Jump to content

Rububi Kyebambe II ow’e Tooro

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rubuubi Kyebambe IIl yali Omukama w’Obukama bwa Tooro mu 1875 era okuva mu 1877 okutuuka mu 1879. Yali Omukama ow’omusanvu (7) ow’e Tooro.

Okulinnya ku ntebe y'Obukama

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Kasunga Kyebambe Nyaika, Omukama ow’e Tooro owokuna, okuva mu 1866 okutuusa mu 1871 n’okuva mu 1871 okutuusa mu 1872. Tewali kyogerwako ku nnyina. Yalinnya ku ntebe oluvannyuma lwa mukulu we Rukirabasaija Isingoma Rukidi II okuva mu ntebe mu 1875.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Tewali kyogerwako ku bulamu bw’Omukama Rububi Kyebambe II ku nsonga z'obufumbo. Tekimanyikiddwa ku baana bameka Omukama Rububi Kyebambe II abaazaala .

Obukulembeze bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yafuuka Omukama oluvannyuma lwa muganda we, Rukidi II, okuva mu ntebe mu 1875. Kyokka oluvannyuma mu omwaka ogwo, Obwakabaka bwa Tooro bwalumbibwa eggye lya Bunyoro nga liduumirwa Omutaka Kikukele ow’e Bugangaizi. Yaddukira mu Buganda . Nga wayise emyaka ebiri, yakomawo n’agoba muto we, Omukama Katera, mu 1877. Yafuga okutuusa ye kennyini lwe yagobwa mu ntebe mu 1879.

Emyaka gye egy'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Omukama Rububi Kyebambe II nga agobeddwa muto we okuva mu ntebe, Rukirabasaija Kakende Nyamuyonjo, mu 1879, ng’awagirwa eggye lya Buganda . Tekinnamanyikiddwa ku wwa n'abutya Omukama Rububi Kyebambe gye yafiira oba ekyamuviirako okufa.

Engeri Abakama gye bazze b'eddiringana:Omulundi ogusooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Engeri Abakama gye bazze b'eddiringana:Omulundi ogw’okubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]