Robert Wakheya
Robert Bwayo Wakhweya muvuzi wa nnyonyi ya Uganda, akola nga Omuvuzi omukulu owa Uganda Airlines, kkampuni ya Uganda eyazuukizibwa, okutandika mu Gwokusatu gwa 2023. Mu kiseera kye kimu akola nga Kapiteeni ku nnyonyi ya A330-800 mu kkampuni eno. Abadde akolagana ne Uganda Airlines okuva mu Gwekkuminoogumu, 2020. [1]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Munnayuganda mu buzaale bwe nga yasomerako ku ssomero lya St. Mary's College Kisubi okusoma siniya . Layisinsi ye ey'okuvuga ennyonyi ezikola ssente yagifuna okuva mu East African Civil Aviation Academy, e Soroti, mu Ttundutundu ly'obuvanjuba bwa Uganda. Oluvannyuma yafuna layisinsi ya ICAO Airline Transport Pilot License . [1]
Emyaka egiyise,bino by'ebika by’ennyonyi by'abadde avuga nga First Officer oba Kapiteeno: Let L-410 Turbolet, McDonnell Douglas DC-10, McDonnell Douglas MD-80, Boeing 737, McDonnell Douglas DC-9, Airbus A320 family, Airbus A330 ne Airbus A350 . [1]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu ssomero lya Soroti Flying School, yasigala ng’omusomesa w’ennyonyi mu ssomero lino. Emyaka bwe gizze giyitawo, abadde avuga Eagle Air Uganda, United Airlines Uganda ne DAS Air Cargo . [1]
Oluvannyuma yavuganga nnyonyi za kkampuni ya Air Uganda etakyaliwo nga avuga nnyonyi ya McDonnell Douglas MD-87, bwe yali tannakyusibwa kugenda mu kkampuni ya Astral Aviation esangibwa mu muliraano e Kenya . Mu myaka gya 2010 yeegatta ku Qatar Airways n’avuga ennyonyi ya A320 n'eya A350, okukkakkana ng’afuuse Kpiteeni ku kiraasi z’ennyonyi zombi. Mu kkampuni ya Qatar Airways, yakola nga Kapiteeni ku nnyonyi ya A350 okumala emyaka 8 n’emyezi 7 nga tannapangisibwa kkampuni ya Uganda Airlines. We bwatuukira mu Gwekkuminoogumu gwa 2021, omugatte yali amaze essaawa ezisoba mu 13,500. Ku ezo, essaawa 7,800 zaali ku nnyonyi za jet ate essaawa ezisoba mu 3,000 zaali za "Jet Command", Kapiteeni Wakhweya mwe yali aduumira ennyonyi eyogerwako. [1]
Omuvuzi w’ennyonyi Omukulu
[kyusa | kolera mu edit source]Chief Pilot eyasooka mu Uganda Airlines yali Michael Etiang, okutandika mu Gwokuna gwa 2019. [2] Mu Gwekkuminoogumu 2022, Michael Etiang yasikizibwa Phillip Sebunya, mu kaweefube w’okuddamu okutereeza eyaleetera okukyusa olukiiko olufuzi lwonna n’abalukulira abakulu abasinga obungi. [3] Mu Gwokusatu 2023, Robert Wakhweya yalondebwa okuba Omuvuzi Omukulu mu kkampuni eno. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (October 2023)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Ebirala ebyalowoozebwako
[kyusa | kolera mu edit source]Kapiteeni Robert Wakhweya, olw’okuba omu ku bavuzi b’ennyonyi abalina obumanyirivu mu kkampuni y’ennyonyi eno, akoze emirimu eminene mu byafaayo by’ennyonyi ya A330-800 mu kkampuni ya Uganda Airlines.
- We bwatuukira mu Gwekkumineebiri gwa 2020, y’omu ku bavuzi b’ennyonyi 34 abaasooka okupangisibwa kkampuni ya Uganda Airlines okuvuga ennyonyi ya A330-800. [4]
- Yali mmemba ku bavuzi ba Uganda abavuga ennyonyi eyasooka eya A300-800, registration 5X-NIL, ku lugendo lwayo olw'okutwala ebintu okuva ku kisaawe ky'ennyonyi e Toulouse mu Bufalansa okutuuka ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe International Airport mu Uganda, nga Flight UR404, nga 21 Ogwekkumineebiri 2020. [4]
- Yali Omuvuzi awa ebiragiro ku nnyonyi ya UR eyasooka obutayimirira okuva e Entebbe (EBB) okutuuka e Jeddah (JED) nga 20 Ogwomukaaga 2023. [5]
- Yali kapiteeni w'ennyonyi eyasooka okubuuka obutereevu wakati wa EBB, Uganda ne BOM, Buyindi, nga eya UR430 nga 7 Ogwekkumi 2023. [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 https://businessfocus.co.ug/captain-bob-wakhweya-uganda-airlines-pilot-with-valuable-experience-in-flying-airbus-family-of-aircraft/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/First-Uganda-Airlines-Bombardier-jetliner-arrive-two-weeks/688334-5062252-60ous7/index.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/ura-boss-leaving-for-uganda-airlines/
- 1 2 https://www.256businessnews.com/uganda-airlines-takes-delivery-of-first-its-a330-800/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-21. Retrieved 2025-10-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.ugstandard.com/joy-as-uganda-airlines-completes-non-stop-flight-between-entebbe-and-indias-mumbai/