SIKO SEERO

SIKO SEERO (SICKLE CELL). [[SIKO SEERO]] (Sickle cell) bulwadde bwa nsikirano omuntu bwafuna mu kutataaganyizibwa kw’omusaayi nga obutoffaali bw’omusaayi obumyufu buzaala ekirungo ekimyufu ekisusse (abnormal haemoglobin) Obutoffali omumyufu bufuula omusaayi okuba omumyufu era butambuza omukka gwetussa mu mubiri. Bulina ekirungo ekiyitibwa ‘haemoglobin’ ekibuwa langi emyufu era n’okutambuza omukka ogussibwa. Bwetooloovu, bunaanuuka, era bulina obwangu, ekibusobozesa okuyita mu misuwa ne mu busuwa obutono. Wabula, mu bantu abalina obulwadde bwa sickle cell, obutoffaali bwabwe omumyufu bwefaananyirizaako ng’ekiwabyo. Agamba nti obutoffaali bwabwe obumyufu bwekumiira ekitabusobozesa kuyita mu misuwa ne mu busuwa obutono. Buwunzika buzibikidde emisuwa, ekitataaganya entambula y’omusaayi, ne kiremesa omusaayi n’omukka gw’obulamu okubuna ebitundu by’omubiri. Okuzibikira kw’emisuwa n’okumenyeka kw’obutoffaali obumyufu obwekiwabyo bye bivaako obubonero n’obuvune oba okulumizibwa kw’obulwadde buno obwa ‘Sickle cell’. Omuntu afuna atya obulwadde bwa Sickle cell? Obulwadde bwa (Sickle cell) bwa nsikirano, buleetebwa singa omuntu asikira obutoffaali obulimu obulwadde okuva mu bazadde bombi mu kaseera k’okufuna olubuto. Singa abazadde baba n’obulwadde obw’omusaayi basobola okuzaala omwana n’obulwadde bwa sickle cell. Omukisa gw’abazadde bano okuzaala omwana abulina guli 25%. Ekyennaku abaana ebitundu 80% bafa mu mwaka ogusooka olw’okulwawo okukeberebwa era ne bakwatibwa bubi. Omuntu alina obulwadde bwa Sickle cell yandikoze bino okuwangaala: Dr. Ndugwa ne Dr. Nanyeenya abe Rubaga bagamba nti okujjanjaba n’okutangira obulwadde bwa sickle cell bigenderera okutangira obulumi mu mubiri, obulwadde bwa omusujja gwa malaria n’okutta obuwuka obuba bulumbye omubiri. Endabirira y’omulwadde alina obuwuka bwa Sickle cell Muwe eddagala ly’omusaayi buli lunaku okwewala okuggwebwamu omusaayi. Alina okunywa wakati wa lita 3 – 5 olunaku okwewala okuggwebwamu amazzi. Ffaayo ku ndya y’omulwadde ng’omuwa emmere erimu ebirungo ebiriisa omubiri, ng’era esingamu ebirungo ebizimba omubiri (proteins) Alina okukuumwa nga muyonjo okwewala obuwuka obusirikitu obulumba omubiri. Genderera embuguma y’omubiri gwe, omusujja kayinza okuba akabonero k’omusujja oba obuwuka mu mubiri. Genderera enkula ye. Mutangire omusujja gwa malaria ogusobola omuviirako okuggwebwamu omusaayi. Alina okukeberebwa enkyukakyuka mu mbeera buli bbanga.