Raymond Otim
Raymond Otim (yazaalibwa 21 Ogwekkumi 1986) mu Kampala ) Munnayuganda, muzannyi wa cricket eyazannyira mu mpaka za 2005 ICC Trophy mu Ireland ne mu mpaka z'ensi yonna ez'abali wansi w'emyaka 19 eza 2006 U-19 Cricket World Cup mu Sri Lanka . Era yazannyira ne mu muzannyo gwa List A Cricket ng'azannyira Uganda. [1]
Otim yazannyira Uganda mu mpaka z'pkusunsulamu abanetaba mu mipiira gy'ensi yonna eza 2014 Cricket World Cup Qualifier e New Zealand. Kyokka Otim ne munne Faruk Ochimi tebaddayo mu Uganda ne ttiimu yaabwe empaka bwe zaaggwa, ne basigala mu New Zealand gye baasaba obubudamu. [2] [3] Abazannyi bombi baali bategese okugenda e Australia okuzannya n'abazannyi ba cricket ba Uganda abalala abaali eyo. [4] [5] Kyokka nga tebannatuuka Australia, abazannyi ba cricket bombi beewaayo eri ab’obuyinza mu New Zealand. [6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://cricketarchive.com/Archive/Players/62/62453/62453.html
- ↑ https://www.stuff.co.nz/sport/cricket/75884339/former-ugandan-international-faruk-ochimi-to-debut-for-hamilton
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/cricket/two-cricketers-disappear-in-new-zealand-1564712
- ↑ https://www.rnz.co.nz/news/the-wireless/371102/ugandan-cricketers-seek-asylum-in-nz
- ↑ https://www.sbs.com.au/news/article/ugandan-cricketers-liable-for-deportation/254bhq6ya
- ↑ https://kawowo.com/2014/02/18/ochimi-otim-turn-themselves/