Jump to content

Rukidi I owe Toro

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rukirabasaija Kato Rukidi I (kajjaju) ye yali Omukama w’Obukama bwa Tooro, okuva mu 1871 okutuuka mu 1871. Ye yali Omukama we Tooro ow’okuna (4).

Okulinnya ku ntebe y'Obukama

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Rukirabasaija Kaboyo Omuhundwa Kasusunkwanzi Olimi I, Omukama eyasooka owa Tooro eyafuga wakati wa 1822 ne 1865. Yayeekera mukulu we, Kyebambe Nyaika mu 1871, ng’ayambibwako eggye lya Buganda eryali libalumbaganye . Yawamba entebe era Omukama Nyaika n’adduka n’agenda mu kwekweka.

Obukulebeze bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Obukulembeze bwe bwali bumpi nnyo. Ensonda ezimu zigamba nti yamala emyezi ebiri gyokka. Nasuulibwa abantu be beyali afuga era muganda we Kyebambe Nyaika n’adda ku ntebe.

Kato Rukidi 1 Rukirabasaija (Kajjaju) yagenda e Masaka n’agoberera mwannyina, yafuna ettaka e Bukakata kunya, ensangi zino eriyitibwa Bujjaju. Oluvannyuma lw’ekyo yagenda mu kifo ekirala ensangi zino ekiyitibwa Bwala hill era abantu b’e Masaka bamuyita Kajjaju, yatandikawo famire ye empya ku lusozi Bwala era famire eno Bwala mukirangira n’okutuusa kati gy'eli.

Rukirabasaija kato Rukidi 1 abantu ba Buganda bamuyita Kajjaju, baamutuuma erinnya Kajjaju kubanga abantu bamubuuzanga " wanja ndi masaka " n'abaddamu nti " kajjaju masaka muno " ekitegeeza " naja njo mu masaka muno " (najja ennaku eziyise mu nsiko) n'erinnya masaka ne litandika awo.Yatandiikawo amaka amaggya mu masaka nga mu kaseera kano wayitibwa Bwala hill Masaka city era oluvanyuma lw'emyaka mingi nga alina abazzukulu, yafa. Baamuziika ku lusozi Bwala okumpi ne Bwala Masgd (amasiro ga Kato Rukidi1 Rukirabasaija Kajjaju )

By'azuuliddwa muzzukulu we SSEBUNYA MOSES KAJJAJU dayirekita wa KAJJAJU TRUST PHONES. Omukutu gwa Facebook MOSES MOSSY KKM SSEBUNYA,

Ebikwata ku Famire ye

[kyusa | kolera mu edit source]

Tewali kiwandiikiddwa ku bulamu bw’obufumbo bw’Omukama Rukidi I.

Si bingi ebiwandiikiddwa ku baana b'Omukama Kato Rukidi I.

Engeri Abakama gye baali b'eddiringana:Omulundi ogwasooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]