Jump to content

Ruth Sebatindira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ruth Sebatindira Munnayuganda,munnamateeka w’ebitongole n’emisolo nga mu Gusooka 2020 yatandika emirimu gye nga omuddukanya wemirimu my kkampuni ya Uganda Telecom Limited (UTL), [1] [2] kkampuni y’amasimu eya gavumenti, wansi w’enzirukanya ya kkooti okuva mu Gwokuna 2017.[3] Yamaliriza emirimu gye egy'okuddukanya kkampuni ya UTL mu Gwekkuminogumu 2022 bwe yakwasa Evelyn Anite, Minisita omubeezi akwasaganya okugaba emigabo mu bwannannyini, nga bakiikirira bannannyini migabo emipya oluvannyuma lw’okukyusa erinnya lya UTL n’efuulibwa Uganda Telecommunications Corporation Limited (UTCL).[4]

Obuto bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Ruth Sebatindira yazaalibwa mu Kampala mu Uganda mu 1973.

Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws gye yafunira ku Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Gavumenti era esinga obunene n'obukulu. Era alina dipuloma ey'enyongereza mu kutaputa amateeka eya Diploma in Legal Practice, eya muweebwa ku ttendekero ly'abannamateeka erya Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Diguli ye ey'okubiri mu mateeka eya Master of Laws yagifunira ku University of Manchester, mu Bungereza.[3][5]

Sebatindira yayitibwa okuweebwa ekitiibwa kya munnanmateeka mu kimanyikiddwa nga called to the bar mu 1997, era emirimu gye yagitandira mu kkampuni ya Kalenge, Bwanika, Kimuli & Company, Advocates mu Kampala, gye yakolera okumala emyaka etaano. Oluvannyuma yakolera mu Deloitte Uganda nga omuwabuzi omukulu ku nsonga z'emisolo okutuusa mu 2003, lwe yatandikawo kkampuni ya Ligomarc Advocates. Y'avunaanizibwa ku misolo n’ebizimbe mu kkampuni ya Ligomarc Advocates.[3][5]

Mu 2003, Sebatindira yatandikawo kkampuni ya bannamateeka eya Ligomarc Advocates esangibwa mu Kampala ng’ekola yekka. Oluvannyuma abalala beegatta ku kkampuni eno, era mu Gusooka 2020, kkampuni eno erina ba patana b'ekolagana n'abo bana, bannamateeka 18 n’abakozi 45 bonna awamu. [6]

Emirimu gye mu kyaasa ekya 21 mulimu okulemererwa kw'ebitongole, enkaayana zabalina emigabo, okukwasisa amateeka, okuwabula ku misolo, okuteesa ku pulojekiti z'ebyobusuubuzi n'endagaano. Okuva mu Gusooka 2020, y'enyigidde mu kuwabula abantu ku nsonga z'emisolo mu ndagaano z'ensimbi, endagaano z'amafuta, ebyamasanyalaze n'enkulakulana y'ebizimbe.[7]

Nga 2 Ogusooka 2020, Omulamuzi Lydia Mugambe owa Civil Division mu kkooti enkulu eya Uganda yalonda Sebatindira nga omuddukkanya wa kkampuni y'ebyempuliziganya eya Uganda Telecom Limited, kkampuni ya gavumenti entono mu buwanika obwalondebwa kkooti okuva mu Gwokuna 2017.[8] Sebatindira yakwata obuvunanyizibwa bwa UTL okuva ku Bemanya Twebaze nga 6 Ogusooka 2020.[9][10]

Obwa mmemba n'ebibiina

[kyusa | kolera mu edit source]

Sebatindira mmemba w'ebibiina ekitaba bannamateeka omuli Uganda Law Society, East Africa Law Society, International Bar Association, International Fiscal Association ne mu Association of International Petroleum Negotiators.[7]

Ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Yaweerezaako nga pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society okuva mu 2013 okutuuka mu 2016.[7] Yaweereza nga ssentebe eyatandikawo akakiiko k'abakyala bannamateeka mu kibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society mu 2011.[7] Ye kaminsona mu kakiiko k'ekitongole ekiramuzi akawabula Pulezidenti wa Uganda ku kulondebwa kw'abalamuzi.[7][11]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Daily Monitor (5 January 2020). "Give Uganda Telecom Limited kiss of life". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 7 January 2020.
  2. Daily Monitor (19 July 2020). "Ruth Ssebatindira appointed UTL Administrator". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 26 January 2023.
  3. 1 2 3 The EastAfrican (28 April 2017). "Government Places Troubled Telco UTL Under Receivership". The EastAfrican. Nairobi, Kenya. Retrieved 7 January 2020.
  4. Henry Sekanjako (19 November 2022). "UTL Assets, Businesses Sold To New Telecom Company". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 19 April 2024.
  5. 1 2 Ruth Sebatindira (January 2020). "Ruth Sebatindira SC: Founding Partner at Ligomarc Advocates". LinkedIn.com. Retrieved 7 January 2020.
  6. Ligomarc Advocates (January 2020). "Ligomarc Advocates: Our Story - Our History". Kampala: Ligomarc Advocates. Retrieved 7 January 2020.
  7. 1 2 3 4 5 Farooq Gessa Mousal (2 January 2020). "Meet Ruth Sebatindira, UTL's new Administrator". Kampala: Techjaja.com. Retrieved 7 January 2020.
  8. Uganda Radio Network (2 January 2020). "Court appoints Ruth Sebatindira new UTL administrator". The Observer (Uganda). Kampala. Retrieved 7 January 2020.
  9. Moses Kyeyune (6 January 2020). "Bemanya hands over to new UTL administrator Ruth Sebatindira". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 8 January 2020.
  10. Reporter, Independent (2 January 2020). "Ruth Ssebatindira appointed UTL administrator". The Independent Uganda. Retrieved 26 January 2023.
  11. "Welcome message | Judicial Service Commission". www.jsc.go.ug. Retrieved 26 January 2023.