Ritah Namayanja Kivumbi
Ritah Namayanja Kivumbi (Yazaalibwa nga 1 Ogwokutaano, 1980). Munnayuganda muzibe w'amaaso nga dayirekita w'eby'okusiiga n'okukuba, omuddukanya w'eby'okusiiga n'eby'okukuba ebifaananyi, era omwogezi azzaamu abantu amaanyi. Ono ye mutandisi era dayirekita w'ebyemikono owa Magezi Arts Exhibition Centre mu kiseera kino esangibwa ku Namirembe Guest House mu Kampala . Mu 2016, Namayanja yaweebwa omudaali gwa zaabu ogwa pulezidenti nga gwamuweebwa Pulezidenti Museveni ng’amusiima olwa kaweefube gwe yakola mu kuwa abavubuka n’abakyala amaanyi. Ono era amanyiddwa nga Ritah Wise .
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Namayanja yasomerako mu ssomero lya Uganda Martyrs Senior School Namugongo ( Okumala Siniya Eyookuna ) ne Uganda Martyrs High School, Rubaga ( Okumala Siniya Eyoomukaaga). [1]
Yayingira yunivasite y’e Makerere gye yatikkirwa diguli esooka mu by’enkulaakulana n’oluvannyuma n’afuna diguli eyookubiri mu Mpisa n’okuddukanya abantu. [1]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Namayanja nga tannaziba amaaso, yaliko omuddukanya ekifo awateekebwa ebisiige ku yunivasite y’e Makerere era yategeka omwoleso gw’ebisiige ogwa Magezi mu Gwomwenda 2008. [2]
Mu 2008, ng’ebula akaseera katono Namayinja azibe amaaso, yatandikawo ekifo awateekebwa ebisiige ekiyitibwa Magezi Arts Gallery. Mu Gwekkuminoogumu gwa 2008, Namayanja yafunanga okulumwa omutwe okwamaanyi ate nga gwa kumukumu era n’aziba amaaso oluvannyuma lw’omwezi gumu, ekyamuviirako okugwa mu kwennyikira n’okwesaasira okumala emyaka musanvu. [2]
Mu Gwokutaano gwa 2015, yazuukiza ekifo kya Magezi arts gallery nga kino kikola ku bika by'ebisiige eby’enjawulo era nga kitendeka n’abayizi okuva mu matendekero ag’awaggulu . [3] Mu 2016, ku lunaku lw’abakyala mu nsi yonna, Namayanja yaweebwa omudaali gwa pulezidenti ogwa Zaabu nga gwamuweebwa Pulezidenti Museveni ng’amusiima olwa kaweefube gwe yakola mu kuwa abavubuka n’abakyala amaanyi. [4]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/out-of-sight-not-out-of-mind-woman-s-love-for-art-lives-on-1878846
- 1 2 https://observer.ug/lifestyle/66461-blind-kivumbi-s-art-and-artistic-children-are-a-marvel
- ↑ https://www.bukedde.co.ug/articledetails/115518
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1530581