Robert Mwesigwa
Robert Mwesigwa Rukaari Munnayuganda,munabyabufuzi era mubaka mu Paalamenti akiikirira Mbarara ey'Obukiikakkono, mu kibuga ky'e Mbarara . [1] Ye Ssentebe wa Kkampuni ya East African Procurement News Company Limited, kampuni ekolera awamu ne AMPROC INC efulumya magazini buli mwezi eyeekenneenya omulimu gw'okugula ebintu mu kitundu kya East Africa era abadde ambasada wa Republic of Malawi mu Uganda . [2] Era yali Ambasada wa Kingdom of Morocco . [3]
Era akola nga mmemba ku kakiiko akafuzi aka Central Executive Committee aka National Resistance Movement, ekibiina ekiri mu buyinza mu Uganda. [2]
Emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]- Yunivasite y’e Makerere – BA Sayansi w’Ebyobufuzi n’Olufaransa
- Ssettendekero wa Makerere – Diguli ey'okubiri mu by’okuddukanya emirimu gya Gavumenti
- Yunivasite y’e Nkumba [4] – Diguli ey'okubiri mu by’okwerinda n’enteekateeka
- Yunivasite y’e Nkumba – Dipuloma mu Enkolagana n’abantu
- Nkumba University – Dipuloma mu by’obusuubuzi n’okuddukanya emirimu
Emirimu gye egy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]National Resistance Movement – Ssentebe w’eggwanga, Entrepreneurship League era mmemba ku kakiiko akafuzi ak'ekibiina kya National Resistance Movement (CEC) okuva mu Gwekkuminogumu 2015 – okutuusa kati. [5]
Mu 2019, yalondebwa okuba omukulembeze w’olukiiko okuweereza ku lukiiko olukulu olw’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu nsi yonna ekya International Chamber of Commerce (ICC) World Chambers Federation (WCF) General Council okuva mu 2020 okutuuka mu 2022 mu kibuga Paris ekya Bufalansa, ekibiina ekigatta abasuubuzi mu nsi yonna, ekisobozesa abasuubuzi b’ensi yonna okufuna obugagga n’emikisa eri abantu bonna mu nsi. [6] Yali ssentebe, Board of Africa Strategic Leadership Centre, enteekateeka ey’okukolagana n’abakulembeze okuva mu bitongole bya gavumenti n’eby’obwannannyini, abeewaddeyo okukulaakulanya Afrika, nga bateekawo emikisa gy’okukulaakulana n’okussa ssente mu kapito w’abantu ku ssemazinga. [7]
Mu 2021, ababaka mu Paalamenti ya Uganda ku kakiiko ka (COSASE) baamukunya okulaga engeri gye yafunamu poloti ssatu ezaali eza kampuni y'egaali y'omukka URC e Port Bell ne Mulago ku bukadde bwa Shs 357 mu 2009, [8] [9] [10] kye yalemererwa okwanukula. [11]
Mu kulonda kw'ekibiina kya NRM, yeesimbawo ne munne Tusiime Michael gwe yali gwe yali awagira mu kulonda okwasooka. [5]
Obutakkanya
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwekkuminebiri 2021, famire emu mu Disitulikiti y’e Isingiro yasaba gavumenti oluvannyuma lw'okufiirwa obuse obusoba mu kkumi eri Robert Mwesigwa Rukaari oluvannyuma lw’ettaka lyabwe mu Disitulikiti y’e Isingiro okutwalibwa ababundabunda naye gavumenti bwe yabaliyirira n’agaana okusasula ssente zaabwe oluvannyuma lw'okubamatiza okuziyisa ssente ezo ku akawunti ya kkampuni ye. [12]
Mu kiseera kya COVID-19, yavunaanibwa okukola obukookolo obutatukagana n'amulembe era nga bw'ali tebukkiriziddwa kitongole kya Uganda National Bureau of Standards, nga yali agguddewo n'ekkolero ly'abwo e Mbarara. [3]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-14. Retrieved 2025-09-20.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 https://www.showbizuganda.com/nrmprimaries-what-you-need-to-know-about-dr-robert-mwesigwa-rukaari/
- 1 2 https://croozefm.com/dr-mwesigwa-rukaari-cited-in-mbarara-fake-mask-production-centre-scandal/
- ↑ "Archived copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-01-06. Retrieved 2022-01-06.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 https://www.pmldaily.com/news/2020/08/nrm-boss-rukaari-nominated-to-unseat-former-protege-vows-to-spread-wealth-creation-in-mbarara.html
- ↑ https://shiftmedianews.com/dr-mwesigwa-rukaari-appointed-chamber-leader-at-the-wcf-general-council-in-france-nce/
- ↑ https://web.archive.org/web/20210615135139/https://www.news.mak.ac.ug/2018/08/mak-aslc-to-use-research-based-policies-to-enhance-africas-socio-economic-development/
- ↑ https://newslexpoint.com/mp-squeezed-by-cosase-over-purchase-of-uganda-railways-land/
- ↑ https://parliamentwatch.ug/news-amp-updates/mp-rukaari-on-spot-over-the-purchase-of-nsambya-railway-land/
- ↑ https://mulengeranews.com/kamya-risks-to-investigate-top-nrm-cec-member-accused-of-grabbing-railways-land-in-kla/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mp-rukaari-fails-to-defend-purchase-of-railway-land-3637558?view=htmlamp
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/72065-mp-rukaari-accused-of-swindling-shs-10b-in-another-dubious-land-deal