Roseline Konya
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Nigeria |
| Erinnya eriweereddwa | Roseline |
| Erinnya lya famire | Konya |
| Gy'azaalwa | Khana |
| Omwagalwa | unknown value |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | academic, munnabyabufuzi, civil servant |
| Omukozesa | University of Port Harcourt |
| Ekifo ky'alimu | commissioner |
| Gyeyasomera | University of Port Harcourt |
| Affiliation | University of Port Harcourt |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Peoples Democratic Party |
| Ediini | Christianity |
| Magnum opus | chairperson |
| Personal pronoun | L484 |
Roseline Sonayee Konya munnabyanjigiriza era munnabyabufuzi omu Nigeria okuva mu Khana, Rivers State. Pulofeesa mu by'obutwa n'eddagala mu yunivasite y'e Port Harcourt.[1][2] Yakolako nga Kaminsona w'obutonde bw'ensi[3] mu kabineti ya Gavana Peter Odili era n'addamu okulondebwa mu ofiisi y'emu mu kabineti ya Gavana Ezenwo Nyesom Wike.[4] Era yaliko Ssentebe w'akakiiko k'abakozi ba gavumenti mu 1997.[5]
Ebyafaayo n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Buan, Khana mu ssaza ly'e Rivers, Nigeria. Konya yasomera ku St Arthur’s Anglican Primary School, Buan gye yava n’agenda ku Mercy Secondary School, Okigwe (leero mu Imo State, Nigeria) okusoma siniya. Wabula yataataaganyizibwa olutalo lw’omunda mu Nigeria, olwatandika ku nkomerero ya 1967. Mu 1968, ng’olutalo lukyagenda mu maaso, yawandiisibwa ku Holy Rosary Secondary School, Port Harcourt gye yagenda mu maaso n'emisomo mu siniya okutuusa mu 1969. Okuva mu 1970 okutuuka mu 1971, yasoma emisomo gye egya A-level ku St. Anne’s School, Ibadan, gye yava n’agenda mu mpaka za The Council for National Academic Awards (CNAA), Bungereza, gye yafunira diguli ye eya B.Sc. mu Sayansi mu 1976 ate mu 1977 yafuna diguli eyookubiri okuva mu Loughborough University. Mu 1984, Konya yamaliriza pulogulaamu ye eya ddiguli eyookusatuokuva ku Brunel University, London.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Konya yatandika okukola ng’omuyambi w'omusomesa ku yunivasite y’e Port Harcourt mu 1979, oluvannyuma n’agenda mu Brunel University, Bungereza gye yafunira diguli ye eya Ph.D. Yaddayo e Nigeria mu 1984 n’agenda mu maaso n’okubeera omusomesa mu yunivasite y’e Port Harcourt. Nga tannalondebwa ku bwa Kaminsona w'obutonde bwensi mu Rivers State. Yaliko mu bifo ebiwerako era nga bino mulimu:
- Ssentebe, Protocol Subcommittee of Convocation Committee(1990)
- Dayirekita, Kampuni ya Delta Rubber (1991–1993)[6]
- Kaminsona, Akakiiko k’abakozi ba gavumenti (1993–1996)
- Ssentebe, akakiiko k’abakozi ba gavumenti (1997–1999)
- Akulira ekitongole, Ekitongole ky’ebisolo n’obutonde bw’ensi (2001–2003)
- Mmemba, Olukiiko oluwabula ku by’ensoma, Institute of Petroleum Studies (IPS)
- Akwasaganya embeera z'abayizi, School of Graduate Studies
- Pioneer Provost, School of Graduate Studies
Mu mwaka gwa 2003, Konya yakuzibwa n’afuna ekifo kya Pulofeesa w’ebyobulamu by’ebisolo n’obutonde bw’ensi.
Ye ssentebe wa, Akakiiko ak’ekikugu akassa mu nkola Ebiteeso by’alipoota ya Gavumenti y’essaza ly’e Rivers ku nfuufu[7][8][9]
Engule
[kyusa | kolera mu edit source]- Engule y’obukulembeze obw’ekitiibwa mu tekinologiya w’obutonde bw’ensi eyakolebwa ekibiina ky’abasuubuzi mu Bungereza nga basiima ebituukiddwaako ebirungi n’okumanyika mu bukulembeze mu 2004.
- Yayogerwako mu ngule ya WHO IS WHO for Excellence in Management Intelligence Special Merit Award mu Gwekkumi, 2008
- Merit Award okuva mu kibiina ky'abayizi aba Animal and Environmental Biology Students Association nga omusomesa asinga okubeera omulungi - Gwamwenda, 2010
- Engule y’akakiiko k’abakulu n’abakulira essomero lya Post Graduate School (CDPGS) mu Nigeria – Gwakkumineebiri 2012
Obulamu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Roseline Konya yali yafumbirwa Barido Konya kati omugenzi,[10] gwe yazaalamu abaana basatu.[10]
Ye ssentebe w’olukiiko lw’aba Methodist Knights Council eyasooka mu– Port Harcourt Archdiocese; era omukazi eyasooka mu Methodist Knight mu masaza g'e Rivers ne Bayelsa.[11]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Konya Calls For Environmental Stewardship In Nigeria". University of Port Harcourt. Archived from the original on 30 April 2016. Retrieved 17 June 2016.
- ↑ Davies Iheamnachor (28 April 2015). "Toxicologists raise alarm over pollutants in N-Delta communities Calls". Vanguard. Lagos, Nigeria. Retrieved 17 June 2016.
- ↑ "'Government agencies, others fuelling air pollution in Port Harcourt'". The Guardian. Lagos, Nigeria. 27 May 2018. Retrieved 7 April 2022.
- ↑ John Ighodaro (4 April 2005). "Odili Sets Up Committee to Study Ataba Crisis Report". Vanguard. Retrieved 17 June 2016 – via AllAfrica.
- ↑ "Konya Roseline". LitCaf (in American English). 2020-08-20. Archived from the original on 2022-09-27. Retrieved 2022-03-21.
- ↑ Babah, Chinedu (2017-03-02). "KONYA, Dr. (Mrs.) Roseline S". Biographical Legacy and Research Foundation (in American English). Retrieved 2022-04-12.
- ↑ "Rivers govt sets up committee to tackle soot". The Punch. 17 May 2019. Retrieved 12 April 2022.
- ↑ Isangedighi, Iyanam (2019-05-18). "Rivers government sets up a technical committee to tackle soot". TODAY (in American English). Retrieved 2022-04-12.
- ↑ Yakubu, Okhumode H. (January 2018). "Particle (Soot) Pollution in Port Harcourt Rivers State, Nigeria—Double Air Pollution Burden? Understanding and Tackling Potential Environmental Public Health Impacts". Environments (in Lungereza). 5 (1): 2. doi:10.3390/environments5010002. ISSN 2076-3298.
- 1 2 "Konya Roseline". LitCaf (in American English). 2020-08-20. Archived from the original on 2022-09-27. Retrieved 2022-08-29.
- ↑ Admin. "Roseline Konya" (PDF). UNIPORT.edu.ng. Archived from the original (PDF) on 1 September 2024. Retrieved 1 September 2024.