Jump to content

Rosemary Nauwat

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rosemary Nauwat (yazaalibwa nga 14 Ogwekkuminogumu 1968) Munnayuganda, musomesa era omubaka wa Paalamenti ya Uganda. Mu Gwokuna 2020, ye yali mubaka omukyala omulonde eyali akiikirira Disitulikiti y’e Amudat mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumi. Yakiikirira ekitundu kye kimu mu Paalamenti ya Uganda ey’omwenda nga mmemba w’ekibiina kya National Resistance Movement. Oluvannyuma yavuganya mu kulonda kwa bonna okwa 2016 ng’avuganya ku bwa nnamunigina. [1]

Obuto bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Nauwat yakola ebigezo bye ebyakamalirizo ebya Primary Leaving Examination mu Kalas Girls Primary mu 1980 nga tannaba kufuna baluwa ye eya O Level ( Uganda Certificate of Education ) mu Kangole Girls Secondary School mu 1984. Oluvannyuma yasomera ku Kyebambe Girls Secondary School mu A Level ( Advanced Certificate of Education ) mu 1998 n’oluvannyuma n’awandiisibwa mu Kaliro National Teachers College kusoma dipuloma mu busomesa bwa siniya gye yafuna mu 1993. Oluvannyuma yafuna diguli mu busomesa eya Bachelor of Arts in Education okuva mu Ssettendekero wa Makerere mu 2001.[2]

Wakati wa 1994 ne 2003, Nauwat yakola ng’omusomesa mu Moroto High School.

Oluvannyuma yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Amudat mu 2011 ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movement . Yeesimbawo ku bwa nnamunigina mu kulonda kwa bonna okwa 2016 okusigaza ekifo kino. [3]Ng’omubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumi, yali mmemba mu kibiina ekigatta ababaka abakyala mu Paalamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) era yali atuula ku kakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku by’enfuna by’eggwanga. [4][5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Omukutu gwa Paalamenti ya Uganda