Jump to content

Rose Atima Ayaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rose Atima Ayaka (yazaalibwa 17 Omwezi ogwomwenda 1975) munnayuganda munnabyabufuzi eyaweerezaako ng'omubaka omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti ya Maracha, mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi (2016 - 2021). [1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ayaka yazaalibwa nga 17 Omwezi ogwomwenda 1975. Pulayimale yagisomera mu kitundu. Yasomera mu Mvara Secondary School mu kibuga ky'e Arua, ku misomo gye egya siniya eyokuna (.S.4) naagimaliriza mu 1989. Yeeyongerayo n'emisomo gye egya siniya ey'omukaaga (S.6) mu Muni Girls’ Secondary School, nalyo liri mu Arua, naafuna Dipulooma ye ey'omutendera ogwa waggulu okuva eyo mu 1993. [1]

Olwo yaweebwa ekifo ku yunivasite ya Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda,n’atikkirwa mu 1996 ne ddiguli esooka mu mbeera z'abantu n'ebitundu . Mu 1999, yakiika mu musomo gwa Kkoosi ya Offisa Kadeti ku ttendekero lya Uganda ery'amaggye mu Kabamba Disitulikiti y'e Mubende era yaweebwa ssatifikeeti ey'okukiika. [1]

Alina ne Ssatifikeeti mu kukwasaganya obulungi ennugamya y'abakozi mu mirimu gyabwe eyamuweebwa ettendekero lya Eastern and Southern Management Institute . Dipuloma ye ey'omutendera ogwa waggulu mu kukulembera abakozi yafunibwa kuva ttendekero lya Uganda Management Institute (UMI) mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. We bwazibidde mu 2016, Ayaka yali asoma kufuna diguli eyokubiri mu misomo gy'okukulembera n'okuddukanya ebitongole n'emirimu, nayo mu UMI. [1]

Nga tanneesogga byabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ayaka yamala emyaka egisukka mu kkumi n’etaano nga tannayingira byabufuzi, ng’akolera Akakiiko ka Uganda ak'Ebyokulonda akeetongodde . Okuva mu 1999 okutuuka mu 2000, yakolako ng'omumyuka w'akulira eby'okulonda owa disitulikiti. Oluvannyuma yaweerezaako ng'akulira ebyokulonda owa disitulikiti okuva mu 2000 okutuuka mu 2011. Okuva mu 2012 okutuuka mu 2015, yeeyali offiisa akulira amabendobendo( Regional) ku kakiiko ka Uganda ak’ebyokulonda . [1]

Nga munnabyabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kulonda kwa palamenti okwa 2016, Rose Atima Ayaka yawangula abeesimbawo abalala babiri okuwangula ekifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Maracha mu Palamenti ey’ekkumi. Yeesimbawo nga mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [2] Mu Palamenti ey'ekkumi, yatuula ku kakiiko ka palamenti ak'eddembe ly'obuntu n'akakiiko ka palamenti ak'ebyobulamu . [1]

Ebirala eby’okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Mmemba w’ekibiina ekigatta abakyala mu palamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA). [3] Ayagala nnyo okutumbula ebyenjigiriza, ebyobulamu eb'awamu/ ebyolukale n’okutumbula ebyenfuna mu kitundu kye. [4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Parliament of Uganda (2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Rose Atima Ayaka". Kampala: Parliament of Uganda. Retrieved 23 April 2020.
  2. Robert Ariaka (19 February 2016). "Preliminary Results Table For West Nile MP Polls". Kampala: Uganda Radio Network. Retrieved 23 April 2020.
  3. Uganda Women Parliamentary Association (2016). "Members of UWOPA In the 10th Ugandan Parliament". Kampala: Uganda Women Parliamentary Association. Archived from the original on 18 April 2021. Retrieved 23 April 2020.
  4. Denis Oringi (4 March 2018). "Maracha district women Mp supports women leaders in skills training program on IGAs". Arua: Radio Pacis. Archived from the original on 4 December 2025. Retrieved 7 September 2025.
  1. 1 2 3 4 5 6 Parliament of Uganda (2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Rose Atima Ayaka". Parliament of Uganda. Retrieved 23 April 2020.
  2. Robert Ariaka (19 February 2016). "Preliminary Results Table For West Nile MP Polls". Uganda Radio Network. Retrieved 23 April 2020.
  3. Uganda Women Parliamentary Association (2016). "Members of UWOPA In the 10th Ugandan Parliament". Kampala: Uganda Women Parliamentary Association. Archived from the original on 18 April 2021. Retrieved 23 April 2020.
  4. Denis Oringi (4 March 2018). "Maracha district women Mp supports women leaders in skills training program on IGAs". Radio Pacis. Archived from the original on 4 December 2025. Retrieved 7 September 2025.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]