Raymond Rushabiro
Raymond Rushabiro muzannyi wa firimu munnayuganda, era muzannyi wa mizannyo gya siteegi. Yabotola mu mulimu gwe ogw’okuzannya firimu bweyali nga azannya n’ekibiina kya siteegi ekisinga okumanyika mu Uganda ekya Ebonies ng’alabikira mu mizannyo gyabwe egiwerako.[1] Rushabiro era alabibwa mu firimu ya Kweezi Kaganda eya Any cow will do wamu n’abaali abayizi e Namasagali eyalagibwa ku National Theatre mu Uganda.[2] Yasooka okulabika mu sinema nga azannya nga Kasirivu mu firimu ya Bala Bala Sese (2015) eyakulemberwa Lukyamuzi Bashir. Era yalabikako ng'omuyambi mu firimu ya Uganda eya 2016 eyitibwa The Only Son (nga Uncle),[3] Situka (2015) era nga jjajja wa famire ya Muwonge mu 5 @Home ku Fox Life (2015-2018). Yakola ku firimu endala ne n'emizannyo gya ttivvi omuli Freedom (2016), Girl from Mparo (2016) ne Kyaddala (2019).
Yasunsulwamu munnakatemba asinga okuzannya katemba (Firimu n'emizannyo gya Ttiivi) mu ngule ya 2018 eya Africa Magic Viewers Choice Award [4]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Med Kimbugwe (2011). "The Ebonies Take Theater To The People With Hold Devil D Wanchekecha". HiPipo. Archived from the original on 4 July 2011.
- ↑ Edwin Nuwagaba (11 September 2010). "Any cow will do? Not in modern Uganda". The East African. Archived from the original on 14 September 2013.
- ↑ Ronald Mugabe (n.d.). "'The Only Son' premiered". New Vision.
- ↑ Chibumga Izuzu (30 June 2018). ""Tatu," "Banana Island Ghost," "Isoken," Odunlade Adekola, Dakore Akande among nominees". Pulse. Archived from the original on 29 July 2018. Retrieved 3 August 2025. - "AMVCA 2018 Nominees' List Out!". Glitz Africa. 2018.