Robert Marie Gay
Robert Marie Gay (Yazaalibwa nga 22 Ogwolubereberye 1927 – náfa nga 29 Ogwomukaaga 2016) Yali Munnayuganda enzaalwa yé Canada nga munnaddiini mu Eklezia Katolika. Ye yali Omusumba owookubiri owéssaza lya Eklezia Katolika erya Kabale okuva mu 1996 okutuuka mu 2003.[1]
Obuvo bwe nÓbusaserdooti
[kyusa | kolera mu edit source]Gay yazaalibwa mu kibuga Ottawa, Ontario nga 22 Ogwolubereberye 1927. Yeegatta ku kibiina ky’abaminsani kyÁbaminsane ekya Missionaries of Africa era nga 30 Ogwolubereberye 1954 yatuuzibwa ku Bwafaaza. Yaweereza nga Ssenkulu wékibiina kyÁbaminsane ekya Missionaries of Africa (White Fathers), okuva mu 1980 okutuuka mu 1986.[2]
Nga Omusumba
[kyusa | kolera mu edit source]Gay yalondebwa Paapa John Paul II okubeera Omusumba nga 11 Ogwolubereberye 1996. Yayawulibwa era nátuuzibwa ngÓmwepisikoopi nga 9 Ogwokusatu 1996. Yatuuzibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, eyali Ssaabasumba wÉssaza Ekkulu erya Kampala, ng’ayambibwako Omusumba wÉssaza lyé Kabale eyawummula Barnabas Rugwizangonga Halem 'Imana, n'Omusumba wé Mbarara Kamuza Bakyenga. Omusumba Gay yawummula nga 15 Ogwokusatu, 2003.[3]
Okulwala n’okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Gay yafa nga 29 Ogwomukaaga 2016 mu ddwaliro lya Passages Hospice, mu kitundu kyé Sherbrooke, mu Kibuga Quebec, e Canada, ku myaka 89. [4] [5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ David M. Cheney (30 April 2018). "Bishop Robert Marie Gay, M. Afr.†". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 22 July 2019.
- ↑ David M. Cheney (30 April 2018). "Bishop Robert Marie Gay, M. Afr.†". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 22 July 2019.
- ↑ David M. Cheney (30 April 2018). "Bishop Robert Marie Gay, M. Afr.†". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 22 July 2019.
- ↑ http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bgayrob.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Kabale-Diocese-Bishop-Emeritus--Mary-Gay-dies/688334-3276976-13lojy0z/index.html
Ebiwandiiko byébweru wa Waikipedia ebikozeseddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:S-rel Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:EndLua error: Invalid configuration file.