Richard Musani
'Richard Musani (yazaalibwa 15,Omwezi ogwomukaaga 1985) munnayuganda omukungu ali ku ddaala erisembayo eyakakasibwa mu bwakitunzi, eyeebuuzibwako mu kuddukanya bizinensi entonotono, omukugu mu by'emmotoka era muwandiisi wa miko gya mawulire ku bizinensi. Ye mukulu w'obwakitunzi owa Movit Products Limited, kkampuni ekola ebamaguzi ebyokwelabirira ng'omuntu era nga yaliko akulira okuddukanya ettabi lya Kampala Motors. Yeegatta ku MPL mu 2012 ng’akulira okulongoosa erinnya n'ekifaananyi kya Movit , kkampuni ekola ebirabirira olususu, [1] oluvannyuma lw’okumala emyaka esatu n’emyezi munaana mu Kampala Motors. [2] Akozesa emyoleso egiwangulidde MPL engule z'emyoleso gy'obusuubuzi ez'enjawulo mu ttuluba lyomwolesi asinaga [3] era eddako yakolako nga pulezidenti w'ekibiina ekikuliraabayizi ekya yunivasite y'e Kyambogo. [4]
Musani yali kitundu ku kibinja ekyakola enteekateeka namutaayika eya African SME Master (African SME Master) wansi w'okulungamizibwa kw'akakiiko k'ekibiina ekigatta amawanga ga Afirika (African Union Commision) . [5] Era yayambako mu kufulumya akatabo akasooka aka African Journal of Management (AJOM), enteekateeka y'ekitongole kya GIZ ng’ekolagana n’omukago ogugatta amawanga agali mu buvanjuba bw'Afrirka (EAC). [6]
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Richard Musani yazaalibwa mu Kapchorwa, akabuga mu buvanjuba bwa Uganda, nga 15 Omwezi ogwomukaaga 1985. Wa ggwanga lya ba sebeyi, [7] [8] yazaalibwa mu maka amakulisitaayo . Yasomera Kapchorwa Modern Primary School ku misomo gye egy'ebibiina bya pulayimale ebyawaggulu gye yakola ennyo mu kutondawo ebibiina ebikubaganya ebirowoozo.
Musan nera yasomera St Peter's College Tororo ku misomo gye egya siniya gye yaweereza ng'eddoboozi ly'abayizi ,omumyuka w'omukulembeze atwala ekisulo ki Bernard Onyango House n'era omukulembeze avunaayizibwa okulabirira ebibajje.N'era yaweerezaako ng'a ssentebe w'akakiiko k'abakulembeze b'abayizi aka disitulikiti y'e Tororo.
Musani yayongera okugenda mu yunivasite y’e Kyambogo ku ddiguli ye esooka gye yalondebwa nga kkansala akiikirira ebbanguliro ly'emisomo gy'ebyemikono ku lukiiko olukulembera abayizi, n’alondebwa nga Minisita ow’ebyamawulire , okukunga , empuliziganya n’entambula ku likiiko olukulembera abayizi era n’alondebwa ng’akola nga pulezidenti w'olukiiko olukulembera abayizi. [4] Ekyaddako, yeegatta ku yunivasite y'e Makerere okusoma ddiguli ye eyokubiri n'ebbanguliro eribangula ba kitunzi ( CIM) ku dipuloma eya waggulu eddirira ddiguli esooka (Post graduate diploma) . Musani alina alina ddiguli eyokubiri mu bwa kitunzi (2011) okuva mu yunivasite y’e Makerere ne dipuloma eyawaggulu eddirira ddiguli esooka (Post graduate diploma) okuva mu bbanguliro eribangula ba kitunzi CIM .
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Musani yatandika emirimu gye ng'omukungu mu bwakitunzi ku kkampuni y'amawulire eya Riley Media nga tannalondebwa nga omukulemebeze addukanya ettabi lya Kampala Motors mu mwezi ogwomunaana 2010, [2] gye yakwasaganyanga ddiiru z'emmotoka ez'ekika kya Subaru ne Mahindra, mu kiseera ekyo ng'ayingiza obukadde bwa ddoola za Amerika buna mu kutunda buli mwaka . Mu Mwezi ogwekkumi 2012, yalondebwa ku ky'omukulembeze alongoosa erinya n'ekifaananyi kya Movit mu MPL . [1] Mu mwezi ogwokusatu 2013, yakuzibwa n’atuuka ku kifo ky'addukanya ebyakitunzi ate mu Mwezi ogusooka 2016 n’ayongera okukuzibwa ku buvunaanyizibwa bw'okukulira ebyakitunzi . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (February 2018)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Musani y’alondodde enzirukanya n’okukulaakulanya ebyamaguzi ebikolebwa ebipya Radiant, ekika ekirabirira enviri ne Skin Guard, ekika ekirabirira olususu n'ebika ebirala bingi omuntu byakozesa okwerabirira ku MPL. [9] Akulembeddemu enkula ya kkampuni y’okulabirira abantu mu butale bw’okutunda ebweru w’eggwanga. Ekibinja kye ekikola emirimu eggy'enjawulo kirina abakozi abatakka wansi wa 120 abawa obuyambi obw’omusingo eri obutale bwonna mu ttundutundu ly'obusuubuzi mu buvanjuba n'obukiika ddyo bwa Afirika (COMESA). Mu Mwezi ogwekkumi 2015, Musani yali kitundu ku kibinja ekyakola enteekateeka namutaayika eya African SME Master wansi w'okulungamizibwa kw'akakilko k'ekibiina ekigatta amawanga ga Afirika( African Union Commission ). Mu myezi esatu egyasooka egya 2016, Musani yayambako mu kufulumya akatabo akasooka aka African Journal of Management (AJOM), enteekateeka y'ekitongole kya GIZ ng’ekolagana n’omukago gw'amawanga agali mu buvanjuba bw'Afirika (EAC). Musani n'era yeyeebuuzibwako omukulu owa kkampuni ya Rimusan Limited .. [6]
Op-eds & okubuuza ebibuuzo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebiyitibwa Op-eds
[kyusa | kolera mu edit source]- "Private universities may out-compete public ones". New Vision. April 14, 2008.
- "Reduce interest rates to boost local investments". New Vision. July 9, 2009.
- "Public universities need marketing skills". New Vision. September 1, 2009.
- "Use the private sector to drive EAC integration". New Vision. October 20, 2009.
- "East Africa: Why Region Needs a Harmonised Property Rights Law". New Vision. September 8, 2010.
- "Let us empower the Sabiny girls to fight FGM". New Vision. December 28, 2010.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- "Golola wins comeback fight but ..." Daily Monitor. February 5, 2021.
- "Executive watch". New Vision.
- "Best exhibitors rewarded as trade expo ends". The New Times. 2014-08-06.
- "Private universities may out-compete public ones". New Vision.
- "Delegates having group discussions on various topics around SMEs #SMEAfrica". SME Africa.
- Akko, Sirili (2015). "Managing Tourism Market Borders and Fluid Goods in EAC Countries". Africa Journal of Management. 1 (4): 406–410. doi:10.1080/23322373.2015.1105462.
- "Let us empower the Sabiny girls to fight FGM". New Vision.
- "A Culture of Courage, Fear and Brutality". The New Times. May 24, 2010.
- "Movit looks to strengthen presence in the region". The New Times. 2013-09-02.
- This reference is defined in a template or other generated block, and for now can only be edited in source mode.
- 1 2 "Golola wins comeback fight but ..." Daily Monitor. February 5, 2021.
- 1 2 "Executive watch". New Vision.
- ↑ "Best exhibitors rewarded as trade expo ends". The New Times. 2014-08-06.
- 1 2 "Private universities may out-compete public ones". New Vision.
- ↑ "Delegates having group discussions on various topics around SMEs #SMEAfrica". SME Africa.
- 1 2 Akko, Sirili (2015). "Managing Tourism Market Borders and Fluid Goods in EAC Countries". Africa Journal of Management. 1 (4): 406–410. doi:10.1080/23322373.2015.1105462.
- ↑ "Let us empower the Sabiny girls to fight FGM". New Vision.
- ↑ "A Culture of Courage, Fear and Brutality". The New Times. May 24, 2010.
- ↑ "Movit looks to strengthen presence in the region". The New Times. 2013-09-02.