Richard Tuwangye
Richard Tuwangye (yazaalibwa 16 Ogwekkumi, 1980). Munnayuganda omuzannyi wa firimu, kkomedi, era muyimbi. Ye mmemba eyatandikawo ekibiina kya Fun Factory Uganda .
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Tuwangye yazaalibwa 16 Ogwekkumi, 1980 mu maka ga Enock Tuwangye ne Hope Tuwangye mu kibuga Masaka mu Uganda . [1] Mu 1987, yatandika okusoma pulayimale mu Molly and Paul Primary School, gye yatandikira okuzannya katemba w’essomero mu Kibiina Ekisooka oba P.1. [2] Mu P.5, yakyuka n'agenda mu Bwara Primary School n'amaliriza ebigezo bye eby'Ekyomusanvu mu 1993. Oluvannyuma yasomera mu St. Henry's College Kitovu, gye yamaliriza Siniya Eyookuna mu 1997. Yagenda mu maaso n'okusoma mu Kako Senior Secondary School, gye yafunira Satifikeeti y'okumaliriza Siniya Eyomukaaga. [1] Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Makerere University mu ssomero lya School of Performing Arts, n’atikkirwa diguli esooka mu katemba mu 2004.
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Okuzannya katemba
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2002, Tuwangye yazannya emizannyo egiwerako mu National Theatre, omuli The Virgin, The Journeys, ne A Jewel in Every Name . [3] Yeegatta ku Theatre Factory mu Gwekkumi 2003 n'oluvannyuma n'alabikira mu Hand in Hand nga Daudi ne The Last King of Scotland ng'omuyambi wa munnabyabufuzi. [4] [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (January 2020)">citation needed</span> ] Tuwangye era yeegatta ku Rock Point Radio, gye yazannyira nga Deo era n'awangula engule ya Voice Actor's Award nga tannavaayo mu 2007. [5] [3] Yazannya mu firimu ennyimpi eya What Happened in Room 13 [6] era n'atandikawo ekibiina kya Fun Factory Uganda mu Gwolubereberye gwa 2010, n'akola nga Communications Director era n'akola mu Comedicine . [7] [8]
Tuwangye yalabikira mu firimu ya Speak Out, eyasooka okulagibwa nga 21 Ogwolubereberye gwa 2010, [9] era ne yeegatta ku The Hostel mu 2011 nga Twine, [10] n’avaayo mu mwaka ogwaddako oluvannyuma enkaayana ezeekuusa ku bisale. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (January 2020)">citation needed</span> ] Era yali mu kibiina kya Silent Voices, [11] [12] The Play mu 2012. Mu 2016, Tuwangye yazannaya nga Dez mu firimu ya Queen of Katwe [13] era nga Dj Kadanke mu Rain . [14] Mu Gwomukaaga 2018, yali omu ku bannakatemba omwenda abaawandiisibwa ekitongole kya Development Channel okutumbula enteekateeka ya African Child Poverty Alleviator Program. [15]
Ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2004, Tuwangye yatandikawo ekibiina kya VIP Modern Dance Troupe. Mu 2005, yawandiika n'okukwata oluyimba "Can't Live Without You," olwakolebwa kkampuni ya Fenon Records. [16] Oluvannyuma ekibiina kya VIP Modern Dance Troupe kyafuuka ekibiina ky'abayimbi ne kifulumya oluyimba lwa "Tugendeyo." Oluvannyuma lw’okufulumya olyimba lwabwe olw’okusatu, ekibiina kino kyasasika. [17] Mu 2015, Tuwangye yafulumya oluyimba lw'eyayimba yekka lwe yatuuma "Nkole ntya?". [16]
Okuyimirira kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2013, Richard yayimba ng’omu ku bikolwa eby’okujaguza emyaka mwenda Pablo gy’amaze mu kisaawe kya kkomedi. [18] Nga 12 July 2019, yategeka pulogulaamu ye eyasooka eya kkomedi nga ye yekka, eyatuumibwa "Laugh Conquers All." [1] [19] [20]
Okukyaaza
[kyusa | kolera mu edit source]Mu March wa 2009, Tuwangye yali omu ku baatongoza eddagala ery'ekizaala ggumba erya NewFem nga ly'atongozebwa ekitongole kya Uganda Health Marketing Group (UHMG) ng’ali wamu ne Gloria Kasujja. [21] Mu Gwokutaano gwa 2010, yeeyali omwogezi ku mukolo gw'okugaba awaadi za Buzz Teeniez Awards. [22] Mu Gwokutaano 2018, yategeka Live Sipping Night ku Racer's Bar, Bukoto, ate mu Gwekkumi 2018, yeeyali omwegezi ku kivvulu kya Kenneth Mugabi ekyasooka, "Strings of My Soul." [23]
Obulamu bwe obw'obuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Tuwangye waakubiri ku baaana bataano, abazaalibwa Enock ne Hope Tuwangye. [1] Yawasa Sharon Atwiine Kagarura nga 3 Ogwomukaana 2016. [24] Abafumbo bano balina abaana babiri. [25]
Firimu ze
[kyusa | kolera mu edit source]Firimu
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Omutwe | ekifo kye yazannya | Ebijuliziddwa |
|---|---|---|---|
| 2006 | The Last King of Scotland | ||
| 2006 | They Stopped Eating Fruits | Sebiku | [3] |
| 2008 | Speak Out | Omuvuzi wa Booda eyali akunga abantu okuwakanya enguzi. | [3] |
| 2007 | What Happened in Room 13 | Peter | [3] |
| 2016 | Queen of Katwe | Dez | [3] |
| Silent Voices | Omwami w'omukyala eyali alina ebimutawaanya | [3] | |
| 2017 | Rain | Dj Kadanke |
Ku Ttivvi
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Omutwe | Ekifo kye yazannya | Bye yazannya | TV Network |
|---|---|---|---|---|
| 2005 | Hand in Hand | Daudi | Omuntu atalina mulimu nga asobola okutuusa obulabe ku balala | |
| 2011 | The Hostel | Twine | ||
| 2010 - 2015 | U-turn | yazannya ebifo eby'enjawuloi | NTV | |
| 2015 - 2017 | yazannya ebifo eby'enjawulo | NBS | ||
| 2018–present | Mizigo Express | Clinton | Omupangisa Omunigeria ayali omufere | DStv (Pearl Magic) |
Mu theatre
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Omutwe | Ekifo ky'eyazannya | Ebijuliziddwa |
|---|---|---|---|
| 2002 | The Virgin[3] | Bogolio, omukozi w'awaka | [3] |
| 2002 | The Journeys | [3] | |
| 2002 | A Jewel in Every Name | Mulekwa nga maama we yattibwa mu lutalo Mu Buliikakkono bwa Uganda | [3] |
| 2003 | The Adams | [3] | |
| 2006 | The Nasty Good Stories | [3] |
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 https://www.watchdoguganda.com/entertainment/showbiz/20190702/71468/interview-fans-pushed-me-to-sleep-with-a-female-colleague-funnyman-tuwangye-opens-up-ahead-of-solo-show.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20191027143807/https://www.monitor.co.ug/Magazines/689838-725424-9stk89/index.html
- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 http://uganda.spla.pro/en/file.person.richard-tuwangye-t1j-twine.49173.html
- ↑ http://www.ugpulse.com/arts/hand-in-hand/188/ug.aspx
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1009269/favourite-actor-hostel
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-01-02. Retrieved 2025-10-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-10-07. Retrieved 2025-10-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Theatre---Cinema/691234-836250-dh6uid/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-10-28. Retrieved 2025-10-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1009269/favourite-actor-hostel
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Letting-the-silent-voices-be-heard/691232-1449170-8o3is3/index.html
- ↑ https://www.silentvoicesuganda.org/silentvoicesenglish-2012
- ↑ http://www.imdb.com/title/tt4341582/fullcredits
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/55983-rain-dominates-pearl-international-film-festival-awards
- ↑ https://thetowerpost.com/2018/06/24/development-channel-signs-nine-actors/
- 1 2 https://web.archive.org/web/20191028074334/http://chano8.com/fun-factory-comedian-richard-tuwangye-returns-to-pursue-his-music-career/
- ↑ http://www.sqoop.co.ug/201707/features/music-never-thing.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Pablo-marks-nine-years-standing-up/691232-2095696-270k7x/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1503633/tuwangye-stages-maiden-stand-comedy
- ↑ https://www.softpower.ug/richard-tuwangye-hit-a-home-run-with-his-maiden-stand-up-special/
- ↑ https://web.archive.org/web/20191027143804/https://www.monitor.co.ug/artsculture/FashionBeauty/691228-700992-o1q4jyz/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/812796-915858-vdjt2qz/index.html
- ↑ https://www.sunrise.ug/gossip/201810/kenneth-mugabis-performance-could-make-you-fall-in-love.html
- ↑ https://bigeye.ug/comedian-richard-tuwangye-weds-fiancee-sharon-photos/
- ↑ http://www.sqoop.co.ug/201604/four-one-one/comedian-tuwangye-to-wed-fiancee-in-june.html