Ponsiano Ocama, omuwandiisi w’ebitabo
Ponsiano Ocama Munnayuganda omusawo, munoonyereza, muddukanya weby’ensoma , nga ye muyambi wa pulofeesa w’obusawo era nga yaliko akulira ekitongole ky’obusawo obw’omunda mu yunivasite e Makerere essomero lyeby'eddagala , ekitundu ku Makerere University College of Health Sciences . [1]
Obulamu obwasooka n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Ocama yazaalibwa mu Uganda circa mu 1969. Oluvannyuma lw’okusoma mu masomero ga pulayimale ne siniya mu kitundu, yakkirizibwa mu yunivasite e Makerere essomero lyeby'eddagala , n’atikkirwa mu 1994 n’afuna diguli esooka mu by'eddagala n'okulongoosa . Mu 2001, yaweebwa diguli eyokubiri mu by'eddagala, okuva mu ssomero lye limu ery’obusawo. Diguli ye eyokusatu yamuweebwa Yunivasite y’e Antwerp mu Bubirigi, mu 2011. [2] Era yamaliriza diguli y’okunoonyereza mu by’ensoma mu by’ekibumba mu Yuniversity y'e Texas Southwestern Medical Center, mu Dallas, Texas, Amerika. [3]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Dr Ponsiano Ocama mukugu mubyomulubuto era alina obukugu muby'ekibumba ng'essira aliteeka ku bulwadde bw'ekibumba , omuli siriimu / mukenenya, Hepatitis B, Hepatitis C n'enkolagana wakati w'obulwadde buno n'omulimu gwazo mu kuleeta n'okukulaakulana kwa kookolo w'ekibumba . Akulembeddemu okunoonyereza okuwerako mu bujjanjabi ng'essira aliteeka ku siriimu, hepatitis B ne hepatitis C. [3]
Mu 2003, yeegatta kussomero lye Makerere ery'ebyobulamu ng’omusomesa mu kitongole ky’obusawo bw’omunda. Mu 2010, yakuzibwa n’atuuka ku ddaala ly’omusomesa omukulu . Yafuuka pulofeesa omuyambi mu 2013. Mu 2015, yalondebwa okukulira ekitongole ky’obusawo bw’omunda mu ttendekero lino. [1]
Ebijulizo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Ponsiano Ocama, MBChB, MMED, PhD:Pulofeesa omuyambi era Ssentebe mu kitongole ky’obusawo mu ssomero lye Makerere eryebyobulamu , Kampala, Uganda
- Ekitongole ky'obusawo mu ddwaaliro e Mulago Okuva nga 11 ogwekuminoogumu mu 2016.
- 1 2 ARNTD (30 January 2019). "About Ponsiano Ocama: Makerere University College of Health Sciences". African Research Network for Neglected Tropical Diseases (ARNTD). Retrieved 30 January 2019.
- ↑ MAKCHS (2016). "Profile of Ponsiano Ocama". Makerere University College of Health Sciences (MAKCHS). Archived from the original on 18 June 2019. Retrieved 30 January 2019.
- 1 2 WHO (2019). "Brief Biography of Dr. Ponsiano Ocama" (PDF). World Health Organization (WHO). Retrieved 30 January 2019.