Polly Namaye
Polly Namaye Bangambaki ( née Polly Namaye ) munnayuganda omukugu mu by'empuliziganya, omusomesa era omupoliisi akola nga Kaminsona avunaanyizibwa ku bikwekweto by'okuwagira emirembe mu Uganda Police Force, okuva mu Ogw'omunaana 2024. [1] Okuva mu 2014 okutuuka mu Ogw'omunaana 2024, yeyali amyuka omwogezi wa Poliisi ya Uganda. [2]
Ebyafaayo n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Namaye yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kabale, mu bbendobendo lya maserengeta ga Uganda, eri David Kabalega ne Anne Kabalega. [2]
Yasomera mu Kabale Primary School nga tannakyuka n’agenda mu Maryhill High School, essomero lya siniya ey’ekisulo nga ly'abawala bokka mu kibuga Mbarara okusoma eddaala erisooka. Eddaala lye ery'okubiri yalimalirirza ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School, e Bushenyi, n'atikkirwa dipulooma ya siniya . [2]
Diguli ye eyasooka,mu by'enjigiriza yamuweebwa Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obukulu mu Uganda era esinga obunene. Yagenda mu maaso n'afuna diguli ey'okubiri mu nzirukanya abakozi okuva mu Uganda Management Institute . [2] Diguli ye ey'okubiri, Master of Arts mu by’amawulire n’empuliziganya, yamuweebwa Yunivasite y’e Makerere mu 2019. [3]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Namaye yakola ng’omusomesa w’amasomero mu Disitulikiti y’e Kyenjojo okumala ebbanga lya myezi mukaaga, okutuusa mu September 2007. Oluvannyuma yakyusa emirimu n’afuuka omupoliisi mu 2007. Okutendekebwa kwe okwasookerwako okwali kuzingiramu eby’ensoma, amateeka n’okutendekebwa, kwamala okutuusa mu December wa 2008. [2]
Okuva mu Ogusooka 2009 okutuuka mu Ogw'okuna 2014, ku ddaala lya Senior Superintendent of Police, yaweereza ng’omwogezi wa poliisi mu kitundu kino mu Munisipaali y’e Mbarara . [2] Mu Ogw'okuna 2014, yakyusibwa n’atwalibwa mu ofiisi ya poliisi enkulu mu ofiisi ya Kaminsona wa Poliisi. Eyo, ku ddaala lya akolanga omuyambi wa Kaminsona wa Poliisi, yalondebwa okuba omumyuka w’omuduumizi wa ofiisi y’amawulire n’enkolagana n’abantu.[2]
Mu 2016, Namaye yakuzibwa n’atuuka ku ddaala ly'omuyambi wa Kaminsona owa Poliisi.[4] We bwatuukira mu 2023, yali kaminsona wa poliisi era nga y'amyuuka omwogezi wa Poliisi ya Uganda.[5]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Polly Namaye Bangambaki mufumbo ne Alfred Bangambaki era bazadde ba baana babiri.[6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Kenneth Kazibwe (22 August 2024). "Polly Namaye eats big as IGP Byakagaba shakes up police again". Nile Post Uganda. Retrieved 26 August 2024.
- 1 2 3 4 5 6 7 Lydia Promise (12 March 2015). "Who Is Polly Namaye". Lydiapromise.wordpress.com. Retrieved 21 June 2019. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "1R" defined multiple times with different content. - ↑ "Kavuma, Namaye Awarded Masters Degrees at Makerere". The Edge. The Edge Uganda. 19 January 2019. Archived from the original on June 22, 2019. Retrieved 21 June 2019.
- ↑ Zurah Nakabugo, and Johnson Taremwa (5 February 2016). "Kayihura Promotes 496 Police Officers". Archived from the original on February 6, 2016. Retrieved 21 June 2019.
- ↑ Simon Kabayo (3 April 2023). "Polly Namaye returns as deputy police spokesperson". Eagle Online. Retrieved 17 May 2024.
- ↑ Ainomugisha, Lydia (2021-01-09). "Soft spoken but tough officer". Monitor (in Lungereza). Retrieved 2024-05-17.
Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- "Museveni Kyaddaki Akakasizza Bakadeti Ba Poliisi 985" . 20 Jjuuni 2019.