Jump to content

Richard Nduhura

Bisangiddwa ku Wikipedia

Richard Nduhura, ebiseera ebimu liwaandiikibwa Richard Nduhuura, munnayuganda, munnabyabufuzi, munnamawulire era nga musawo wabisolo nga mu kiseera kino akola nga omukiise wa Uganda ow'enkalakkalira mu kibiina ky'amawanga amagatte . Ono yalondebwa ku kifo kino mu August wa 2012.[1] Ekyo nga okitadde ebbali, yaliko Minisita w’ebyobulamu (General Duties) mu kabineti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo mu gwomukaaga nga 1 2006. [2] Mu nkyukakyuka mu kabineti nga 16 ogwokubiri mu 2009,[3] n’eya nga 27 ogwokutaano 2011,[4] yasigaza ekifo kye ekya kabineti.

Ensibuko n’obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Bushenyi, nga 17 ogwokubiri mu 1956. Nduhura alina diguli ya Bachelor of Veterinary Medicine (BVM), okuva mu Ssetendekero wa Makerere, Yunivasite esinga obukulu mu Uganda.

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu mwaka gwa 1979, yatandika okukola nga omusawo w'ebisoro era n’agenda mu maaso n’okukola okutuusa mu mwaka gwa 1989. Mu mwaka gwa 1988, yalondebwa okuba omuwandiisi w’olukiiko lw’ebitundu mu disitulikiti y’e Bushenyi (LC-V), era n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu mwaka gwa 1989. Wakati w'omwaka gwa 1998 ne 2001, yakolako nga Ssentebe w’akakiiko k’obuweereza mu disitulikiti y’e Bushenyi. Mu mwaka gwa 2001, yayingira ebyobufuzi, n’avuganya ku kifo kya plane tickets mu Igara County East, mu Disitulikiti y'e Bushenyi . Ekifo yakiwangula era n’addamu okulondebwa mu mwaka gwa 2006. Wabula ate mu mwaka gwa 2011 yawangulwa mu kulonda kw'akamyufu n’awangulwa omubaka ali mu ntebe, Michael Muranga Mawanda nga naye wakibiina kya National Resistance Movement (NRM).

Mu mwaka gwa 2001, yalondebwa okuba Minisita w’amakolero, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2003. Oluvannyuma yalondebwa okubeera Minisita w’eggwanga ow’ebyobusuubuzi, gye yaweereza okutuusa mu mwaka gwa 2005. Oluvannyuma yaweerezaako akaseera katono nga Minisita w’eggwanga owa Gavumenti ez’ebitundu wakati wa

'omwaka 2005 ne 2006.

Yalondebwa okuba Minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu ow’emirimu egy’enjawulo, n’aweereza mu kifo ekyo okuva mu 2006 okutuusa lwe yalondebwa okuba Omubaka w’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu August 2012.[5][6]

  1. ↑ Butagira, Tabu (17 October 2012). "African Union Picks Ayebare". Retrieved 3 March 2015.
  2. ↑ Mukasa, Henry (2 June 2006). "Cabinet Ministries Allocated". New Vision (Kampala). Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 3 March 2015.
  3. ↑ "Full Cabinet List As At 18 February 2009". New Vision (Kampala). 18 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 3 March 2015.
  4. ↑ "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". 27 May 2011. Retrieved 3 March 2015 – via Facebook.
  5. ↑ Lumu, David (12 March 2014). "Dr. Nduhura Is Still Our UN Envoy – Kiyingi". New Vision (Kampala). Retrieved 3 March 2015.
  6. ↑ Waswa, Sam (16 July 2021). "Museveni Grants Retirement to Amb. Nduhura from France". ChimpReports. Retrieved 4 May 2026.