Rukidi II ow’e Tooro
Rukirabasaija Isingoma Rukidi II yali Omukama w’Obukama bwa Tooro okumala emyezi mitono mu 1875. Tooro y'emu bwakabaka obw’ennono obusangibwa mu nsalo za Uganda . Ye yali Omukama ow’omukaaga ow’e Tooro.
Okulinnya ku ntebe y'Obukama
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Kasunga Kyebambe Nyaika, Omukama ow’e Tooro owookusatu okuva mu 1866 okutuuka mu 1872, okuggyako akaseera katono mu 1871. Tewali kyogerwako ku nnyina. Yalinnya ku ntebe oluvannyuma lw’okuwambibwa kwa muganda we, Rukirabasaija Nyaika Mukabirere Olimi II, Omukama ow’okutaano (5) ow’e Tooro, nga yawambibwaamagye g’e Bunyoro mu 1875.
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Tewali kwogerwako ku bulamu bwe obw’obufumbo mu by'awandiikibwa ebiriwo.
Abaana be
[kyusa | kolera mu edit source]Omuwendo gw’abaana be tegunnamanyikiddwaa. Yasikirwa mutabani we Samwiri Nyamugabwa Kwitakurumuki oluvannyuma eyafuuka omukulu w’e Kibale.
Obukulembeze bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Omukama Rukidi II teyasobola kwenywereza mu ntebe okumala ebbanga ddene. Yava mu ntebe oluvannyuma lw’emyezi mitono nga agilekera muto we, Kakende Nyamuyonjo .
Emyaka gye egy'oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Tekinnamanyika wa Omukama Rukidi II gye yafiira n’engeri gye yafamu oba ekyamuviirako okufa.