Richard Idro
Richard Iwa Idro y'Omusawo w'obwongo bw'abaana mu Uganda, omunoonyereza era omuyigiriza, akola nga omuyuka wa pulofeesa mu Department of Pediatrics and Child Health ku sso,ero lya Makerere University College of Health Sciences.[1]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Idro yazaalibwa mu Moyo, esangibwa mu Uganda mu 1970. Oluvannyuma lw'okugenda mu masomero ga pulayimale ne n'aga siniya, yaweebwa ekifo mu Makerere University School of Medicine, n'amaliriza mu 1996 ng'alina diguli esooka eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery. Mu 2001, yafuna diguli eyookubiri eya Master of Medicine mu By'abaana okuva mu ssomero lye limu ery'abasawo. Diguli ye eyookusatu eya Doctor of Philosophy yagigya mu University of Amsterdam mu Netherlands mu 2008. Yakola ng'omusawo w'obwongo bw'abaana.[2][3]
Mu Gwomunaana 2022, yalondebwa okuba omu ku ba mmemba ba Royal College of Paediatrics and Child Health (FRCPCH) ekisangibwa e Bungereza. Lino ly'eddaala erisnga obunene erisobola okutuukibwako oba okuweebwa omusawo w'abaana mu mawanga ga Commonwealth of Nations.[4]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Idro musawo w'abaana omukugu, ng'alina n'obumanyirivu obw'amaanyi ng'Omusawo w'obwongo. Okunoonyereza kwe kuzingiramu Akawuka ka Siriimu mu bavubuka, okukwatagana wakati w'akawuka akaleeta siriimu n'omusujja gw'ensiri, n'engeri omusujja gw'ensiri ogukwata ku bwongo gye gweyisaamu, n'ebirala. Gye buvuddeko awo, omulimu gwe gweyongeramu okunoonyereza ku buvune obulwadde bwa Nalubiri, bwe butuusa ku bwongo, viral encephalitis n'ensimbu mu baana.[5]
Mu kiseera kye kimu, abeeranya eky'okukola ng'omuwi w'amagezi mu busawo bw'abaana n'obusawo bw'obwongo mu Mulago National Referral Hospital (MNRH), mu Kampala, Uganda. MNRH ly'eddwaliro erisomesa erya Makerere University College of Health Sciences.[5][6]
Ye mukulembeze w'abasawo b'obulwadde bw'okunyenya omutwe, nga eno mbeera y'abwongo bw'abaana etategeerekeka bulungi, erina obubonero omuli okukankana, okuddirira mu nkola y'obwongo n'okuddirira mu kukula. Ensibuko yaabwo tennaba kumanyibwa, era tewaaliwo bujjanjabi we bwatuukira mu 2019.[7]
Ebitiibwa bye n'awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwokubiri 2019, London School of Hygiene and Tropical Medicine (LSHTM) yalangirira Idro ng'omuwanguzi w'awaadi ya Greenwood Africa Award 2019.[8] Awaadi eyo yaliko okufuna omudaali n'okubeera mu LSHTM okumala wiiki emu. Omuwanguzi yeetaagibwa okusomesa kwa Greenwood. Mu wiiki y'okubeera ku LSTMH mu London, omuwanguzi yeetaagibwa okukolagana n'abayizi ab'omugaso n'okuwa emisomo nga embeera bwe yamusobozesanga. Awaadi eyo yalina kufunibwa banoonyereza ku by'obujjanjabi abali ku mutendera gwa mid-level mu ndwadde ezisiigibwa mu bitundu bya Africa ebiriraanye eddungu Sahara. Kiweebwa buli luvannyuma lw'emyaka esatu, era Idro yeeyasooka okugifuna. [5][6][9]
Ebirala bye baalowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Y'omu ku bakulembeze b'abantu omunaana abakulira ekitongole kya Global Health Uganda, ekitongole ekitakolerera magoba ekirina ekigendererwa eky'okutumbula okunoonyereza ku by'obulamu bw'abaana mu Uganda.[10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Okukubaganya ebirowoozo ne Dr Richard Idro bwe bwatuukira mu Gwokutano gwa 2008
- ↑ https://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/-Ugandan-family-women-hospital-Mulago-Health-Parliament/689364-4786786-78fhm5/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-21. Retrieved 2025-09-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://pure.uva.nl/ws/files/1671328/54787_17.pdf
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uk-college-honours-ugandan-doctor-for-professionalism-4008040
- 1 2 3 https://www.lshtm.ac.uk/newsevents/events/greenwood-lecture-severe-malaria-nodding-syndrome-and-wisdom-teeth
- 1 2 https://news.mak.ac.ug/2019/02/maks-dr-richard-idro-scoops-lshtm-inaugural-greenwood-africa-award-2019
- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Passionate-about-childrens-health/434746-5079686-j9npk2/index.html
- ↑ https://www.lshtm.ac.uk/aboutus/introducing/medals/the-greenwood-africa-award
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Makerere-don-scoops-research-award-nodding-syndrome/688334-5001140-ubp9x6/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-22. Retrieved 2025-09-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)