Rwenzururu movement
Rwenzururu movment kyali kibiina ekyalina eby'okulwanyisa ekyali kyagala okweyawula ku by'obufuzi bwa Uganda, nga kino kya mu bukiikaddyo bw'obumugwanjuba bw'eggwanga, mu ggwanga ly'Omukama w'e Tooro. Ekibinja kino kyalimu baddemu abalwanyi ab'amawanga ga Konjo ne Amba era nga kyali kikulemberwa Isaya Mukirania . [1] Yasasika mu 1982 oluvannyuma lw'enteeseganya ez'emirembe ne gavumenti ya Uganda okutuuka obulungi. [2]
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’emyaka mingi nga bafugibwa Obukama bw'eTooro, Abakonjo n'Amba baasaba gavumenti ya Bungereza eyali Efuga mu Uganda okubafunira disitulikiti eyaabwe mu myaka gya 1950, eyawukana ku Disitulikiti y’e Toro. Abakulu b’amatwale baagaana okusaba kwabwe, era oluvannyuma abalwanyi aba Konjo ne Amba ne batandika olutalo lw’abayeekera olutaali lw’amaanyi nnyo ku gavumenti mungeri eyali ey'okubaddamu.[3]
Mu myaka gya 1960, ekibiina kya Rwenzururu Freedom movement kyatandika okukyusa ekigendererwa kyakyo okuva ku kutondawo disitulikiti ey’enjawulo okudda ku kutondawo Obukama obwetongodde mu bujjuvu, [4] era nga 30 Ogwomukaaga mu 1962, ekibiina kyalangirira Obusinga bwa Rwenzururu obwetongodde nga Isaya Mukirania ye Musinga wa Rwenzururu, ng’ebula emyezi esatu Uganda okufuna ameefuga.[5] [6] Obutabanguko bwatuuka ku ntikko mu 1963 ne 1964, banamagye b'eggwanga lya Tooro bwe batta abo okuva mu bibinja by’Abakonjo ne Amba nga banoonya obuyinza ku biwonvu ebya wansi. Amagye ga Uganda gaayingira mu nsonga z’aba Rwenzururu abaali beeyawudde, ne gakola obulabe obw’amaanyi nekisanyaawo abaali beekutudde ku gavumenti era ne ganyigiriza entambula yaabwe okutuusa ku nkomerero y’emyaka gya 1970. [4] Ekimu ku bibinja ebyetaba mu kunyigiriza ekibiina kya Rwenzururu kyali kibinja kya magye ga Uganda ekisooka. [7]
Oluvannyuma lw’olutalo wakati wa Uganda ne Tanzania n’okugwa kw’obufuzi bwa Idi Amin mu 1979, abalwanyi b’e Rwenzururu baanyaga eby'okulwanyisa n’ebintu ebyalibirekedwaawo amagye ga Uganda agaali gaawanika, nebetereza ng'ekyali kitiisa ekyaddala mu kitundu ekyo. Wabula mu 1982, abaali badukanya obukulembezze bwa Pulezidenti Milton Obote baateesa okukaanya n'abakulembeze b'ekibiina kino, mwe bakiriziganya okwesonyiwa ekiruubirirwa ky'okwekutula ku gavumenti mungeri y'okuwaanyisiganya " okubeera nga basobola okubeera ne gavumenti yabwe ey'ekitundu nga yeesaliwo ng'era tetambulira ku gavumenti eyawakati", okulonda kw'abantu okuva mu mawanga g'Abakonjo ne Amba ku bifo bya gavumenti eby'eby'obufuzi, n'okuganyulwa mu by'enfuna ng'emmotoka ne okusomera obweereere oba okufuna basale nga zigabanyizibwa abakuliridde mu myaka nga bali mu kitundu. [8] Mu nteeseganya, gavumenti yayagala nnyo enteeseganya ez'obutereevu, kubanga baali balowooza nti okutabaganya kw’omuntu ow'okusatu kwali kwali kwakutabangula aba Rwenzururu kyebaali baagala. [4]
Amon Bazira, eyali omuwagizi omukulu ow’ekibiina ky’okugya Idi Amin mu buyinza, yali musaale mu nteeseganya wakati w’ekibiina kya Rwenzururu ne gavumenti ya Obote. Enzikiriza ye yali nti ekibiina kino okusinga kyali kibiina kya ky'abantu ba wansi era nga kisobola okusanyusibwa nga kiweebwa ebirabo ebirimu eby'amaguzi. Bazira oluvannyuma yatuukirira Pulezidenti Mobutu Sese Seko eyali ow'e Zaire ne Pulezidenti Daniel arap Moi eyali ow'e Kenya, nga bombi balina ensonga ezibaviirako obutayagala gavumenti ya Uganda empya ekulemberwa Yoweri Museveni, n’asaba obuwagizi bw’obuyeekera obupya obukulemberwa Abakonjo wansi w’ekibiina ekiyitibwa National Army for the Liberation of Uganda (NALU).
Mu 1993, Bazira yatemulwa mu Maka ga Pulezidenti w'e Kenya e Nakuru, nga kiyinzika okuba nga bambega ba Uganda beebamulumba. Mu 1995, ba mbega ba Sudan bbaali basaale mu kutandikawo kw'ekibiina ky'abayeekera ekimannyikiddwa nga NALU n'eggye lya Uganda Muslim Liberation Army n'ekibiina ekiwagira okubeera bw'Obwakabaka bwa Buganda ekimannyikiddwa nga Allied Democratic Movement okusobola okuwa ebibiina bino ebyali bitandikiddwaawo okulinaana enkomerero y'olutalo okubeera nga birina semateeka wabwe ow'ekitundu, ne batondawo amagye ga Allied Democratic Forces.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Ensozi za Rwenzori
- Isaya Mukirania
- Tom Stacey
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Doornbos, Martin (2017). The Rwenzururu Movement in Uganda: Struggling for Recognition (in Lungereza). Routledge. ISBN 9781351708982. Retrieved 15 May 2018.
- ↑ Prunier, 82.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- 1 2 3 Rothchild, Donald S. (1997). Managing ethnic conflict in Africa: pressures and incentives for cooperation. Brookings Institution Press. p. 90. ISBN 978-0-8157-7593-5. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Rothchild" defined multiple times with different content - ↑ "Rwenzururu Kingdom wants Isaya Mukirania declare hero". Ugpulse (Ultimate Media). 5 September 2011.
- ↑ "Bakonzo to protect all â€" LC5". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-03-23.
- ↑ Risdel Kasasira (27 February 2017). "Life as an Amin army commander". Daily Monitor. Archived from the original on 11 May 2019. Retrieved 11 May 2019.
- ↑ Forrest, Joshua (2004). Subnationalism in Africa: ethnicity, alliances, and politics. Lynne Rienner Publishers. ISBN 978-1-58826-227-1. Retrieved 6 June 2009.
Ebiwandiiko ebirabiddwaako
[kyusa | kolera mu edit source]- Prunier, Gérard (2009). Africa's World War : Congo, the Rwandan Genocide, and the Making of a Continental Catastrophe: Congo, the Rwandan Genocide, and the Making of a Continental Catastrophe. Oxford: Oxford University Press. ISBN 978-0-19-970583-2.