Rebecca Kadaga

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rebecca Alitwala Kadaga yazaalibwa nga 24 Ogwokutaano mu 1956, nga munamateeka Omunayuganda ate era munabyabufuzi eyawerezaako nga omwogezi wa Paalamenti ya Uganda okuva nya 19 Ogwokutaano mu 2011, okutuusa 21 Ogwokutaano mu 2021. Esaawa eno akola nga Omumyuka wa Saabaminisita wa Uganda asooka, nga kuno kw'ateeka okubeera Minisita w'akakiiko akavunaanyizibwa Kunsonga z'Omubugwanjuba bwa Afrika, mu Kabineeti ya Uganda.[1]

Ye mukyala eyasooka okubeera nga alondebwa ku ky'okubeera omwogezi mu byafaayo bya Paalamenti ya Uganda. Yeeyadira Edward Ssekandi mu bigere, eyawereza nga omwogezi okuva mu 2001 okutuuka mu 2011.[2][3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Kamuli, mu Buvanjuba bwa Uganda, nga 24 Ogwokutaano mu 1956. Rebecca Kadaga yasomera ku Namasagali College eby'enjigiriza bye ebya siniya, nga bweyamaliriza, n'agenda ku Yunivasite y'e Makerere gyeyatikirwa ne Diguli mu Mateeka mu 1978. Yeeyongerayo n'afuna Dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka okuva kutendekero lya Law Development Center erisinganibwa mu Kampala mu 1979. Mu 2000, yafuna Dipulooma u By'amateeka G'abakyala okuva ku Yunivasite ye Zimbabwe. Mu 2003, yafuna Diguli ey'okubiri ng'esira yasinga kuliteeeka ku By'amateeka g'abakyala, nga nayo yagigya ku Yunivasite ye Zimbabwe.[4] Mu 2019, Yunivasite ye Nkumba, nga eno yunivasite ya bwanannyini mu Uganda, eyawa Kadaga ekitiibwa kya diguli y'okubeera nga yali akuguze mu By'amateeka.[5]

Obumannyitivu bwe mu by'emirimu[kyusa | edit source]

Wakati wa 1984 ne 1988, yali yeenyigira mu by'amateeka wabula okwabwanannyini. Okuva mu 1989 okutuuka mu 1996, yawereza nga Omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ya Kamuli, mu Konsitituweensi y'abakyala. Yawereza nga ssentebe w'akakiiko ka Yunivasite y'e Mbarara wakati wa 1993 okutuusa mu 1996. Mu kaseera ka 1996 yawereza nga omuwandiisi w'akakiiko akagata abakyala okuva mu Paalamenti z'omubuvanjuba bwa Afrika.

Okuva mu 1996 okutuuka mu 1998, Rebecca Kadaga yeeyali Minisita wa Uganda Omubeezi ow'enkwatagana y'ebitundu bya Afrika ne mu Middle East. Okuva mu 1998 okutuuka mu 1999,yeeyali Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'empuliziganya n'eby'entambula y'ennyonyi, nga okuva mu 1999 okutuuka mu 2000, yeeyali Minisita avunaanyizibwa ku by'ensonga za Paalamenti. Yalondebwa nga omumyuka w'omwogezi wa Paalamenti mu 2001, ekifo kyeyalimu okutuuka nga 19 Ogwokutaano mu 2011, bweyalondebwa ku ky'omwogezi wa Paalamenti.[6]

Okugoberera okulonda kwa bonna okwo Gwokubiri mu 2016, Kadaga yaddamu n'alondebwa nga omwogezi wa Paalamenti nga tavuganyiziddwa era nga buli akiriziganya naye nga 19 Ogwokutaano mu 2016.[7]

Mu Gwekumineebiri nga 20, 2017 Kadaga yali mubuyinza mu Paalamenti ya Uganda bweyali akola enkyuka kyuka mu semateeka, n'ebirina okugobererwa eri ababaka abaagala okwesimbawo ku bwa pulezidenti, nga balina okubeera nga tebasusa myaka 75 egy'obukulu. enkyuka kyuka eno yawa Museveni eddembe ly'okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda ebisanja ebirala mukaaga ng'ali mu ofiisi.[8]

Nga 14 Ogusooka mu 2021, Kadaga yaddamu n'alondebwa ku ky'omubaka wa Paalamenti omukyala Okukiikirira Disitulikiti y'e Kamuli. Wabula, ng'esira yasinga kuliteeka ku kakuyege w'okusigaza ekifo kye nga Omwogezi wa Paalamenti ku kisanja eky'okusatu. Kadaga yawangulwa mu kalulu k'okubeeta omwogezi wa eri eyali omumyuka we Jacob Oulanyah oluvannyuma lw'okubeera nga ekibiina kye ekya National Resistance Movement (NRM) kyali kimugyemu obwesige .[9]

Emirimu gya Paalamenti[kyusa | edit source]

Nga ogyeeko okubeera omwogezi wa Paalamenti ya Uganda, yatuula nga ku bukiiko bwa Paalamenti okwali:

  • Akakiiko akakola entegeka z'ababaka okubeerako ne gwebasisinkana –Akakiiko akalabalaba entegeka za babaka ba Kabineeti zonna ewa Pulezidenti, nga kasobola okuzikiriza oba okuzigaana: Omwogezi wa Paalamenti y'akubiriza akakiiko kano
  • Akakiiko ka Paalamenti akakola ebiragiro – Omwogezi wa Paalamenti y'akubiriza akakiiko kano
  • Akakiiko akavunaanyizibwa mu Bizineensi – Omwogezi wa Paalamenti y'akubiriza akakiiko kano

Obukuubagano[kyusa | edit source]

Kadaga yalayira okuyisa eteeka eriwakanya okulya ebisiyaga mu Uganda nga ayita mu Paalamenti mu Gwekumineebiri mu 2012. Eteeka lino ebiseera ebisinga baali baalikazaako eky'eteeka ly'okutta omuli w'ebisiyaga, nga kino kyali kisuubirwa okubeera nga omuli w'ebisiyaga bwali bukuweesa ekibonerezo kya kufa, oba okuteeka mu komera obulamu bwo bwonna naye oluvannyuma ekibonerezo ky'okufa nekigibwa muteeka lino. Yali agamba nti kyali kyakufuuka teeka okuva nti banayuganda abasinga baali bakikola.[10]

Mu Gwekumineebiri mu 2012, Kadaga yali Rooma okwogerako mu lukungaana oluyitibwa the Seventh Session of the Consultative Assembly of Parliamentarians for the International Criminal Court and the Rule of Law.[11][12]

Olugambo lwasaasaana nga Kadaga bweyali afunye emikisa okuva ewa Paapa Benedict XVI mu kusaba okwali e Vatican.[13] Nga amawulire gamazze okufuluma, omwogezi w'e Vatican Father Federico Lombardi yafulumya ekiwandiiko ekyali kigamba nti: “ enkolagana n'abakungu tezaali zabulijo, era tewaali mikisa gy'aweebwa. Ekibiina kya Babaka okuva e Uganda baabuuza Paapa, nga omuntu omulala yenna eyali asisinkanye Paapa weyandibadde, nga kano tekaali kabonero kanjawulo ak'okukiriza ebikolwa by'ebikolwa bya Kadaga oba okusaba kwe.” [14]

Mu Gwokusatu mu 2020, mu kaseera k'omugalo olwa COVID-19, Kadaga yawandiika ku mukutu gwe ogwa ''tweeter'' nti fuuyira, nga kino kyekitirawo akawuka akaleeta obulwadde bwa Corona, nga lino lyali lizuliddwa ng'era ligenda kuba likolebwa mu Uganda.[15] Ya[16] wa ekirowoozo kye oluvannyuma ekyategerekekwa nti okulongoosa okutono kwali kusobola okujanjaba COVID-19, nga yafuna okuvuirirwa okwamaanyi okuva emikutu kya 'social media' mu Uganda, wamu n'ebitongole eby'ekikugu mu kisaawe ky'eby'obulamu nga ekya Uganda Medical Association,[17] n'ekya Pharmaceutical Society of Uganda. Bano yabaddamu nga agamba nga webaali tebalina bwongo.[18]

Mu Gwokuna mu 2020, mu biseera by'omugalo olwa COVID-19, Kadaga ne babaka bane aba Paalamenti baagabana obuwuumbi 10 eza ssente za Uganda nga zino zaalina kubeer nsiimbi zakuyamba mukulwanyisa okusaasaana kw'ekirwadde kino, wamu n'okutaataganya kebwaleeta mu by'enfuna wamu n'embeera y'abantu.[19]

Laba nebino[kyusa | edit source]

Ebikuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.independent.co.ug/new-cabinet-museveni-drops-kutesa-10-ministers/
  2. http://www.ipsnews.net/2011/05/politics-first-woman-speaker-of-parliament-changing-politics/
  3. https://web.archive.org/web/20141211080732/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755206
  4. http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=16.000000&const=Woman+Representative&dist_id=20.000000&distname=Kamuli
  5. https://www.monitor.co.ug/News/National/Nkumba-University-awards-Kadaga-Honorary-Doctorate-Laws/688334-5325766-3vppii/index.html
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2018-04-11. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Kadaga Speaker, Oulanyah Deputy", New Vision, 19 May 2016.
  8. https://www.independent.co.ug/kadaga-vote-me-i-helped-push-age-limit-debate/
  9. https://nilepost.co.ug/2021/05/24/jacob-oulanyah-is-new-speaker-kadaga-comes-second/
  10. http://www.huffingtonpost.com/2012/11/12/uganda-anti-gay-bill-2012-pass_n_2116584.html
  11. http://www.pgaction.org/activity/2012/cap-icc-vii.html
  12. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2015-09-24. Retrieved 2021-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. http://www.parliament.go.ug/new/index.php/about-parliament/parliamentary-news/147-speaker-kadaga-receives-blessings-from-the-pope-at-vatican-mass
  14. http://vaticaninsider.lastampa.it/en/the-vatican/detail/articolo/benedetto-xvi-benedict-xvi-benedicto-xvi-omosessualita-homosexuality-homosexualidad-20674/
  15. https://www.softpower.ug/uganda-partnering-with-a-u-s-inventor-to-produce-disinfectant-that-kills-coronavirus-kadaga/
  16. https://www.softpower.ug/medical-doctors-body-scientist-endorsed-by-kadaga-for-covid-19-cure-is-a-quack/
  17. https://ugandaradionetwork.net/story/uganda-medical-association-there-is-no-known-cure-for-covid-19-
  18. https://nilepost.co.ug/2020/03/18/coronavirus-kadaga-hits-back-at-brainless-medical-body-over-quack-doctor-claims/
  19. https://www.softpower.ug/kadaga-to-mps-stop-discussing-shs-10bn-allocation-to-parliament-leave-it-to-me/

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]