Resolve Uganda
Resolve Uganda yatandika nga Uganda Conflict Action Network (era batera okugiyita Uganda-CAN) era nga yali pulojekiti yakumukutu ey’okulondoola n’okwekeneenya ng’enoonya okumanyisa abantu ku kubonaabona okwali kuva kuletebwa obuyeekera bw’amagye ga Lord’s Resistance Army mu bukiika ddyo bwa Uganda. Kaweefube ono yatandika mu 2005. Kuntandikwa ya 2007, Uganda-CAN yafuuka Resolve Uganda, ekibiina ekijjuvu ekyagenderera okukuuma obukulembeze bwa Amerika obwetaagisa okumalawo olutalo nga basinziira ku musiingi gw’amaanyi g'abantu aba wansi n’okulwanirira abantu.
Abayizi ba Yunivasite y’e Notre Dame babiri abaali batambula ebweru w’eggwanga mu Uganda baatandikawo ekibiina kya Uganda Conflict Action Network mu 2005. Bwe baali emitala w’amayanja, Peter Quaranto ne Michael Poffenberger baategeera ebikolwa eby’obukambwe eby’olutalo ebyamala emyaka 19 nga biva mu magye ga Lord’s Resistance Army (LRA). Olutalo luno olw’ekyama lwaleka enkumi n’enkumi z’abantu nga bafudde, abaana abasuka mu 25,000 nga bawambiddwa, era abantu nga obukadde 1.6 ne babeera mu nkambi ezaali mu mbeera etiisa.
Nga baluŋŋamizibwa okubonaabona kwa Bannayuganda abaali banyigirizibwa, baakolera wamu okutondawo Uganda-CAN nga bakomyewo mu masaza. Quaranto ne Poffenberger baategeera obuyinza Abamerika bwe bayinza okuba nabwo ku gavumenti ya Uganda okuleeta okugonjoola olutalo mu mirembe. Ekitongole kya Africa Faith and Justice Network, ekisangibwa mu Washington, kye kyawagira ekibiina kino. [1] Ekigendererwa kyali kya kusomesa abakola enkola ku bigenda mu maaso, nga balina essuubi nti okweyongera okumanyisa abakulembeze b’eby'obufuzi kwandiviiriddeko ekikolwa ekyetaagisa okumalawo obutabanguko buno. [2] Uganda-CAN yawagira emirembe n’okuzza obuggya ekitundu kya Great Lakes mu Afrika, ate n’egumiza obulungi bwa gavumenti ekola ku byetaago bya banaansi baayo abasinga okubeera nga tebasobola kweyamba. [3] Abakozi ne bannakyeewa ba Uganda-CAN bakoze enkolagana mu lukiiko lw'abakungu n’ebibiina ebirala ebikwatagana ne Afrika mu Washington wamu n’ebitongole bya Uganda.
Enkyuukakyuuka
[kyusa | kolera mu edit source]Uganda-CAN yasooka kuwa mawulire ku butabanguko bwa LRA n’okuwa endowooza zaabwe ku ngeri y’okukigonjoola nga basuubira nti abakulembezze beeby'obufuzi bajja kubaako ky’ebakola. Abaakitandika mu bwangu baakitegeera nti ekyo kyali tekigenda kumala. Olw’ebintu ebikulu ebivuganya n’obutabeera na kukungaanya kwa banaansi mu ngeri etegekeddwa, abakulembezze abatono abaalondebwa baali bawulira nti baalina olukusa lw'okuyamba okukomekereza obutabanguko obwaali butawaanya ebitundu by'omu Afrika ebitali byangu byakutukikako.
Okukola enkyukakyuka kyandibadde kyetaagisa okukozesa okumanya okufunibwa ku butabanguko buno, okubunyisa okumanya okwetoloola eggwanga lyonna wamu n'okukola kakuyege. Resolve Uganda yatwaala ekifo kya Uganda-CAN mu 2006 mu suubi eryo. LRA bwe yalumba emirirwaano gy'ensalo salo gya South Sudan, Democratic Republic of Congo, ne Central African Republic, ekibiina kino kyasalawo okusigala nga kimannyikiddwa nga Resolve mu 2010. [4] Resolve kati ekola okutumbula nkyukakyuka mu nkola, ng'ekola nkolagana n’ebibiina nga Invisible Children, Human Rights Watch, ne Refugees International. [5]
Laba nebino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Jones, Ingrid J. "AFJN Launches Uganda Conflict Action Network." Uganda Watch. 11 June 2005.
- ↑ Who We Are, Our Origins. TheResolve.org Retrieved 2012-03-19
- ↑ 'Uganda Conflict Action Network" Human Security Report Project. 25 Oct. 2005. Web.
- ↑ Who We Are, Our Origins. TheResolve.org Retrieved 2012-03-19
- ↑ Our Partners, Who We Work With. TheResolve.org Retrieved 2012-03-19
- ' Uganda Conflict Action Network" Pulojekiti y'alipoota y'eby'okwerinda by'abantu. 25 Ogwekumi. 2005. Web.
- P. Quaranto nga bwe. "Muyambe Okumalawo olutalo olukwese mu Northern Uganda" World Learning. 2 Ogwomukaaga 2005.
- Jones, Ingrid J. " AFJN Etongozza Omukutu Gw'okukola ku butakkaanya mu Uganda." Uganda Watch. 11 Ogwomukaaga 2005.
- Bannaffe, Be Tukolagana Nabo . TheResolve.org Yafunibwa nga 2012-03-19
- Be Tuli, Ensibuko Yaffe . TheResolve.org Yafunibwa nga 2012-03-19