Jump to content

Raphael Owor

Bisangiddwa ku Wikipedia

Raphael Owor musawo munnayuganda, musawo w'endwadde, mukugu mubyensoma era munonyereza mu byobusawo.[1] Ye Chancellor akyasembyeyo okundirwa mu bigere owa Mbarara University of Science and Technology, ekifo kye yaweerezamu okuva mu 2003 okutuuka mu 2007.[2] Nga tannakola ekyo, yaweereza nga Dean wa Makerere University School of Medicine, oluvannyuma lw’okuweereza nga Pathology Professor era akulira Dipaatimenti ku Makerere University.[3]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yiniya eyookuna n'eyomukaaga, Owor yabimalira ku St. Peter's College Tororo, nga tannawebwa kifo mu Yunivasite y'e Makerere okusoma obusawo bw'abantu. Yatikkirwa diguli ye esooka eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery. Yayongera okufuna diguli eyookusatu mu busawo obwokunoonyereza ku ndwadde n'ekizireeta, nga nayo yagifunira Makerere. Oluvannyuma lw’okusoma e Makerere, yayongera okutendekebwa mu Bungereza, ng’akuguka mu by’endwadde z’abantu. Yaweebwa ekitiibwa kya Fellow mu ttendekero lya Royal College of Pathologists. Oluvannyuma nga 30 Ogwoluberyeberye 2010, Yunivasite y’e Mbarara yamuwa diguli ey'ekitiibwa eya Doctor of Science.[4]

Owor y’omu ku bakugu mu byensoma abaasigala emabega okuddukanya Ettendekero ly’abasawo erya Makerere University Medical School, nnakyemalira wa Uganda Idi Amin bwe yagoba Abayindi mu 1972. Owor yakwata Dipatimenti ya Pathology n’atandika okutendeka abakugu mu by’endwadde abapya wansi w’enteekateeka ya Master of Medicine in Pathology. Mu kiseera kye, pulogulaamu ya Master of Medicine mu Hematology nayo yatongozebwa.[5] Oluvannyuma, yaweereza nga Dean, Makerere University School of Medicine, nga tannaweereza nga kyansala wa Mbarara University, okuva mu 2003 okutuuka mu 2007.[2] Ye muntu eyasooka mu Uganda, nga si mukulembeze wa Gavumenti, okuweereza nga kyansala wa yunivasite ya gavumenti.[6][7]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2003, yafuuka ssentebe eyatandikawo ekibiina kya African Health Research Forum, ekibiina ekigatta abantu bonna mu Afrika ekigenderera okutumbula okunoonyereza ku by’obulamu olw’enkulaakulana mu Afrika. [8]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Metromed Medical Centre: Who We Are". Metromed Medical Centre (MMMC). 2013. Retrieved 11 March 2015.
  2. 1 2 Tumushabe, Alfred (22 August 2008). "Uganda: Mbarara University Gets New Chancellor". Retrieved 11 March 2015.
  3. Cole P. Dodge and Paul D. Wiebe, ed. (1985). Crisis in Uganda: The Breakdown of Health Services (PDF). Oxford, New York, Toronto, Sydney, Frankfurt: Pergamon Press. Retrieved 27 April 2018.
  4. Talemwa, Moses (1 February 2010). "Mbarara University's First Class Graduates Hail Group Discussions". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 11 March 2015.
  5. Mulera, Muniini (16 July 2012). "Salute To Those Who Taught Us Medicine With Distinction". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 11 March 2015.
  6. Eremu, John (12 August 2003). "Uganda: Owor New University Boss". Retrieved 11 March 2015.
  7. Baguma, Raymond (30 January 2006). "Mbarara University Wants Aid". Retrieved 11 March 2015.
  8. Njoroge, James (2003). "New Organization To Promote African Health Research" (PDF). Bulletin of the World Health Organization. World Health Organization. 81 (1): 71–2. PMC 2572312. PMID 12640479. Retrieved 11 March 2015.