Jump to content

Ronald Kibuule

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ronald Kibuule munnabyabufuzi Omunnayuganda era amannyikiddwa okubeera nga yawasa abakazi bangi, amanyiddwa olw’endowooza ze ez’okukuuma n'okubeera n'emivuyo. [1] Yali Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'Ensonga z'amazzi mu kabineeti ya Uganda . ekifo kyeyalimu okuva nga 1 Ogwokusatu mu 2015, ng’adda mu bBetty Oyella Bigombe mu bigere. [2] Okuva nga 27 Ogwokutaano mu 2011 okutuuka nga 1 Ogwokusatu mu 2015, yaweerezaako nga Minisita Omubeezi ow’Abavubuka n’Abaana. [3] Mu 2021, yafiirwa Obwamemba bwa Paalamenti eyali akiikirira Mukono County North ekifo ekyatwalibwa Abdallah Kiwanuka amanyiddwa ennyo nga Mulima mayuuni.

Propaga agamba nti yagezzaako okukozesa amaanyi g’amagye okukyuusa Akalulu ekintu ky’awakanya n’okutuusa kati. [4]

Obuvu bwe n'eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Kibuule yazaalibwa nga 20 Ogwoluberyeberye mu 1984 ku kyalo Kasenge mu gombolola lye Nama nga bazadde be Zefania Lusebeya omusuubuzi ne Grace Naguta omukyala eyali asigala ewaka. Yasomera ku St. John's Education Center, mu Ttawuni y'e Mukono, ngeno gyeyatuulira ebibuuzo bye ebya P.7. Oluvannyuma yeegatta ku Mukono Parents High School gye yamalira S.4 mu 2002 ate S.6 mu 2004. Yayingizibwa mu Uganda Christian University mu 2003. Yasoma emirimu za bya mbeera z'abantu, n’atikkirwa mu 2008 ne Diguli mu Mbeera Z'abantu n'Enzirukanya y'Emirimu gya Gavumenti. [5]

Nga akyali mu pulayimale, Kibuule yeetaba mu katemba wa siteegi eyali kusomero mwe yazannyira nga Pulezidenti wa Uganda. Omugenyi omukulu ku mukolo guno yali Al Hajji Moses Kigongo omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ky’eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM). Kigongo yeegoomba Kibuule era mu kiseera bwe kyagenda kiyitawo n’afuuka omuntu ow’oku lusegere. Yayanjudde omuvubuka ono mu bakulembeze ba NRM okwali Amama Mbabazi, eyali ssaabawandiisi w'ekibiina, ne Yoweri Museveni, ssentebe w'ekibiina era Pulezidenti wa Uganda. Kibuule yasemberera nnyo Mbabazi era ng'amubeera kulusegere, ng'ono yatandika okumubangula mu nsonga ezimu era ng'amuganyulwaamu. Mbabazi, mu kiseera ekyo nga ye Minisita w’Eby'okwerinda, yasasulira Kibuule ebisale by’esomero mu siniya ne ku yunivasite. Omuvubuka ono yafuuka omuyambi wa minisita wa kabineeti eyali ow’oku ntikko. [6] Wakati wa 2006 ne 2011, yaweereza nga kansala w’omuluka gwa Kasenge mu gombolola ly'e Nama. Mu 2011, yawangula ekifo kya paalamenti ya Mukono County North. [5] Mu kiseera ky’amaze mu Disitulikiti y’e Mukono n’eby'obufuzi by’eggwanga, akoze emikwano mingi ne bamusigansimbi Abachina abataddewo amakolero, kampuni, ne sitoowa mu Disitulikiti y’e Mukono naddala ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja . [7]

Mu 2013, Kibuule yayogera ebigambo ebyamu okutabangula embeera ng'agamba nti poliisi erina okuvunaana abasobezebwako singa babeera bambadde mu ngeri etasaana. Bweyali ayogerako eri abavubuka mu Ssaza lya Kajara, mu Disitulikiti y'e Ntungamo District, yagamba nti Poliisi erina okuteekawo enyambala y’abasobezeddwaako n’okuleka abo abasobeza ku bakazi singa abasobezebwaako babeera bambadde mu ngeri etasaana. Kibuule atwala enyambala etali ya kitiibwa okuli bikini, sikaati ennyimpi, ne jjiini ezikwata omubiri. Ebigambo bye byaletawo okuvumirirwa okw'amaanyi, ng'Ababaka ba Paalamenti bamukubiriza "okwefuga", nga baagala yeetonde, n'okubuzabuza abasajja", ng'agamba nti si kibi okugenda mu maaso n'okusobya ku bakazi abambala sikaati ennyimpi." [8] [9] Mu kiwandiiko kye yafulumya mu lukungaana lw'olukiiko olwali lugenda mu maaso, minisita yagamba nti ebigambo bye byali tebitegereddwa bulungi. [10]

Mu Gwomunaana 2016 Kibuule baamulumiriza okubeera ng'alina omukuumi omukazi gweyali akubye[11] Kino kyavaako okwemulugunya kw'ekibiina ekirwanuirira eddembe ly'abantu mu Suula ey'okuna. Kibuule yagenda mu baanka emu n’agaana okukeberebwa omukuumi Hellen Obuk. Yatandise okumuwerekereza ebigambo n’agezaako n'okumukuba. Oluvannyuma ekibinja ky’abaserikale ba poliisi nga 6 ku mmotoka 2 eza patrol pick-ups okuva ku Poliisi y’e Mukono nga bakulembeddwa omuduumizi wa Poliisi mu Disitulikiti ASP Fred Ahimbisibwe baakwata Hellen Obuk. Yatulugunyizibwa mu mubiri ne mu bwongo era nga yalina okutwalibwa mu ddwaaliro. [12]

Mu 2017, mu kukubaganya ebirowoozo ku kkomo ly'emyaka, yaleeta emundu mu paalamenti n’atiisatiisa omubaka Ibrahim Ssemuju. Yayimirizibwa ssentebe wa paalamenti Kadaga. [13]

Ne mu 2017, kigambibwa nti yatiisatiisa David Mussis Kalyankolo omusasi w'omuktu gwa Bukedde Television mu Disitulikiti y’e Mukono. Kigambibwa nti Minisita yagula ettaka eriweza yiika 85 okuva ku Musa Kateregga erisinganibwa e Kigaya Landing site mu gombolola ly'e Najja, mu Disitulikiti y’e Buikwe mu Buvanjuba bwa Uganda ng’alina abapangisa kyokka n’agaana okubaliyirira. [14]

Mu Gwokubiri mu 2021 Ronald Kibuule yalumirizibwa okukwatirako n'okutulugunya omuwagizi w'ekibiina kya National Unity Platform mu Mukono North.[15] Mu kulonda kw'Oluberyeberye nga 14, Kibuule yawangulwa Abdallah Kiwanuka. Yagezaako okukyusa eky'okubeera nga yali awanguddwa ng'asindika amaggye okukaka Akakiiko Akavunaanyizibwa ku by'Okulonda okumulangirira nga omuwanguzi, naye n'alemererwa.[16]

Mu Gwokutaano 2021 Kibuule yagibwa ku bwa minisita okuva mu kabineeti ya Museveni kubanga yali afuuse omuntu eyali takyayagalwa mu disitulikiti y'e Mukono nga kino kyali ku mivuyo gy’ettaka. [17]

Salongo Kibuule mufumbo n’abakyala babiri, Fortunate Kibuule ne Esther Kibuule, era ye taata w’abaana ab’obulenzi n'ab’obuwala okuli, Natasha, Orishaba, Victoria, Samantha, n'abalala. Mu 2019, yafiirwa abalongo be Kato ne Wasswa mu kidiba ekiwugirwamu eky’awaka [9]

[10]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Kibuule is no stranger to controversy". Daily Monitor.
  2. Uganda State House (1 March 2015). "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 6 March 2015.
  3. Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. Retrieved 6 March 2015.
  4. "Army withdraws SFC guards after election rigging". PMI daily.
  5. 1 2 POU (2012). "Profile of Ronald Kibuule, Member of Parliament for Mukono County North, Mukono District". Parliament of Uganda. Retrieved 6 March 2015.
  6. Barbara Among, and Daniel Kalinaki (15 March 2014). "Museveni, Mbabazi Wrangles Have Been Festering Since 2008". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 6 March 2015.
  7. Semakula, John (28 May 2013). "China Aids Mukono School". Retrieved 6 May 2015.
  8. Muranzi, Perez (24 September 2013). "Indecent Rape Victims to Blame, Says Youth Minister". Retrieved 6 March 2015.
  9. 1 2 Abimanyi, John (25 September 2013). "Kibuule Is No Stranger To Controversy". Retrieved 6 March 2015.
  10. 1 2 SFMR (25 September 2013). "I Was Misunderstood – Says Kibuule". Simba FM Radio (SFMR). Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 6 March 2015.
  11. "Kibuule assault on female guard".
  12. "What you need to know about Ms. Hellen Obuk's case" (PDF). Chapter Four. Archived from the original (PDF) on 2024-03-26. Retrieved 2025-10-14.
  13. "Kibuule had a gun in parliament". Chimp reports.
  14. "Minister Kibuule Threatens Journalist for Covering Land saga". Human Rights Network Uganda.
  15. "Kibuules opponent accuses him of kidnap". Nilepost.
  16. "Kibuules SFC guards withdrawn after failed abduction attempt". Ekyooto.
  17. "Go rear goats". WhisperEye. Archived from the original on 2022-01-28. Retrieved 2025-10-14.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]