Sekamu

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku SEKAMU)

SEKAMU[kyusa | edit source]

Olwali olwo nga nkulabira abaami babiri nga buli omu alina mutabani we. Asooka yali ayitibwa Taata John era nga mutabani we ye John. Omulala nga ye Taata Peter era nga mutabani we ye Peter. Buli omu ku baami bano yali yakyawa mutabani we nga agamba nti yayitirira obusirusiru. Lumu Taata John aba atambulako akawungeezi nga ali ne mutabani we John, asisinkana Taata Peter naye nga ali ne mutabani we Peter ne batandika emboozi.

Mu kunyumya kwabwe, Taata John ategeeza Taata Peter nti Katonda yakola ensobi n'amuwa omwana omu yekka John ate eby'embi n'amumuwa nga mwana musirusiru, tategeera.

Nice place to relux

Taata Peter olwawulira ekyo naye n'ategeeza munne nti ggwe Taata John owuwo alabika ategeeramu. Owange ku nsi teri amusinga busiru. Kino Taata John yakiwakanya era n'ategeeza nti ku nsi talabangayo mwana musiru nga John.

Mu kuwakana okungi, baasalawo bagezese abaana bombi okulabako ani asinga obusiru. Taata John ye yasooka okuyita mutabani we:

Taata John: "John?" John: "Wangi taata" Taata John: "Genda ku dduuka ongulireyo omugaati" John: "Kale taata". John adduka n'agenda. Taata John: "Olaba obusiru obumuli, adduse buddusi tansabye na ssente zigenda kugula mugaati"

Taata Peter addako okugezesa mutabani we era amuyita: Taata Peter: "Peter?" Peter: "Wangi taata" Taata John: "Genda okebere eka olabe oba gyendi" John: "Kale taata". Peter adduka n'agenda n'aleka kitaawe nga enseko zimutta ne munywanyi we Taata Peter.