Posta Uganda
Posta Uganda, mu Luganda wabula nga ye Uganda Post, nga mu kusooka yatuumibwa Uganda Post Limited, ye kampuni eyasooka ng'evunaanyizibwa mu kutambuza amabaluwa n'ebitereke mu Uganda . [1]
Enkola y'emirimu awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Ng'ekola okuyita mu Ofiisi ezitambuza Amabaluwa ezisoba mu 300, nga zirina obubookisi ebaluwa nebitereke wezituukira ezikola ezisuka mu 70,000, nga zirina ebifo mu bibuga ebinene ne tawuni ezisuka mu 30 mu ggwanga, Posta Uganda ekola emirimu egiyambako mingi, omuli gino wammanga: [2]

- Okutambuza ebbaluwa n’ebipapula
- Empeereza y’okuweereza abantu mu bwangu
- Okutambuza ssente mu ggwanga n’ensi yonna
- Empeereza ya Intaneeti
- Entambula ya bbaasi z’olukale ng’eyita mu kitongole kya Post Bus Services Limited
- Okusaasaanya obutabo bwa magaziini n’empapula z’amawulire
- Okukola nga kayungirizi w’abagaba eby’amasimu.
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Uganda Post Limited yatandikibwawo ng'ekimu ku bitundu by'omukago gw'Amawanga g'omu Buvanjuba bwa Afrika . Etteeka lya East African Post and Telecommunications Act mu 1951 lyategeka enkola y'okutambuza amabaluwa n'ebitereke ku ndagaano wakati w'abazungu abaali Bafuga Kenya, ne mu Matwaale ga Uganda, n'ebitundu byaTanganyika. [1] Okusatululwa kw'omukago gwa East African Community mu 1977 kwasazaamu etteeka lya East African Post and Telecommunications Act. Ekitongole kya East African Post and Telecommunications Corporation (EAPTC) kyakyusibwa ne kifuulibwa ekitongole kya Uganda Posts and Telecommunication Corporation (UPTC), wadde nga kino palamenti ya Uganda teyakiteeka mu mateeka okutuusa mu 1983. [1]
Mu 1998, nga ogumu ku kaweefube wa gavumenti okugenda mu maaso okusumulula obuyinza ku by’empuliziganya mu Uganda, UPTC yayawulwaamu kampuni zino wammanga ezeetongodde:
- Posta Uganda Limited
- Ekitongole kya Uganda Telecom Limited
- Post Bank Uganda Limited
- Uganda Communications Commission, ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'amakolero.
Uganda Post Limited yaweebwa obuyinza ku mpeereza y'okutambuza amabaluwa n'ebitereke era mu teeka ly’eby'empuliziganya erya 1997 lyayawulamu Uganda Post Limited mu migabo bukadde, nga buli gumu gubalibwaamu 25,000/= eza ssente za Uganda. Minisitule y’Eby'ensIimbi erinamu emigabo egisinga obungi egiwera 999,999, ng’omugabo ogumu ogusigaddewo gwa Minisitule y’Emirimu, Amayumba, n’Enkulaakulana y’Ebibuga. [1] Newankubadde nga Uganda Post Limited yakyusa erinnya lyayo n'erifuula Posta Uganda, empeereza ya posta tenaba kufuuka ya bwannannyini. [3]
Amaanyi
[kyusa | kolera mu edit source]Posta Uganda esobola okuwa layisinsi z'ebyuuma ebiramba amabaluwa. Posta Uganda erina obwannannyini ku bubaka bw'amabaluwa munsi yonna n’ez’omunda mu Uganda, wadde ng’ebbaluwa ziyinza okwesonyiyibwa. [1] Posta Uganda era eteekawo ebeeyi ya sitaampu n’obuweereza bw'amabaluwa, wadde nga mu nsonga eno ekoma mu tteeka ly’eby'empuliziganya n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Uganda. [1] Mu Gwomwenda 2012, Posta Uganda yalangirira enkolagana yaayo empya n'aba Gaming International, mu mpeereza yaayo ey’okutambuza ssente mu ggwanga n’ensi yonna. [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 "Uganda Posts Ltd", Ministry of Information and Communication Technology, 4 April 2010.
- ↑ "Home". www.ugapost.co.ug (in British English). Retrieved 2017-09-05.
- ↑ "Posta Uganda- Customer-Oriented Postal,Logistics,Financial Services- FAAs", Uganda Post Limited, 2005. Retrieved 4 April 2010.
- ↑ "Posta Uganda outs money transfer service". Daily Monitor (in Lungereza). Archived from the original on 2017-09-05. Retrieved 2017-09-05.