Jump to content

Bobi Wine

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Robert Ssentamu Kyagulanyi)
Bobi Wine
Munnayuganda mulwanirizi w'eddembe ly'abuntu, munnabyabufuzi, muyimbi, munnamateeka, era muzannyi wa katemba. Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waRobert Kyusa Wikidata
Erinnya lya famireSsentamu Kyusa Wikidata
Art nameBobi Wine Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga12 Gwakubiri (Mukutulansanja) 1982 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waNkozi Hospital Kyusa Wikidata
OmwagalwaBarbie Itungo Kyagulanyi Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza, Luganda Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, musician, musuubuzi, boxer, film actor, activist, Omuzannyi wa firimu Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere, International University of East Africa, Kitante Hill Secondary School Kyusa Wikidata
GyabeeraWakiso Disitulikiti Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)1999 Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziindependent politician, National Unity Platform Kyusa Wikidata
Eggwanga lyeBaganda Kyusa Wikidata
Omuzannyoboxing Kyusa Wikidata
Sig­ni­fi­cant event2021 Ugandan presidential election Kyusa Wikidata
Office contestedPresident of Uganda, President of Uganda Kyusa Wikidata
Official websitebobiwine.com Kyusa Wikidata
IMDb IDnm7101066 Kyusa Wikidata

Robert Kyagulanyi Ssentamu (yazaalibwa nga 12 Ogwokubiri 1982) amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine, omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, munnabyabufuzi, muyimbi, era munnamateeka Omunnayuganda.[1] Yaliko omubaka wa Paalament era y'akulembera National Unity Platform (NUP), ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ya Yoweri Museveni.[2]

Bobi Wine yaliko omubaka wa Paalamenti akiikirira essaza ly'e Kya Kyadondo eyoomubuvanjuba mu Disitulikiti y'e Wakiso, mu masekkati ga Uganda.[3] Mu Gwomukaaga gwa 2019, yalangirira okwesimbawo nga pulezidenti wa Uganda mu kalulu k'obwapulezidenti aka 2021. Yeetaba mu kalulu ka 2021, nga okusinziira ku byava mu kulonda ebitongole, yawangulwa Yoweri Museveni eyali mu ntebe ekiseera ekyo. Okuva mu Gwoluberyeberye 2026, awakanya ebyava mu kalulu nti byali ssi bituufu.[4] Nga 14 Ogwekkumineebiri 2021, Gavumenti ya Uganda yamusibira mu nnyumba, olwo n'agenda mu maaso n'okwekalakaasa olw'okukwatibwa kwe.[5][6] Oluvannyuma yagenda ebweru w’eggwanga gye yeenyigira mu kukwata ffirimu ekyatuumibwa The corruption involved in the 2021 election. Bwe yakomawo mu Uganda nga 5 Ogwekkumi 2023, yakwatibwa.[7] Firimu eyitibwa Bobi Wine: The People's President yawandiika ku lugendo lwe mu kululu ka 2021.[8]

Bobi Wine yeewandiisa mu butongole okuvuganya ku bwa pulesidenti mu kulonda kwa bonna okwa 2026 mu Uganda nga 25 Ogwomukaaga 2025 nga akiikirira ekibiina kya NUP, ng'ayogera ku kaweefube ono ng'okugenda mu maaso n'omulimu gwe ogwali tegunnaggwa era n'asaba bannansi okuwagira kye yayita "protest vote" okumalawo okunyigirizibwa kw'ebyobufuzi okumaze emyaka mingi.[9]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kyagulanyi yazaalibwa mu ddwaaliro ly'e Nkozi, maama we Margaret Nalunkuuma gye yali akola ng'omuzaalisa.[10][11] Yazaalibwa mu famile ya baana 34 abaazaalibwa eyali taata we Jackson Willington Ssentamu.[12] Yakulira mu nzigotta z'e Kamwokya mu kitundu ky’obukiika kkono bw’obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.[13]

Kyagulanyi yasomera mu Kitante Hill School,[14] gye yafunira satifikeeti eya siniya eyookuna mu 1996, wamu ne Kololo Senior Secondary School, gye yafunira satifikeeti eya siniya eyoomukaaga mu 1998. Oluvannyuma yagenda ku yunivasite y'e Makerere mu Kampala, gye yasomera okuyimba, amazina ne katemba, n’atikkirwa ne dipulooma mu 2003. Mu 2016, Kyagulanyi yaddayo mu yunivasite okusoma ddiguli mu by'amateeka mu International University of East Africa. Oluvannyuma lw'okuwabulwa eyali omusomesa we ku yunivasite, David Lewis Rubongoya, yakyusa okuva ku IUEA eyali temanyikiddwa mu kusomesa amateeka ekiseera ekyo naagenda ku Cavendish University gye yatikkirwa mu Gwomunaana 2024.[15][16]

Omulimu gw'okusanyusa

[kyusa | kolera mu edit source]

Omulimu gw’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]
Bobi Wine

Kyagulanyi yatandika omulimu gw'okuyimba mu ntandikwa y'emyaka gy'e 2000, naafuna erinnya lya Bobi Rob nga lyakozesa ku siteegi erinnya eryali lyefananyiriza erinnya lye ery'ekikatuliki eryamuweebwa erya 'Robert' ng'okusikirizibwa kuno yakujja ku Bob Marley nga naye yali yatumibwa 'Robert'. Oluvannyuma yafuna erinnya lya Bobi Wine ng'eryokusiteegi. Ennyimba ze ennyimpi ezaasooka kwaliko; "Akagoma", "Funtula", ne "Sunda" (ng'ali ne Ziggy D) kyamuleetera okumanyikwa mu kisaawe ky'okuyimba kwa Uganda.[17] Myuziki we abasinga bamuyita okubeera ow'ekidandali, reggae, dancehall, ne afrobeat, ng'ebiseera ebisinga obubaka bubeera ku by'etoloodde abantu n'ebibakwatako. Yeeyali akulembera ekibiinja kya 'Fire Base Crew'[18] okutuusa bwekyasaanawo, oluvannyuma naatandikawo ekibiinja ekipya ekimannyikiddwa nga 'Ghetto Republic of Uganja'.[19] Afulumizza ennyimba ezisoba mu 70 mu myaka 15 egisembyeyo.[17]

Mu 2016, oluyimba lwe "Kiwani" lwateekebwa mu ffirimu ya Disney eya Queen of Katwe.[20]

Ekika ky'ennyimba Bobi Wine z'abadde atera okuyimba zibadde za kika kya 'Afrobeat'. Muziki wa Bobi Wine yali yatundibwa nga omugezi Kasiwukira ng'era yeeyafuba ng'okulaba ng'agenda ku ddaala eddala. Yakikakasa okubeera nga yafuna lisiiti za bukadde 60 okuva mu muziki gweyatunda mu mwezi gumu okuva wa Kasiwukira. Alina omukutu gwa 'Youtube' okuli obukadde bw'abantu abasuka mu 10 abagiraba n'okugigoberera. Ategese ebivvulu n'okusanyusa abantu, mu kwongereza ku ngeri y'abadde yeekubiramu obulango, nga bino byonna bimuleetera okuyingiza ensiimbi. Alina ne situdiyo ekolera abayimbi ennyimba mwajja ssente esinganibwa Kamwokya emannyikiddwa nga FireBase records.

Enngoobo ya 'Bobi Wine Edutainment'

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekiwandiiko kino kikwata ku kika kya muziki ayigiriza n'okusomesa ekyatandikibwawo Wine mu 2006. Muziki yatondebwawo okusanyusa nga mw'ayisa obubaka obuyigiriza n'okusomesa, nadala eri abantu abali mumbeera embi eteeyagaza nadala munzigota za Kampala, nadala 'Ghetto'. Omu ku muziki ali mu pulojekiti eno mulimu "Ghetto" (fng'ali ne Nubian Li), "Obuyonjo," "Obululu Tebutwala," "Time Bomb," n'endala.

Obubaka obuli mu muziki ali mu pulojekiti eno bwali bugendereddwa kugenda eri banabyabufuzi, ng'abakubiriza okufaayo ennyo eri abanti abali mumbeera embi era nga tebalina abayamaba, wamu n'okukubiriza banaansi okubeera ab'obuvunaanyizibwa mu bintu byabwe gyebawangaalira. Ebintu byebasinga okutekako essira u muziki kwaliko; obuyonjo, eby'obulamu nadala mu kuzaala abaana abato okufuna embuto, abaana abato okufumbirwa, obutabanguko mu maka, akawuka ka mukeneya nendala.

Muziki wa yakwata nga nnyo ku bantu ng'era abajukiza ekyamukazisaako erinya lya omukulembezze w'enzigota "Ghetto President" nekimuyamba okuzimba ekifo eky'amaanyi mu by'obufuzi bwa Uganda oluvannyuma mu mirimu gye.[21][22][22]

Omulimu gw'okuzannya ffirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kyagulanyi era muzannyi wa ffirimu, ng'asinga kubeera ku za wano mu Uganda.[17] Mu 2010, yalondebwa okubeera omu kubazannyi mu ffirimu ya Cleopatra Kyoheirwe ey'omuzannyo gyebayita Yogera. Mu 2015, yalondebwa okukulembera mu ffirimu y'okuyamba eya Twaweza emannyikiddwa nga Situka ngali ne Hellen Lukoma.[23] Akoze ku ffirimu eziwerako omwali ne Divizionz.[24]

Bobi Wine alina pulogulaamu eri ku bulamu bwe eragibwa ku ttiivi eyatumibwa 'The Ghetto President'[25]

Emirimu gy'eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Mwezi ogwokuna mu 2017, Kyagulanyi yalangirira nga bweyali agenda okwesimbawo ku ky'obubaka bwa paalamenti mu kulonda okwali mu konsitituweensi ey'obuvanjuba bw'e Kyadondo mu kulonda okw'okuddibwamu. Okutambula kwe okw'e nju ku nju ng'akola kakuyege w'okunoonya akalulu ky'asikiriza abantu mu Uganda n'ebweru w'eggwanga.[19][26] Yawangula okulonda kuno ng'akubidde wala abaali bamwesimbyeko okwali: Sitenda Sebalu ow'ekibiina ekifuga ekya National Resistance Movement (NRM) ne Apollo Kantinti ow'ekibiina ekisinga okuvuganya ekya Forum for Democratic Change (FDC).[27][28][29]

Mu 2018, Kyagulanyi yeeyongera okufuna ettutumu, ng'ayita mu kuyamba ku baali beesimbyeyo okujuza ebifo ebyali tebiriimu babikiikirira ng'akolera abaali beesiimbyeewo kakuyege nebakuba abaali beesiimbyeewo nga bagidde mu NRM ne FDC.

Ebyali mu by'akalulu ka Arua ak'okujjuza ekifo ekitalimu mukiise

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 14 Omwezi ogwomunaana mu 2018, abawagizi b'omubaka wa paalamenti eyajja ku bwa namunigina nga talina kibiina Kassiano Wadri kigambibwa baasiikiriza ne balumba oluseregende lw'emmotoka za pulezidenti Museveni mu kabuga k'omubukiika ddyo bwa Arua okuliraana Gulu. Emmotoka ya Museveni baagikuba amayinja, nekireetawo obutabanguko wakati wa ab'ebyokwerinda n'abaali beekalakaasa.[30] Oluvannyuma, Kyagulanyi, eyali asinga okwogerera Museveni amafuukuule yakyasanguza ng'ayita ku mikutu gye gimukwanira wala nga poliisi bweyali ekubye amasasi ku mmotoka ye ng'egenderedde, n'etta ddereeva we. Kyagulanyi yali akakasizza obuwagizi bwe eri Wadri eyali avuganya oyo Museveni gweyali ataddewo mu butongole mu.[31] Museveni mu lujjudde yanenya Bobi wine ku byaliwo.

Kyagulanyi yakwatibwa nga 15 ogwomunaana mu 2018 ng'avunaanibwa olw'okubeera n'eby'okulwanyisa ebitaali mu mateeka wamu n'okukunga obweguguungo,[32] oluvannyuma yaleetebwa mu maaso g'ekkooti y'amaggye, n'avunaanibwa n'abaali baleteddwa egulo lumi olunaku olwaddako. Amawulire ga The Times gaafulumya nga Kyagulanyi bweyali alabika ng'eyali akubiddwa nga tanatwalibwa mu kkooti.[33] Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, munamateeka y'abadde akiikirira ababaka ba palamenti ababeera bakwatiddwa nebagalirwa mu makomera yagamba obulamu bwa Kyagulanyi embeera gyebwalimu yali yeeralikiriza, nga yali yeetaaga obujanjabi obw'omunambiro.[34] Gavumenti eyongedde okwegaana ebigambibwa okuba nga yali yamutulugunya. Kizza Besigye eyali akulira oludda oluvuganya yayita olukungaana lw'abanamawulire mweyasabira okuteebwa kw'ababaka abaali baakwatibwa.[35]

Obwegugungo bwebwatandika okweyongera mu Uganda nga busaba okuteebwa kwa Kyagulanyi, nekituuka n'okwongera ebugumu mu byali byogerwako mu palamenti ya Uganda, abasala emisango mu Uganda bagyayo byebaali bajuza nga byebavunaana Kyagulanyi omulundi ogw'okubiri gweyali alabiseeko mu kkooti y'amaggye gyebakirizaamu abantu nga 23 Ogwomunaana mu 2018. Abasala emisango baalaga nga bwebaaliu bagenda okufuna byebamuvunaana mu kkooti y'abantu babulijjo okusobola okuwozesa omubaka wa palamenti.[36] Ng'amazze okuteebwa, Kyagulanyi yaddamu n'akwatibwa nebamuvunaana mu kkooti y'abantu babuliijo olw'okulya munsi ye olukwe[37] Mu Gwomwenda mu 2018, Kyagulanyi, yateebwa ng'alindirira kuwozesebwa era n'atambula okugenda mu Amerika okujanjabibwa ebiwundu byeyali yafuna bweyali akwatiddwa n'agalirwa mu kkomera.[38] Gavumenti ya Uganda yawera abawagizi bbe okukola enkungaana ez'ekika kyonna okuviira ddala kulunaki lweyali atereddwa, n'okutuusa kulunaku lweyali agenda okukomawo ng'ava mu Amerika.[38][39] Oluvannyuma yayogerako eri abawagizi bbe mu lukungaana lwebaaliko wabweru w'amakaage bweyali akomyewo mu Uganda nga 20 Ogwomwenda mu 2018.[40]

Mu Gwomunaana mu 2019, Kyagulanyi yavunaanibwa ogw'okwagala okumalako mirembe okunyiza ssaako n'okweyisa ku pulezidenti Museveni mungeri embi, webaali mu Arua mu mwaka ogwali guyise.Okuvunaanibwa kwajja olunaku lumu oluvannyuma lw'okufa kwa Ziggy Wine, munayuganda mune eyali omuyimbi ng'era mwesiimbu eri Museveni, eyawambibwa abantu abatamannyikibwa nebamutulugunya.[41][42]

Okwegugunga nga bawakanya emisolo egyali gitereddwa ku mikutu gimukwanira wala

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 22 Ogwokuna mu 2019, Kyagulanyi yakwatibwa nebamugalira bweyai ayagala okugenda ku kivulu ekyali kitegekeddwa mu baala ly'obwa nnanyini erimu mu bukiika kkono bwa Kampala, ekyasazibwamu poliisi.[43] Baali bamulumiriza okubeera nga yakulembera okwegugunga mu kibuga mu mwaka ogwali guyise nga tafunye lukusa kuva eri poliisi; tokwegugunga kuno kwaliwo nga kuwakanya omusolo ogwali gutereddwa ku mikutu gimukwanira wala egyatandika mu Gwomusanvu mu 2018.[44][45] Nga 29 Ogwokuna mu 2019, bweyali agenda ku woofiisi ezikola ku by'okunoonyereza ku bumennyi bw'amateeka n'obuzi bw'emisango mungeri y'okuwa okuyitibwa kwe ekitiibwa n'okwogera ku by'okusazaamu ekivulu, Kyagulanyi neera baddamu nebamukwata era nebautwala mu kkooti ya Buganda Road, gyeyavunaanibwa okugaana okusa ekitiibwa mi mirimu gy'eggwanga n'amateeka era nebamusindika mu komera e Luzira okutuusa bweyagibwayo ng'alindirira kuwuliriza kuwozesebwa kwe nga 2 Ogwokutaano. Mu byayogerwa olunaku oluddako, ekibiina ky'ensi yonna ekirwana okulaba nga kikuuma eddembe ly'abantu, ky'asaba okuteebwa kwe mu bunaambiro, era nekikubiriza gavumenti ya Uganda ''okulekeraawo okukozesa mungeri eswaza okugezaako okusirisa oyo abeera agivumirira''."[46] Kulunaku lw'okuwozesebwa, lwakolebwa ku lukungaana olwali olwa vidiyo nga lwerwasokera ddala mu byafaayo by'amateeka ga Uganda, Kyagulanyi yakirizibwa okuteebwa, nga warindirira okuwozesebwa era n'ateebwa okuva mu kkomera, wabula ng'ekkooti yamuwera okubeerako okwegugunga kwonna kw'ategeka nga tekuli mu mateekawith the court also arring him from holding unlawful demonstrations.[47]

Okulonda kwa pulezidenti mu 2021

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 24 Ogwomusanvu mu 2019, Kyagulanyi yalangirira nga bweyali agenda okwesimbawo mu ku londa kwa bonna ku bwa pulezidenti mu 2021.[48] Nga 22 Ogwomusanvu mu 2020, yalangirira nga bweyali yeegase ku kibiina ky'eby'obuvuzi ekimannyikiddwa nga National Unity Platform, era n'alondebwa okubeera pulezidenti wakyo era eyali agenda okukikwatira bendera ng'agenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwabonna okwali kugenda okubeerawo mu Gwokubiri mu 2021.[49] Kyagulanyi yali alondeddwa okwesimbawo mu woofiisi eyali esinga okubeera eyawagulu ey'okubeera pulezidenti nga 3 Ogwokuminoogumu mu 2020. Mu kaseera katono nnyo nga bamazze okumulonda, Kyagulanyi yakwatibwa poliisi y'amaggye.[50]

Nga 6 Ogwekuminoogumu mu 2020, yatongoza byeyali agenda okukola bweyali mu kakuyege e Mbarara mu bugwanjuba bwa Uganda nga bweyali agenda okwesimbawo oluvannyuma lw'abadukanya eggwanga okuyimiriza ekibiina kye ekya NUP webotolooza woofiisi zabwe ne poliisi wamu n'amaggye, nebamulemesa okutongoreza eyo byeyali agenda okukola nga bwebaali bakitegese.[51]

On 11veOgwekuminoogumu mu, Ssentamu was yakaatibwa mu disitulikiti y'e Luuka mu buvanjuba bwa Uganda n'agalirwa ku poliisi y'e Nalufenya mu Jinja okumala enaku satu. Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olwa 'Daily Monitor', "Poliisi yawayiriza Omukulu Kyagulanyi olw'okubeeta n'abawagizi abasoba mu 200 abaali bakiriizbwa akakiiko akavuunaanyizibwa ku by'okulonda mu Uganda okusobola okutangira okusaasaana kwa Covid-19."[52]

His aatibwa kwe kwavirako okwekalakaasa okwali kwetoloodde eggwanga lyonna nadala mu bitundu bya la, Masaka, Jinja, Mukono, Mbale ne Wakiso. Wadde nga poliisi ya Uganda yali ekikatiriza nti abantu 54 beebaali batiddwa, abalwanirizi b'eddembe ly'abantu baali bagamba omuwendo gwalinya ngera kusuka mu bantu 100 abaali batemuddwa nga n'abalala baafuna ebisago.

Abantu abasuka 2000 beebakwatibwa nebagarirwa mu kkomera mu bwegugungo obwali buyitiridde.[53][54]

Omukuumi wa Wine, Francis Senteza yatibwa nga 27 mu Gwekumineebiri mu 2020, oluvannyuma lw'okutomerwa ekimmotoka kya poliisi y'amaggye. Yalumbibwa bweyali agezaako okutwala munamawulire eyali alumiziddwa n'omukka ogubalagala mungeri embi ennyo mu bukuubagano obwaliwo mukusooka wakati poliisi n'ekibinja ky'abawagizi ba Bobi Wine.Munamawulire omulala yafuna ebisago munsonga eno.[55]

Nga 16 Ogwolubereberye, akakiiko akavunaanyizibwa ku by'okulondesa mu UIganda kaalangirira nga Museveni bweyali awangudde okulonda n'obululu 58,6 ku 100. Wine yagaana okukiriziganya neebyali bivudde mu kulonda kuno, ng'agamba kwekukyasinze okubeera nga tekwali kwesiimbu mu byafaayo bya Uganda.[56]

Wine yagalirwa mu maka gge nga takirizibwa kutambula nga 15 Ogwolubereberye, akaseera katono nnyo oluvannyuma lw'okusuula akalulu kke ak'okulonda kwa bonna ak'obwa pulezidenti. Amaggye geetoloola amaka gge nga tegakiriza muntu yenna kuyingira oba kufuluma okumala enaku ezaali ziwerako, wadde Wine y'agamba nga ng'emere bweyali emuweddeko. Omubaka wa Amerika mu Uganda, Natalie E. Brown yali takirizibwa kukyalira wadde okumulekera emere, kuba amagye gaali gaziyiza okuseregendde lw'emmotoka zze.[57] Wine yateebwa nga 26 Ogwolubereberye oluvannyuma lwa kkooti ya Uganda enkulu okulagira ebitongole by'eby'ekwolinda okukomekereza okugalirwakwe mu nnyumba.[58] Nga 1 Ogwokubbiri, Wine yawakanya okulonda kwa 2021 mu kkooti, naye oluvannyuma yalagira banamateeka bbe okugyayo omusango ng'agamba abalamuzi baali bagenda kugusala mungeri etaali neesiimbu, oluvannyuma lw'omulamuzi omukulu okulabibwako mu bifannanyi ne pulezidenti Museveni, eyali agenda okukiikiriza ekibiina ekyali kiwawabibwa mu kkooti.

Emirimu gy'okuyamba abantu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kyagulanyi ayambye pulojekiti ez'enjawulo ezitereddwa munkola okuyamba okulakulanya embeera y'abaavu.[59] Mu 2012, yatandika kakuyege kw'okutumbuula okwongera okulongoosa amalwaliro okwabuli kiseera, eby'obuyonjo, okukungaanya kasasiro oba obutamu mansa buli wamu n'okunaaba engalo okusobola okwewala enddwadde.[60] Vidiyo y'okumukutu gwa YouTube okuva mu Gwomwenda mu2012 eraga nga yeegase ku Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago mu kulongoosa Kamwookya, enzigota z'omulirwaano Kyagulanyi gyeyakulira.[60] Omwaka gwegumu, yawaayo ssente z'okuzimba kabuyonjo n'omukutu oguyaba okutambuza amazzi mu Kisenyi II, enzigota za Kampala olupapula lwa New Vision lwerwanyonyola okubera nga lwali lujudde obucaafu, obuzimbe obwazimbibwa obubi nga mubeeramu abantu abaavu, eby'obulamu obuyonjo nga bubi nga tebalina na buyambi bumala." Kyagulanyi yanyonyola nti yasalawo okukwata ku pulojekiti eno kubanga bano bantu bbe, nga wadde n'agenda wa, gano gajja kusigala nga ge makaage "[59]

Akubye ne kakuyege w'okulwanyisa omusujja gw'ensiri, ng'alina byeyawaayo mu ddwaliro lya Nakasongola Health Centre, wamu n'okulaga ebijuliziddwa eri obulwadde buno mu nnyimba zze.[61]

Mu Gwomunaana mu 2013, Kyagulanyi yakyalira enkaambi y'abanoonyi boobubuddamu mu disitulikiti y'e Bundibugyo ng'ali n'abakiise okuva mu kitongole ekyamba abaana ekya Save the Children, UNHCR, n'ekya Red Cross, tokuwaayo ssenye n'ebikozesebwa.[62] Mu mwezi ogwaddako, yatumibwa omubaka eyali amannyi eky'ekizadde aba Twaweza, ekitongole ky'obwanakyewa ekiteeka esira ku byenjigiriza n'okwenyigiramu kw'abanaansi mu Buvanjuba bwa Afrika; obubaka bwe mu nkolagana eno bwali bwakutumbuula omuzadde ow'obuvunaanyizibwa era afaayo eri abawagizi bbe abanayuganda. Mu kagyojigyoji w'ebibuuzo gweyabuuzibwa ku bikwatagana ku pulojekiti eno, yagamba nti, " eby'enjigiriza byebisobola okukyuusa entambula y'eggwanga era ng'omuyimbi ate nga taata, nzikiriza nti tusobola okuleetawo enkyuka kyuka mu by'okuyigiriza bw'abaana bafe."[63]

Mu 2014, Kyagulanyi yatuumibwa omubaka wa kakuyege eyali ow'okutaasa abaana ku lwabuli ombu, nga yeegata ku ttiimu y'abanayuganda abayimbi 14 abaakwata oluyimba olw'enjawulo ne vidiyo eyali ekwata ku by'okuzaalisa wamu n'eby'obulamu bw'abaana. Abayimbi abalala abaali mu vidiyo eno kwaliko; Jose Chameleone, Radio ne Weasel, abakola ekibiina kya Goodlyfe Crew.[64] Kyagulanyi ne mukyala we Barbara batambudde amalwaliro mangi okwetoloola Uganda omubadde eddwaliro ly'e Nakaseke, nga basisinkana abazaalisa n'abavunaanyizibwa ku by'obulamu okusobola okubunyisa kakuyege ono mu bantu.[61] Taasa abaana yamutwala mu bitundu ebirala ng'atambuza kakuyege ono omwali, ekifo ky'abanoonyi boobubuddamu ekya Nyumanzi Refugee Settlement mu Bukiika ddyo bwa Bugwanjuba bwa Uganda ku lw'abantu ba Sudan y'omu Bukiika kkono.[65] Esaawa eno, Bobi Wine yemuyima w'ekitongola ky'obwa nakyewa ekivunaanyiziba ku by'abawala n'abaana abazaala nga bato ekiyitibwa 'Caring Hearts Uganda', ekyatandikibwawo mukyala we Barbie Kyagulanyi. Ebikwata ku Caring Hearts Uganda - ekitongole ekitafa ku bya kukola magoba ku lw'ensonga z'obulamu bw'abakyala mu Uganda . Endaga ya Bobiwine eyalina okubeerawo nga 8 Ogwekumi mu 2022 yasazibwamu gavumenti ya UNITED ARAB EMIRATES olw'ensonga ezitategerekeka, bweyali yakatuuka yakwatibwa n'agalirwa ku kisaawe ky'e Dubai eky'ennyonyi okumala esaawa 10, wabula oluvannyuma yateebwa n'ayogerako eri abawagizi bbe, okwongerwayo kw'olulaga luno kwali kutegeeza nti banayuganda abaali bakonkomalidde mu United Arab Emirates baalina okukomezebwawo mu ggwanga lyabwe.[66][67]

Kyagulanyi ayogera butereevu ewatali kwekwekerera ku bikwatagana ku by'obufuzi n'ebeera y'abantu mu Uganda, ekiretawo obutakaanya.Okutuusa mu Gwolubereberye mu 2019, yalina obutakaanya obwali tebukoma ne munayuganda mune omuyimbi Bebe Cool, ayimbye mu kuwagira pulezidenti Museveni ne NRM, ng'ate Kyagulanyi abadde mu kuwagira oludda oluvuganya.[68][68]

Mu Gwomusanvu mu 2014, kyalangirirwa nti Kyagulanyi yali wakuyimbira mu Bungereza mu kifo ekiyitibwa The Drum Arts Centre mu Birmingham ne Troxy mu London.[69] Kino kyaletera okukiwera olw'ebigambo byeyali akozesa nga byogera ku buli bwebisiyaga.[70] Ebifo byombi byasazaamu okulabikako kwa Kyagulanyi.[71][72] Mu kiwandiiko ky'Ogwokutaano mu 2016 ekyali ku mukutu gwa 'Twitter' omwalimu okuwanyisiganya na'aba ULC Monastery LGBTI, ekibiina ky'abakiririza mu diini y'obukatuliki kyatumbuula okuwagira eri aba LGBT, Kyagulanyi yagamba nga bweyali avudde mungeri gyeyali awandiise eri abantu abalya ebisiyaga, naye nga teyalambululula bulungi nti oba endowooza zze eri abali b'ebisiyaga yali ekyuse.[73]

Mu 2015, Kyagulanyi yalwanirira obwakabaka bwa Buganda mulujude bwebwali busonda ssente ekintu ekyavumirirwa Sheikh Muzaata n'akyogerako ebigambo ebibi, nekitandikawo olutalo lw'ebigambo.[74] Kyagulanyi ebiseera esinga abadde amannyikiddwa nga Omubanda wa Kabaka ku lw'engeri gy'ali omwesimbu n'okwagala Kabaka wa Buganda.[75]

n AGwokupa mu 6, wheekyuma kya Uganda kyokka ekiyamba mu kujanjaba obulnadde bwa kookolo e Mulago mu Uganda bwekyayononeka, Kyagulaunyi yakulemberamu mu kubunyisa obutali bumativu bw'abantu kungeri abakungu gyebalwawo okwanukula kunsonga eno, n'avumirira ne gavumenti okubeera nga tefaayo wekituuka ku by'obulamu bw'abantu, n'avuganya abakulembezze b'eggwanga ku ky'okukozesa obulungi omusolo oguweebwa banaansi.[76][77]

Okuyita mu kaseera k'okulonda kwa 2015 ne 2016, Kyagulanyi esira ly'obubaka bwe yaliteeka ku bya kuwagira ndowooza za njawulo.[78] Omulanga gwa Kyagulanyi eri abantu gwali gwakakuyege wa kulaba nga gavumenti etereeza eby'obufuzi n'embeera y'abantu mu kulonda kwa 2016, n'ennyimba nga "Dembe", lwaleeta eneeyisa ezitali zimu okuva mu byali byetaagwa mu by'obufuzi bwa Uganda. Mu kaseera kano, ekitongole kya Uganda ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo kyegaana nga bwekyaali kiweze oluyimba lwa "Dembe" okuva ku mikutu gya leediyo.[79] Oluvannyuma lw'emyezi esatu ng'okulonda kuwedde, omubaka wa Amerika mu Uganda Deborah R. Malac yayaniriza Kyagulanyi ku kabaga k'abakungu akaali ku kitebe, n'agamba nti ono yali ayambye okukyusa abavubuka b'eggwanga.[80]

Gavumenti ya Uganda bweyagyako emikutu gimukwanira wala mu kaseera k'okulonda kwa 2016, Kyagulanyi yakoseza gw'obwanannyini ogwa virtual private network (VPN) okuwanikayo obutali bumativu eri okugalibwawo kw'eby'empuliziganya ku mukutu gwe ogwa 'Facebook' nga bw'alaga nga gavumenti bweyasigala ng'ekozesa emikutu gimukwanira wala gyebaali batandise.[81] Kyagulanyi oluvannyuma yalondebwa ng'omu ku baali bagenda okwogera kunsonga y'eddembe kulunaku lw'okwolesa eddembe World Press Freedom Day mu Kampala mu Gwokutaana mu 2016.[82] Mu Gwokusatu mu 2016, yalwanirira eddembe lyabanyimbi bane abamuvuganya okwolesa endowooza zaabwe nti Kyagulanyi nga ye taziwagira.[83]

Mu Gwomunaana mu 2020, Kyagulanyi yatwalibwa mu kkooti nga bamulumiriza okufulumya obubaka obukyamu, okwewandiisa ng'akoseza ekifannanyi ekitali kikye n'okukosesa ebipapula ebikyamu ebitali bibye.[84][85]

Nga 3 Ogwekuminoogumu mu 2020, Kyagulanyi yakwatibwa oluvannyuma lw'abavunaanyizibwa ku by'okulonda bwebamukakasa nga bweyali agenda okwesimbawo mu kulonda kwa bonna okwali kubinda binda Ekiwandiiko ku mukutu gwe ogwa Twitter kyali kigamba yakwatibwa mungeri y'obutabanguko wabweru w'ekifo webaali bamukakasiriza g'eyali agenda okwesimbawo, nebamuziba amaaso okumala akaseera katono era poliisi n'amaggye negamutulugunya.[86]

Bweyali asoma ku yunivasite y'e Makerere, Kyagulanyi yasisinkana mukyala we, Barbara Itungo, nga mubiseera ebya yali muyizi mu siniya ey'omukaaga ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School. Embaga yabwe yaliwo mu gwomunaana mu 2011 oluvannyuma lw'emyaka 10 nga babeera bombi, ng'era balina abaana banna.[87] Kyagulanyi ne famire ye babeera ku kyalo Magere, mu disitulikiti y'e Wakiso, 'ng'era akakasa nti bagenda bonna okulima okusobola okufuna emmere, buli wetuba tusobola. Nga kino nkikola kubanga njagala bayige okubeera mubulamu obwabulijjo, ssi ng'obw'omwana w'omuntu omumannyifu."[88]

Nga 10 Ogwokubiri mu 2015, taata wa Kyagulanyi yafa oluvannyuma lw'okumala akabanga akawanvu ng'atawanyizibwa ekirwadde kya sukaali.[89] Ensonga zno n'okuziika kwasikiriza abakungubaze bangi nga muno mwemwali abakungu ba gavumenti ssaako n'abantu abalala abamannyifu.[90] Nga wayise omwezi gumu, Kyagulanyi yafulumya oluyimba oluyitibwa "Paradiso", olwalimu obubaka obwali bukubiriza abantu okwesiimiza bazadde baabwe nga bakyali balamu.[91]

Awaadi ne by'alondeddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Engule endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ennyimba zze ezigibwa ku mikutu.[96]

Entaambi
  • 2015: Bobi Wange
  • 2015: Hosanah
  • 2015: Kansubize
  • 2015: Ontabira
  • 2015: Sweet
  • 2018: Kyarenga
Ennyimba eenyimpi wamu n'empaanvu
  • 2015: "Ayagala Mulaasi"
  • 2017: "Freedom"
  • 2018: "Kyarenga"
  • 2019: "Tuliyambala Engule"
  • 2020: "Corona Virus Alert"

Ffirimu z'abaddemu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebujuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Bobi Wine conferred with law degree after 7 years as Cavendish University graduates over 700". Daily Monitor. 8 August 2024. Retrieved 2024-08-09.
  2. "Can 'People Power' change Uganda's political fortune?". The Observer (in British English). Retrieved 29 November 2018.
  3. "Uganda's pop star sworn-in as lawmaker". The East African. Nairobi. 11 July 2017. Archived from the original on 11 July 2017. Retrieved 11 July 2017.
  4. "Uganda's Museveni wins sixth term, rival alleges fraud". www.reuters.com (in Lungereza). January 17, 2021. Retrieved October 14, 2023.
  5. "Uganda police, army surround Bobi Wine's home ahead of Kayunga visit". The East African (in Lungereza). 2021-12-14. Retrieved 2021-12-14.
  6. "Ugandan opposition leader Bobi Wine 'under house arrest'". www.aljazeera.com (in Lungereza). Retrieved 2021-12-14.
  7. Kent, Lauren; Dean, Sarah (5 October 2023). "Ugandan opposition leader Bobi Wine arrested at airport as he returns home". CNN.
  8. "Bobi Wine: The People's President". The Peabody Awards (in American English). Retrieved 2024-11-30.
  9. Matovu, Muhamadi (2025-06-26). "Uganda: Bobi Wine Announces 2026 Presidential Bid, Calls for Protest Vote". Nile Post (in Lungereza). Retrieved 2025-08-01.
  10. Matovu, Muhamadi. "Bobi Wine Visits Birthplace, Donates to New Mothers on His 43rd Birthday". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-07-17.
  11. Mazinga, Mathias (14 June 2016). "Cardinal Wamala, singer Bobi Wine set for Nkozi Hospital marathon". New Vision. Kampala. Archived from the original on 13 November 2018. Retrieved 12 November 2018.
  12. "Bobi Wine, brothers mourn father". Monitor (in Lungereza). 2021-01-18. Retrieved 2025-07-17.
  13. Ariba, Caroline (6 September 2012). "Bobi giving back to the hands that lifted him up". New Vision. Kampala. Archived from the original on 10 January 2019. Retrieved 11 July 2017.
  14. "Kitante Hill School | A Centre of Learning Dedicated to Excellence". kitantehillschool.ac.ug. Retrieved 2026-07-28.
  15. EACS (11 July 2017). "Bobi Wine: Biography". Kampala: Eachamps.com (EACS). Archived from the original on 29 September 2014. Retrieved 11 July 2017.
  16. "Kyagulanyi Robert Ssentamu". Parliament of Uganda. Retrieved 6 November 2019.
  17. 1 2 3 "Bobi wine| Eachamps.com". Eachamps.com. Archived from the original on 2014-09-29. Retrieved 2026-08-06.
  18. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-25. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  19. 1 2 "Uganda: Tracing Bobi Wine's Journey to Elective Politics". allAfrica.com (in Lungereza). Archived from the original on 2017-05-01. Retrieved 2026-08-06.
  20. "Queen of Katwe (Original Motion Picture Soundtrack) by Various Artists on Apple Music" (in American English). 2016-09-23. Retrieved 2026-08-06.
  21. "The Rise of Bobi Wine: How A Rapper From the Slums is Igniting A Revolution in Uganda". Harvard International Review (in Lungereza). 2020-11-16. Retrieved 2026-08-06.
  22. 1 2 "Bobi Wine biography, age, family, tribe, education, career, wife, children, salary, house, cars, net worth - KENYAN MOVES". KENYAN MOVES (in American English). 2021-03-24. Archived from the original on 2026-02-19. Retrieved 2026-08-06.
  23. BigEyeUg3 (2015-07-05). "Photos: Bayimba takes SITUKA movie to Mbale". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  24. Koehler, Robert (2008-11-17). "Divizionz". Variety (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  25. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-18. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  26. "Africa highlights: Wednesday 31 May 2017 as it happened". BBC News (in British English). Retrieved 2026-08-06.
  27. "Uganda's pop star sworn-in as MP". The East African (in British English). Archived from the original on 2017-07-11. Retrieved 2026-08-06.
  28. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-20. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  29. "Bobi Wine seeks new legacy". The East African (in British English). Archived from the original on 2017-07-16. Retrieved 2026-08-06.
  30. "You will pay! Museveni lashes at Bobi Wine, Wadri over Arua chaos". PML Daily (in American English). 2018-08-15. Retrieved 2026-08-27.
  31. "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-27. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  32. Reporter, Vision. "Bobi Wine faces treason charges". New Vision. Retrieved 2026-08-06.
  33. The Times (in Lungereza). 2026-07-27.
  34. GROUP, NTV KENYA-NATION MEDIA. "NTV Kenya - ntvkenya.co.ke for your latest news, podcasts, music, sports and entertainment shows cutting across generations". NTV Kenya (in British English). Retrieved 2026-08-06.
  35. Akumu, Patience. "'State's response to make Bobi Wine even more popular'". Al Jazeera (in Lungereza). Retrieved 2026-08-27.
  36. Orinde, Hillary. "Uganda drops charges against Bobi Wine". The Standard (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  37. "Uganda's Bobi Wine: Pop star MP charged with treason" (in British English). 2018-08-23. Retrieved 2026-08-06.
  38. 1 2 Staff (2018-09-02). "Pop-star politician Bobi Wine reaches US after Uganda 'torture'". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 2026-08-06.
  39. Busari, Bukola Adebayo,Stephanie (2018-09-19). "Uganda bans supporters of Bobi Wine from gathering ahead of his return | CNN". CNN (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  40. Burke, Jason; Mwesigwa, Alon; correspondent, Jason Burke Africa (2018-09-20). "Uganda's pop star politician addresses jubilant crowds on return from US". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 2026-08-06.
  41. "Uganda's Wine charged with 'annoying' the president". dw.com (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  42. "Bobi Wine charged with 'annoying' Uganda's Museveni". www.bbc.com (in British English). 2019-08-06. Retrieved 2026-08-06.
  43. France-Presse, Agence (2019-04-22). "Ugandan police detain Bobi Wine and fire teargas at supporters". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 2026-08-06.
  44. https://www.the-star.co.ke/news/2018-07-11-bobi-wine-leads-ugandans-in-protest-against-social-media-tax/
  45. Agencies, News. "Ugandan pop star opposition MP Bobi Wine arrested again". Al Jazeera (in Lungereza). Retrieved 2026-08-27. {{cite web}}: |first= has generic name (help)
  46. "Free Bobi Wine immediately". Amnesty International (in Lungereza). 2019-04-30. Retrieved 2026-08-06.
  47. inbox, Get the stories shaping East Africa-delivered straight to your (2020-07-06). "Ugandan court grants Bobi Wine bail". The EastAfrican (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  48. "Uganda's Bobi Wine Formally Announces Presidential Bid". Voice of America (in Lungereza). Archived from the original on 2021-01-29. Retrieved 2026-08-06.
  49. "2021 Polls: Bobi Wine to Run for Presidency under National Unity Platform Political Party – Online news from Uganda and the East African region – SoftPower News". www.softpower.ug (in American English). Archived from the original on 2020-07-27. Retrieved 2026-08-06.
  50. Al Jazeera English (2020-11-03). "Uganda's Bobi Wine arrested after presidential nomination: Party". Retrieved 2026-08-06.
  51. "Bobi Wine to Unveil manifesto in Museveni's Region". www.fastobserver.com (in Lungereza). Archived from the original on 2021-01-20. Retrieved 2026-08-06.
  52. "Bobi Wine arrested in Luuka". Monitor (in Lungereza). 2020-11-18. Retrieved 2026-08-06.
  53. Athumani, Halima; Wroughton, Lesley (2020-11-20). "37 dead in Uganda protests after arrest of presidential candidate Bobi Wine". The Washington Post (in American English). ISSN 0190-8286. Retrieved 2026-08-06.
  54. "Death toll at 37 in Uganda unrest after Bobi Wine's arrest". AP News (in Lungereza). 2020-11-20. Retrieved 2026-08-06.
  55. Agencies, News. "Uganda: Bobi Wine says bodyguard killed in violence ahead of poll". Al Jazeera (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06. {{cite web}}: |first= has generic name (help)
  56. "Museveni declared winner of disputed Uganda presidential election". Al Jazeera (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  57. McSweeney, Eoin (2021-01-19). "US ambassador blocked from visiting Bobi Wine as official warns 'don't cry for Ugandans' | CNN". CNN (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  58. McSweeney, Eoin (2021-01-26). "Uganda security forces withdraw from Bobi Wine's home | CNN". CNN (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  59. 1 2 "Bobi giving back to the hands that lifted him up". www.newvision.co.ug. Archived from the original on 2019-01-10. Retrieved 2026-08-06.
  60. 1 2 Lydia Nabakooza (2012-09-30). "The september General clean up Kampala Uganda". Retrieved 2026-08-06.
  61. 1 2 BigEyeUg3 (2014-04-24). "Bobi Wine In Campaign Against Malaria". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  62. BigEyeUg3 (2013-08-14). "Bobi WINE in Bundibugyo Charity Drive". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  63. Reporter, Vision. "Bobi Wine appointed parenting ambassador". New Vision. Retrieved 2026-08-06.
  64. "Leading Music Artists Produce New Campaign Song in Uganda | EVERY ONE". everyone.savethechildren.net (in Lungereza). Archived from the original on 2018-08-25. Retrieved 2026-08-06.
  65. "New Vision". www.newvision.co.ug (in Lungereza). Archived from the original on 2025-01-20. Retrieved 2026-08-06.
  66. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-14. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  67. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-07. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  68. 1 2 BigEyeUg3 (2016-02-22). "Bebe Cool fans forsake him over politics, and join Bobi Wine". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  69. Roberts, Scott (2014-07-24). "Anti-gay Ugandan singer due to perform in Birmingham and London". PinkNews | Latest lesbian, gay, bi and trans news | LGBTQ+ news (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  70. Nabaasa, Monica (2014-07-28). "Bobi Wine UK Performance Faces Resistance". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  71. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-15. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  72. Lockley, Mike (2014-07-29). "Anti-gay rapper banned from Birmingham venue over homophobic lyrics". Birmingham Live (in British English). Archived from the original on 2026-03-09. Retrieved 2026-08-06.
  73. The Reverend Randy P. Orso [@ULCMLGBTI]. "@HEBobiwine You recently met with the USA Amb. Malac, have you renounced violence toward the LGBT community in Uganda?". Twitter. Retrieved 2026-08-06.
  74. Aine, Kim (2015-03-23). "Bobi Wine Warns of War with Muzaata". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  75. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-28. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  76. "Mulago cancer machine breaks down". Monitor (in Lungereza). 2021-01-16. Retrieved 2026-08-06.
  77. ivan, sewakiryanga. "Bobi wine to raise money for Cancer Machine! | Campusjuice". mycampusjuice.com (in American English). Archived from the original on 2017-10-30. Retrieved 2026-08-06.
  78. "BBC Interviews Bobi Wine, Calls For Peace During Elections". www.howwe.ug (in Lungereza). 2016-02-16. Retrieved 2026-08-06.
  79. "UCC denies banning Bobi Wine Dembe song". Monitor (in Lungereza). 2021-01-16. Retrieved 2026-08-06.
  80. BigEyeUg3 (2016-05-25). "PHOTO: Bobi Wine and his wife hang out with US Ambassador". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  81. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-25. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  82. https://web.archive.org/web/20160506005857/http://chimpreports.com/entertainment/ugandan-artistes-criticize-state-limitation-of-their-expression/
  83. "Spare artistes from boycott, Bobi Wine appeals to Besigye". Monitor (in Lungereza). 2021-01-16. Retrieved 2026-08-06.
  84. URN (2020-09-01). "Bobi Wine summoned by court over altered age". The Observer Media Ltd (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  85. Reporter, Vision. "Ruling on Bobi Wine age case for September 28". New Vision. Retrieved 2026-08-06.
  86. Burke, Jason; Okriror, Samuel; Kampala (2020-11-03). "Ugandan singer Bobi Wine arrested after confirmation as election candidate". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 2026-08-06.
  87. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-15. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  88. Reporter, Vision. "Bobi Wine rough as a musician, smooth as a father". New Vision. Retrieved 2026-08-06.
  89. "Bobi Wine's father passes on". Daily Monitor (in British English). Archived from the original on 2017-10-23. Retrieved 2026-08-06.
  90. "Politics as Bobi Wine's father is laid to rest". Monitor (in Lungereza). 2021-01-18. Retrieved 2026-08-06.
  91. "Bobi hosts fans at Paradiso release". Daily Monitor (in British English). Archived from the original on 2018-08-23. Retrieved 2026-08-06.
  92. "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-27. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  93. "Foreign Policy's 100 Global Thinkers". 2019 Global Thinkers - Foreign Policy (in American English). Retrieved 2026-08-06.
  94. Mwarua, Douglas (2019-07-10). "Bobi Wine receives prestigious International Humanitarian Award - Tuko.co.ke". www.tuko.co.ke (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
  95. "Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu "Bobi Wine" Honoured With Freedom Prize | Friedrich Naumann Foundation". www.freiheit.org (in Lungereza). 2019-12-10. Retrieved 2026-08-06.
  96. Spotify (in Lungereza). 2026-08-04.