Jump to content

Robina Hope Mukisa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Hope Robina Mukisa (yazaalibwa nga 4 Ogwomwenda 1991) mukyala Munnayuganda, mubaka mu Paalamenti era munnabyabufuzi. Ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Namayingo mu Paalamenti ya Uganda . [1] Yeegatta ku Paalamenti mu 2016 ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), [2] ekibiina ekiri mu bukulembeze bwa Uganda nga kikulemberwa Yoweri Kaguta Museveni, pulezidenti wa Uganda. [3]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Mukisa yazaalibwa nga 4 Ogwomwenda 1991. Yasomera mu St. Michael High School Mukono gye yatuulira ebigezo bya siniya ey'okuna era n'aweebwa ebbaluwa ya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 2010. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Ssettendekero wa Makerere n’amaliriza diguli mu by’obusuubuzi eya Bachelor's Degree in Commerce (BCOM) mu 2016. [4]

Mukisa mubaka mu Paalamenti ya Uganda ng'akiikirira abantu ba Disitulikiti y’e Namayingo ng’omubaka omukyala owa Disitulikiti eno ekifo ky’aweererezaamu okuva mu 2016.[5] [6] Mu Paalamenti, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by’obusuubuzi n'obulambuzi mu makolero. [7] Era mmemba mu kibiina ekigatta ababaka ba Paalamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA), gy'aweereza ku kakiiko aka "succession act" round table. [8]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=271
  2. https://parliamentwatch.ug/committee/committee-on-tourism-trade-and-industry/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2026-02-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=271
  5. https://newswift.co.ug/politics/nrm-tribunal-upholds-namayingo-woman-mp-win/
  6. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=271
  7. https://parliamentwatch.ug/committee/committee-on-tourism-trade-and-industry/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2026-02-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)