Jump to content

Rose Kabagyenyi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rose Kabagyeni (yazaalibwa 4 Ogwomunaana 1974; oluusi ayitibwa Rose Kabagyeni ) Munnayuganda, munnabyabufuzi era eyali omubaka omubaka wa Palamenti omukyala . Yali mubaka wa Palamenti (MP) omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kisoro, ekifo kye yaweererezaamu okuva mu 2016 okutuuka mu 2021. [1]Bwe gwatuukira mu 2022 , yaliko omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku by’obulimi mu Uganda. [2]

Ono mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [3]

Obulamu bwe n’okusoma kwe ng'akyali muto

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabagyenyi yazaalibwa nga 4 Ogwomunaana mu 1974. Yamaliriza emisomo gye egya pulayimale mu Gikoro primary school mu 1987. Mu 1990, yamaliriza siniya ey'okuna ne satifikeeti ya Uganda Certificate of Education (UCE) mu ssomero lya Seseme Girls secondary school e Kisoro . Yafuna satifikeeti esooka mu by’obulimi mu 1995 ne dipulooma mu by’obulimi okuva mu ttendekero ly'ebyobulimi erya Bukalasa Agricultural College mu 2000.[4]

Mu 2004, Kabagyenyi yafuna diguli mu by'obulimi eya Bachelor's degree in Agriculture okuva mu Ssettendekero wa Makerere mu Kampala. Yeeyongerayo n’okusoma kwe n’afuna dipulooma ey'okubiri mu 2011 ate satifikeeti ey'okubiri mu kulondoola n’okwekenneenya okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2013.

Mu 2014, Kabagyenyi yafuna diguli eyookubiri mu by’obulimi okuva mu Ssettendekero wa Makerere .

Kabagyenyi yazaalibwa mu 1974 nga 14 mu gw'omunana. Emisomo gye egya primary yagimalira ku ssomero lya Gikoro primary school mu mwaka gwa 1987. Mu mwaka gwa 1990, yamaliriza secondary nafuna ebbaluwa ye eya Uganda Certificate of Education (UCE) ku ssomero lya Seseme Girls secondary school mu Kisoro . Yafuna satifikeeti ye eyasooka mu by'obulimi mu 1995 ne dipulooma mu by'obulimi okuva mu ttendekero ly'ebyobulimi li Bukalasa Agricultural mu 2000. [5]

Mu 2004, Kabagyenyi yafuna diguli mu by’obulimi okuva ku Ssetendekero w’e Makerere mu Kampala . Yeyongerayo n’emisomo gye n’afuna dipulooma eyookubiri mu mwaka gwa 2011 ne satifikeeti eyookubiri mu kulondoola n’okwekenneenya okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2013.

Mu mwaka gwa 2014, Kabagyenyi yafuna diguli eyookubiri mu by’obulimi okuva ku Ssetendekero w’e Makerere .

Okuva mu 1997 okutuuka mu 2000, Kabagyenyi yakola ng’akulira eby'obulimi mu gavumenti z’ebitundu e Kisoro era ng’akulira eby'obulimi mu Disitulikiti y’e Kisoro okuva mu 2007 okutuuka mu 2010.

Kabagyenyi yaliko omuwi w’amagezi mu kitongole ekiwabula ku by’obulimi mu Ggwanga ekya NAADS.[6] [7] [8]

Ng'omubaka omukyala mu Paalamenti owa Disitulikiti y'e Kisoro yasikizibwa Sarah Mateke Nyirabashitsi . [9] [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20180321103715/http://www.parliament.go.ug:80/mp_database/profile.php?mid=83
  2. https://chimpreports.com/former-kisoro-mp-kabagyenyi-appointed-presidential-advisor/
  3. https://observer.ug/news/headlines/56437-age-limit-how-your-mp-voted
  4. https://nilepost.co.ug/politics/225073/kabagyeni-out-to-maintain-nrms-stronghold-in-kisoro-by-election
  5. Nantaba, Lukia. "Kabagyeni Out to Maintain NRM's Stronghold in Kisoro By-Election". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-03.
  6. https://allafrica.com/stories/201006160047.html
  7. https://www.naads.or.ug/
  8. https://www.independent.co.ug/rose-kabagyeni-declared-as-nrm-flag-bearer-in-the-kisoro-woman-mp-race/
  9. https://web.archive.org/web/20180321103715/http://www.parliament.go.ug:80/mp_database/profile.php?mid=83
  10. https://chimpreports.com/former-kisoro-mp-kabagyenyi-appointed-presidential-advisor/

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]