Jump to content

Radoje Domanović

Bisangiddwa ku Wikipedia
Radoje Domanovic.

Radoje Domanović (Mukutulansanja 16, 1873 – Muwakanya 17, 1908) yali muwandiisi omu Sabiya, munnamawulireera omusomesa, eyasingibwa okumanyikibwa olw’engero ze ezisomooza.

Ebirombojja obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Radoje Domanović yazaalibwa mu kyaalo ekya Ovsište mu masekati g’ggwangalya Sabiya. Yatikkibwamu ssomero eKragujevac, mu Fakaluteya Philosophy ku ttendekero lya Belgrade Univasite, gyeyali asomera olulimi oluSabiya n’emisomo gy’ebyafaayo. Okuva mu 1895 mpaka mu 1898 Domanović yakola nga omusomesa w’olulimi OluSabiya n’ebyafaayo mu maserengeta ga Sabiya.

Mu biseera byeyali omusomesa, yatandika okuwandika engero ze ez’obuliwo. Mu biseera byeyali agolagana n’ab’oludda oluvuganyi, yafiirwa omulimu gwe era nagenda mu Belgrade n’amaka ge. Mu Belgrade, weyatandikira ogw’obunnamawulire mu bibinja by’obufuzi eby’enjawulo nga abawandiikira ebitabo eby’obufuzi nengero ezisomooza era nga omwo mweyayanjaliza obulyake n’obulimba obw’abakulembeze. Radoje yatandika okumanyibwa ennyo weyatongoza engero ze eziyitibwa “Omukulembeze” (1901) ne “Stradija“ (1902). Yamanyikibwa nyo nga omu ku bawakanya ekisinde ekya Obrenović n’obukulembeze bwabwe, olwensonga nti yali teyeluma ntama.

Oluvanyuma lw’amaje okuwamba entebe mu 1903, Domanović yawebwa obubaka okuva mu kitongole eky’eby’okusoma, wamu nne gavumenti empya, era nga bamukiliza okugenda mu Girimane okusoma eby’obukugu okumala omwaka gumu era nga yagumalira mu kibuga kya Munich. Bweyadda eSabiya, eky’ennaku enyingi Radoje teyasanga nkyukakyuka yonna mu ggwanga. Awo weyatandikira okuwandika akatabo ke ak’obufuzi akayitidwa, “Stradija”, nga omwo mweyavumilira obutalibwenkanya ne demokulase ennafu eya gavumenti empya, nga wadde okuwandika kwe teyakussaamu maanyi nga eddako.

Radoje Domanović yafa nga ebulayo dakika asatu okuwela mukaaga ogw’ekiro mu mwezi gwa Muwakanya 17, 1908, ku myaka gya 35, oluvanyuma lw’ebbanga nga alwanyisa ekirwadde kya lubyamira n’akafuba. Ebitabo ebilala byeyawandika ebitaali bitongoze byabulira mu ssematalo w’ensi yonna eyasooka. Olw’omulimu gweyakola ogw’okulwanyisa obulyake, n’amagezi ge, ajjukibwa nga omuwandiisi omuSabiya asingayo mu mulembe ogw’amakumi abiri.[1]

Ebiwandiko

[kyusa | edit source]

Ebimu ku biwandiko bya Radoje Domanović biteredwa wano wammanga:

  • Okusanyizibwaawo kw’amaddu, 1898
  • Enyanja enfu, 1902
  • Omukulembeze, 1902
  • Omulangira Marko, mumassekati g’abaSabiya ogw’okubiri, 1901
  • Omuzimu, 1898
  • Endowooza y’ente ennume, eya Sabiya, 1902

References

[kyusa | edit source]
  1. "Pulojekiti ya "Radoje Domanović"". domanovic.org. Archived from the original on 2013-07-11. Retrieved 2021-03-27. {{cite web}}: Check |url= value (help)

Website

[kyusa | edit source]

Ebiwandiko bya Radoje Domanović mubumalirivu