Jump to content

Robert Kasule Sebunya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Robert Kasule Sebunya munnabyabufuzi mu Uganda, yazaalibwa nga 25 Ogwoluberyeberye1970 mu maka ga Israel Kibirige Ssebunya . Ye mmemba w’ekibiina kya National Reisistance Movement, [1] ekibiina ekiwakanya ekiri mu buyinza omubaka wa Palamenti ya Munisipaali y’e Nansana mu Disitulikiti y’e Wakiso . [2]

Ebyenjigiriza ensibuko

[kyusa | kolera mu edit source]

Sebunya yasomera mu Busoga College Mwiri mu biseera 1989 okutuuka mu 1991 gye yafunira satifikeeti ye eya Uganda Advanced Certificate of Education . Alina dipulooma mu by’obusuubuzi okuva mu Nkokonjeru Institute of Management and Technology gye yafuna mu 1994. Era yatikkirwa diguli mu by’obusuubuzi (accounting) okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 1998. Mu kiseera kino Sebunya akola diguli eyookubiri mu by'obusuubuzi okuva mu Eastern and Southern African Management Institute .

Sebunya mmemba omukenkufu mu kibiina ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y’ensimbi za Gavumenti era mmemba mu kibiina kya Palamenti Network ku bbanka y’ensi yonna n’ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku bye nsimbi. mu 2015 yasiimibwa ekitongole kya PROFIRA olw’ebintu eby’enjawulo bye yakola mu kukulaakulanya ekitongole ky’ensimbi entonotono mu Uganda.

  • 2000–2008: Omukungu omukulu mu kulonda akawunti mu kitongole ky’amazzi n’amazzi amakyafu mu ggwanga (NWSC).
  • 2008–2011: Omubaka wa Palamenti, Kyadondo County North
  • 2011–2016: Omubaka wa Palamenti, Kyadondo County North
  • 2016–Olunaku: Omubaka wa Palamenti, Munisipaali y’e Nansana, Disitulikiti y’e Wakiso [3]

Obuvunaanyizibwa bw’akakiiko ka Palamenti

  • 2011–2016: ssentebe, Akakiiko k’ebyensimbi, okuteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna
  • 2017–: ssentebe, akakiiko k’ebyobulambuzi, eby’obusuubuzi n’amakolero. [4]

Obwammemba bw’akakiiko

  • Omukiise, akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’enfuna by’eggwanga
  • Memba, akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bukiiko, ebitongole ebikola ku bibumbe n’ebitongole by’eggwanga
  • Omukiise, akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mateeka ne Palamenti.
  • Memba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti (Gavumenti eya wakati).

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Template:Webarchive
  2. "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Archived from the original on 2021-04-16.
  3. Template:WebarchiveTemplate:Webarchive
  4. "Petition against Nansana MP still unheard as term winds up". Monitor (in Lungereza). 2020-11-10. Retrieved 2023-01-21.