Richard Sebamala
Richard Sebamala yazaalibwa 22 Ogusooka 1997.Munnayuganda, mukugu mu kuzimba enguudo, munnabizinensi, era munnabyabufuzi aweereza nga omubaka mu Paalamenti akiikirira Konsityuwensi y'e Bukoto mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu okuva mu 2021 okutuusa mu 2016 [1] Yalondebwa nga 14 Ogusooka 2021 mu kulonda kwa bonna mu Uganda okwa 2021 . [2]
Mmemba w'ekibiina kya Democratic Party of Uganda . [3] Mu Paalamenti ya Uganda akola nga mmemba ku kakiiko k’ebizimbe akalabirira minisitule y’ettaka n’amayumba saako ne minisitule y’emirimu n’entambula nga kw’otadde n’okubeera mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti mu COSASE. [4] [5]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Sebamala yazaalibwa nga 22 Ogusooka 1979 e Bisanje mu Ssaza ly'e Buddu mu Disitulikiti y’e Masaka mu masekkati ga Uganda. Pulayimale yagimalira mu Nazareth Boarding Primary School, nagenda ku Bukalasa Seminary ng'eno gyayamalira siniya ey'okuna. Siniya ey'omukaaga yagimalira ku Namilyango College mu 2000. Mu 2001, yeegatta ku Kyambogo Yunivasite n’atikkirwa mu 2005 ne diguli mu kuzimba enguudo n'ebizimbe eya Bachelor’s Degree of Engineering. [6] Era alina diguli ey'okubiri mu bukulembeze n'okuddukanya emirimu okuva ku ttendekero lya Uganda Management Institute . [7] [8] [9]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannatikkirwa ku yunivasite y’e Kyambogo mu 2004, Sebamala yaweereza ng’omutendeke mu kkampuni ya Zzimwe Construction Company, kkampuni ya Uganda ekola enguudo . Abaddeko mu bifo eby’enjawulo ebya yinginiya mu kkampuni ez’enjawulo nga Dayirekita mu Ddaki Technical Services (2006), Contract Manager mu Multiplex Uganda Limited (Ogwomwenda 2009-Ogwokubiri 2010), nga Dayirekita mu Multix Limited (kampuni ya yinginiya) 2010-2013 nga tannaba kwegatta ku Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Iganga nga yinginiya omukulu (2013-2019). [6] Mu kiseera kino, Sebamala akola bizinensi y’okuyingiza n’okufulumya ebintu mu kibuga Kampala. [10]
Eby'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 14 Ogusooka 2021, yalondebwa nga omubaka mu Paalamenti akiikirira Konsityuwensi y'e Bukoto mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumin'emu (2021 okutuuka 2026) mu kulonda kwa bonna okwa 2021 mu Uganda era nga 20 Ogwokutaano 2021 yalayizibwa ku bwa Mmemba wa Paalamenti . [11]Sebamala yawangula n'obululu 9916 nga yawangula eyali omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi eyali aweereza ng'omubaka mu Paalamenti ya Uganda ow'Essaza ly'e Bukoto okuva mu 1996 [12] [13]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Sebamala mufumbo eri Joanitah Mbabazi. Mmemba w'ekibiina kya Democratic Party of Uganda . [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://visiblepolls.org/ug/may-2017-kagoma-mp-by-election/candidates/sebamala-richard-8021/
- ↑ https://www.independent.co.ug/voter-seeks-to-overturn-victory-of-ssekandis-rival/
- 1 2 https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/constituencies/bukoto-central-116/
- ↑ https://www.parliament.go.ug/committee/2728/public-accounts-committee-cosase
- ↑ https://www.independent.co.ug/new-cosase-members-cautioned-on-corruption/
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/88427
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/many-thought-i-was-crazy-daring-to-unseat-vp-ssekandi-sebamala-3375304
- ↑ https://www.watchdoguganda.com/news/20210408/111628/10-questions-for-parliament-speaker-aspirant-engineer-richard-sebamala.html
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/politics/2019/12/youthful-civil-engineer-sebamala-moves-to-unseat-vp-ssekandi-from-bukoto-central.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-09. Retrieved 2025-09-21.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/sebamala-richard-8021/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/88427
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=_M6HCOWw2Y8