Robert Katera
Robert Kateera olumu liwandiikibwa nga Katera yazaalibwa 1995. Munnayuganda, Mutandiisi wa bizinensi eziyamba abantu era omulwanirizi w'eddembe ng'abeera Canada . Ye mutandisi w'ekitongole kya Trudeau Youth Council Foundation, ekitongole kye yatandikawo oluvannyuma lwa kizibwe we okuzaalibwa nga talina ggumba ly'omukugulu. [1] Ng’ayita mu musingi guno awa abaana ab’emyaka 18 n’okudda wansi mu Uganda amagulu amakolerere n’ebintu ebirala ebiyamba okutambula. [2]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kateera yazaalibwa Kampala, Uganda gye yakulira ne bazadde be saako ne baganda be. Pulayimale yagisomera ku Uganda Martyrs Primary School. Oluvannyuma neyegatta ku Taibah College, yasenguka n’agenda e Canada gye yakolera okutendekebwa kwe okw’ennyonyi mu kkampuni ya Toronto Airways, ettendekero ly’ennyonyi mu Canada [3]
Ekitongole ky’abavubuka ekya Trudeau Youth Foundation
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2019, yatandikawo ekitongole kya Trudeau Youth Council Foundation, oluvannyuma lwa Kizibwe we okuzaalibwa nga talina gumba ly'omukugulu. N’ekyavaamu, Kateera yakola nnyo obutasalako okunoonya ekyo ekinagonjoola ensonga eno. [4] [3] Okufuna ekyuma ekijingirire kye kirowoozo kye yali akoledde kizibwe we, era awo we wava okwagala okuyamba abaana abalala naddala abo abaali batasobola kugula. [5] Ekitongole kino kiwagira abavubuka abatemeddwako ebitundu by’omubiri n’abaana abalina obuzibu mu bitundu by’omubiri, wamu n’okukolagana obulungi n’abakugu n’abantu b’omukitundu okulaba nga b'eyimirizaawo. Ekitongole kino kifuba okutuukiriza omulimu guno nga kiwa abavubuka abataliiko mwasirizi abali wakati w'emyaka 2 okutuuka ku 18 ebyuma ebikozesebwa mu kutereeza amannyo. [1] [3]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-24. Retrieved 2025-10-26.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://campusbee.ug/news/social-entrepreneur-robert-kateera-set-to-launch-foundation-in-uganda/
- 1 2 3 https://kampalapost.com/content/through-trudeau-youth-council-robert-kateera-helping-amputees-walk-again
- ↑ https://mugibson.com/robert-kateera-to-launch-youth-foundation/
- ↑ "Meet Robert Kateera, a Ugandan helping amputee children walk again". October 18, 2022.
Ebijuliziddwamu W'abweru a Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Robert Kateera: Okuyamba Abaana Abatemeddwako Ebitundu Okuddamu Okutambula
- Ng’ayita mu lukiiko lw’abavubuka olwa Trudeau, Robert Kateera Ayamba Abatemwako Ebitundu Okuddamu Okutambula |... Ekitongole kya Kampala Post
- Sisinkana Robert Kateera Munnayuganda ng'ayamba abaana abatemeddwako ebitundu by'omubiri okuddamu okutambula
- Ssaabaminisita wa Canada, Trudeau alonze Robert Kateera owa Uganda okukulira olukiiko lw'abavubuka