned down Man United and dreams of Barcelona". FourFourTwo. 25 February 2016. Retrieved 31 July 2016.
    4. 1 2 3 "Arsenal 'prepare SHOCK transfer bid for goal-scoring Danish midfielder'". 19 May 2015.
    5. ↑ "Milan: eyes on Pione Sisto. Juve: Almamy Touré farther". 20 May 2015.
    6. ↑ "Sport - Het laatste nieuws uit Nederland leest u op Telegraaf.nl". Telegraaf. Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 12 July 2015.
    7. ↑ Dawkes, Phil (18 February 2016). "FC Midtjylland 2-1 Manchester United". BBC Sport. Retrieved 26 August 2020.
    8. ↑ Johnston, Neil (25 February 2016). "Manchester United 5-1 FC Midtjylland (agg 6-3)". BBC Sport. Retrieved 26 February 2016.
    9. ↑ "El internacional danés Pione Sisto enriquece el ataque celeste" [Danish international Pione Sisto bolsters the celeste attack] (in Lusipanya). Celta de Vigo. 31 July 2016. Archived from the original on 3 August 2016. Retrieved 31 July 2016.
    10. ↑ "Pione Sisto, una bala para el Celta" [Pione Sisto, a bullet to Celta] (in Lusipanya). La Voz de Galicia. 31 July 2016. Retrieved 31 July 2016.
    11. ↑ Smith, Jamie (1 August 2016). "Pione Sisto joins Celta Vigo". Goal. Retrieved 20 June 2020.
    12. ↑ "Estreno de oro del Leganés en Primera" [Golden debut of Leganés in Primera] (in Lusipanya). Marca. 22 August 2016. Retrieved 22 August 2016.
    13. ↑ "Golazo a la carrera de Sisto... ¡tras conducir 80 metros!" [Amazing running goal by Sisto... after driving 80 metres!]. Marca (in Lusipanya). 25 September 2016. Retrieved 20 June 2020.
    14. ↑ "Ryan beaten three times at Celta Vigo but Genk still alive". SBS. 14 April 2017. Retrieved 20 June 2020.
    15. ↑ "Genk 1 Celta Vigo 1 (3-4 agg): Berizzo's side into first major semi-final". FourFourTwo. 20 April 2017. Retrieved 20 June 2020.
    16. ↑ "Celta's Sisto fined for driving home to Denmark: reports". France 24. 17 May 2020. Retrieved 20 June 2020.
    17. ↑ Ambo, Morten (7 September 2020). "FC Midtjylland køber Pione Sisto" (in Danish). FC Midtjylland. Retrieved 7 September 2020.
    18. 1 2 Bravo, Alberto (5 September 2020). "Oficial: Pione Sisto deja el Celta y regresa al Midtjylland" [Official: Pione Sisto leaves Celta and returns to Midtjylland] (in Spanish). El Desmarque. Archived from the original on 4 October 2020. Retrieved 27 July 2022.{{cite news}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
    19. 1 2 /ritzau/ (7 September 2020). "Så blev det officielt: FC Midtjylland henter Pione Sisto" (in Danish). Danmarks Radio (DR). Retrieved 7 September 2020.
    20. 1 2 Hoffskov, Ole; Okstrøm, Oliver (7 September 2020). "Stort Pione Sisto-interview: Mit hjerte valgte pludselig FC Midtjylland" (in Danish). Tipsbladet. Retrieved 7 September 2020.
    21. ↑ "Pione Sisto skifter til Alanyaspor" [Pione Sisto switches to Alanyaspor] (in Danish). FC Midtjylland. 14 September 2023.
    22. ↑ "Hoş geldin Pione Sisto!" [Welcome Pione Sisto!] (in Turkish). Alanyaspor. 14 September 2023.{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
    23. ↑ "Peter Bonde håber på dansk pas til Pione Sisto". Politiken. 5 August 2014.
    24. ↑ "European U21 championship players to watch include Hughes and Sisto". ESPN. 17 June 2015.
    25. ↑ "Lykkelig Pione Sisto klar til det danske landshold". Ekstra Bladet. 8 May 2015.
    26. ↑ "Czech Republic 1-2 Denmark". UEFA. 17 June 2015.
    27. ↑ "Albania refuse to yield to Denmark pressure". UEFA. 4 September 2015.
    28. ↑ "Sizzling Sisto gives Denmark win over 10-man Panama in friendly". Reuters. 22 March 2018. Archived from the original on 10 October 2018. Retrieved 20 June 2020.
    29. ↑ "Revealed: Every World Cup 2018 squad - 23-man & preliminary lists & when will they be announced?". Goal. Retrieved 17 May 2018.
    30. ↑ "Revealed: Every World Cup 2018 squad - 23-man & preliminary lists & when will they be announced?". Goal. Retrieved 17 May 2018.
    31. ↑ Ryefeldt, Jonas (29 April 2019). "Sisto vækker opsigt: 'Den mest hadede person i Danmark'" (in Danish). Ekstra Bladet. Retrieved 7 September 2020.
    32. ↑ Hoffskov, Ole (22 May 2019). "Sisto har takket nej til Hareides invitation: Håber, han får styr på karrieren" (in Danish). Tipsbladet. Retrieved 7 September 2020.
    33. ↑ Skovsgaard Tøfting, Nicolai (23 May 2020). "Sisto ville hjem fra VM: Var helt ude at skide". www.bold.dk (in Danish). Retrieved 7 September 2020.
    34. ↑ Estévez, Antonio (16 May 2019). "Celta Vigo's bizarre week". Marca. Retrieved 7 September 2020.
    35. ↑ "El céltico Pione Sisto confiesa que "perdió el control" cuando intentaba pasar 21 días comiendo solo fruta" (in Lusipanya). La Voz de Galicia. 15 May 2019. Retrieved 7 September 2020.
    36. ↑ /ritzau/ (23 May 2020). "Landsholdsspiller fik en depression: 'Jeg har kæmpet med at være glad de seneste to år'" (in Danish). Danmarks Radio. Retrieved 7 September 2020.
    37. ↑ Okstrøm, Oliver (24 May 2020). "Pione Sisto blev udsat for racisme fra holdkammeraters forældre" (in Danish). Tipsbladet. Retrieved 7 September 2020.
    38. ↑ "Seita: Bebé de 14 meses morreu e foi cremado na comunidade do Pineal". 20 July 2023. Archived from the original on 2024-12-04. Retrieved 2026-05-24.
    39. ↑ "P. Sisto". Soccerway. Retrieved 8 October 2017.
    40. 1 2 "Sisto, Pione". National Football Teams. Retrieved 23 March 2018.
    41. ↑ Bruun, Peter (21 May 2015). "Midtjylland make history with first Danish title". UEFA. Archived from the original on 29 September 2024. Retrieved 29 September 2024.
    42. ↑ "Årets 3F Superligaspiller 2022" [3F Superliga Player of the Year 2022] (in Danish). DBU. Retrieved 1 June 2025.

    Ebiyungo eby’ebweru

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Page Template:Sister project/styles.css has no content. 

    Template:Athlitiki Enosi Larissa F.C. squadTemplate:Danish Superliga Player of the YearTemplate:Denmark squad 2018 FIFA World Cup