Ponsiano Ngabirano
Ponsiano Ngabirano musuubuzi Omunnayuganda era omutandisi w'emirimu. Yeeyatandikawo, ssentebe era akulira Capital Shoppers Supermarkets, olujegere olugata sitoowa za semaduuka, gy'adukanya. Sitoowa zaago sizinganibwa mu Kampala, Uganda. [1] Mu 2012, olupapula lw’amawulire olwa New Vision lwamuwandiikako ng'omu kubantu ssekinnoomu abasinga obagagga mu Uganda. [2]
Obuvo n’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Ngabirano yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Rukungiri, mu Bitundu By'omubuvgwanjuba bwa Uganda, nga mu myaka gya 1968. Mu 1997, ye ne famire ye baatandikawo omukutu gwa zisemaduuka ezitereka eby'amaguzi, ogudukanya semaduuka wa mirundi enna mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Capital Shoppers Supermarkets ye semaduuka asinga obunene era adukanyizibwa mu ggwanga ng'alina amatabi ag'enjawulo. [3] Amatabi gano agadukannyizibwa famire galina enteekateeka y’obwesigwa eri bakasitoma ng’ewaayo ebitundu 4 ku 100 eby’okudizibwa ssente ku bintu bye bagula singa bibeera bingi, ekisinga obunene mu mulimu guno mu Uganda, ekyaliwo okutuuka mu 2014. Mu Gwoluberyeberye mu 2012, amawulire mu Uganda gaali galaga nti amatabi ga semaduuka eno gaali gadukanyizibwa Ngabirano ekimu ki kitundu. [2]
Bizineensi n’okusiga ensimbi
[kyusa | kolera mu edit source]Webwatukira mu Gwomunaana mu 2014,semaduuka wa Capital Shoppers Supermarket yali edukanya amatabi mu bifo bino wammanga:
- Mu Masekati ga Kampala, ku Dastur Street, olusozi lw'e Nakasero mu Kampala
- Ettabi ly’e Nakawa ku Oluguudo lwa Port Bell e Nakawa mu Kampala
- Ettabi ly’e Ntinda ku kizimbe kya Capital Shoppers Mall ku Ntinda Road e Ntinda mu Kampala
- Ettabi lya Garden City, ku kizimbe kya Garden City Mall, mu Kampala [3]
Mu kwongereza ku migabo gy'alina mu semaduuka wa Capital Shoppers Supermarkets, [3] [4] Ngabirano n’aba famire ye badukanya etaka eddene erisinganibwa mu Kampala n’ebweru waayo. [5]
Obugagga obumubalirwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]Okusinziira ku lupapula lwa New Vision, mu 2012, obugagga bwa Ngabirano bwabalirirwamu ddoola za Amerika obukadde 50. [2]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ New Vision (21 August 2008). "Cardinal Wamala Opens Capital Shoppers". Retrieved 24 June 2020.
- 1 2 3 Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". Retrieved 24 June 2020.
- 1 2 3 Julius Businge (13 July 2014). "Uganda: Local Supermarkets Vie for Market Share" (via AllAfrica.com). Retrieved 24 June 2020.
- ↑ Polly Kamukama and Simon Musasizi (21 December 2011). "Businesses targeting Christmas". Archived from the original on 20 March 2023. Retrieved 1 October 2025.
- ↑ The Independent Uganda (25 March 2009). "Who Owns Naguru- Nakawa Estate Land?". Retrieved 24 June 2020.