Robinah Nabbanja

Bisangiddwa ku Wikipedia
Robinah Nabbanja
Robinah Nabbanja

Robinah Nabbanja yazaalibwa nga 17 Ntenvu 1969, mukyala musomesa era munnabyabufuzi, era nga ye Ssaabaminisita wa Uganda omukyala asoose mu byafaayo oluvannyuma lw'okulondebwa mu woofiisi eno nga 8 Ssebaaseka 2021. Yakakasibwa Paalamenti mu butongole ku kifo kino nga 21 Ssebaaseka 2021. Yadda mu bigere bya Ruhakana Rugundah, eyalondebwa ku kifo ky'omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga ez'enkizo mu woofiisi ya Pulezidenti.

Emabegako, yaweerezaako nga minisita owa guno na guli mu minisitule y'ebyobulamu okuva nga 14 Ntenvu 2019 okutuuka nga 3 Muzigo 2021[1].

Mu kiseera kino, ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y'e Kakumiro mu lukiiko lw'eggwanga olukulu. Ekifo kino akibaddemu okuva mu mwaka gwa 2016 okutuuka mu kiseera kino[2].

Obuvo n'okusoma.[kyusa | edit source]

Wakati wa 1990 ne 2000, Nabbanja yafuna satifikeeti ne dipulooma mu bukulembeze, enzirukanya n'enkulaakulana, okuva ku matendekero ag'enjawulo omwali; Uganda Martyrs University, Uganda Management Institute, Islamic University in Uganda ne National Leadership Institute e Kyankwanzi. Diguli ye esooka yagifuna mu Nteesaganya n'enkulaakulana ne diguli eyookubiri mu Nkulaakulana, zombi yazifunira ku Uganda Martyrs University. Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Kakumiro, nga 17 Ntenvu 1969. Okusoma yakutandikira ku Nkooko Primary Schoola. Oluvannyuma yagenda ku St. Edward's Secondary School e Bukuumi, gye yasomera "O" ne "A level" gya yafunira Uganda Certificate of Education ne Uganda Advanced Certificate of Education

Emirimu[kyusa | edit source]

Okuva mu 1993 okutuuka mu 1996, Nabbanja yali musomesa ku Uganda Martyrs Secondary School e Kakumiro. Yaweerezaako nga kansala wa disitulikiti ng'akiikirira eggombolola y'e Nkooko, nga mu biseera ebyo yali ekyayitibwa disitulikiti y'e Kibaale. Okuva mu 1998 okutuuka mu 2001, yaweerezaako g'omuwandiisi ku kakiiko k'ebyobulamu mu disitulikiti y'e Kakumiro. Wakati wa 2001 okutuuka mu 2010, yaweerezaako ng'omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Pallisa, Busia ne Budaka. Mu 2011, yayingira ebyobufuzi eby'okuvuganya era n'avuganya ku ky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kibaale mu Paalamenti eyoomwenda. Disitulikiti y'e Kakumiro bwe yatondebwawo mu 2016, yavuganya ku ky'omubaka omukyala owa disitulikiti era n'addamu n'awangula. Mu kiseera kino era y'akyakiikirira ekitundu kino mu Paalamenti y'eggwanga.

Mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu baminisita nga 14 Ntenvu 2019, Nabbanja yalondebwa nga minisita owa guno na guli mu minisitule y'ebyobulamu ng'adda mu bigera bya Sarah Achieng Opendi.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.bignewsnetwork.com/news/269892971/xinhua-world--summary-at-1530-gmt-june-14
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-08. Retrieved 2021-07-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)