Jump to content

SK Mbuga

Bisangiddwa ku Wikipedia

    Sulaiman Mbuga (Yazaalibwa 14 Ogw'okubiri 1983) amanyiddwa enyo nga SK Mbuga Munnayuganda omusuubuzi, nannyini mukutu gwa byampuliziganya era muyambi w'abantu . Y'akulira Atroks Security Services, [1] [2] kampuni y’eby'okwerinda mu Uganda emanyiddwa enyo olw’okugaba empeereza y’eby'okwerinda ey’omutindo. Ono y'omu ku Bannayuganda abagagga mu by'enfuna [3] [4]

    Mbuga yazaalibwa mu 1983 e Masaka, mu bitundu by'e Kimaanya mu Uganda, eri abagenzi Yasin Mbabali ne Nakazzi Nuruyat. Pulayimale yagitandikira Masaka, oluvannyuma neyeegatta ku ssomero lya Bilal Islamic Primary school e Bwaise, Kampala . [5] Mbuga oluvannyuma yeegatta ku ssomero lya Masaka Sekendule okufuna ebbqaluwa ye ey'obuyigirize. Mbuga yava mu ssomero n’atandika okunoonya sente engeri gyeyalina batoobe ab'okulabiria olw’ensimbi entono ezaali ewaka. [6]

    Sulaiman Mbuga yatandikanga makanika wa leediyo ne ttivvi ku mutendera omutono e Kyengera mu Disitulikiti y’e Wakiso, oluvannyuma obukugu yabukyusa n’afuuka omuvuunuzi wa vidiyo mu tawuni eye Kyengera nemu Kisenyi mu Kampala. Mbuga aliyagala nyo okubeera omusuubuzi omututumufu era n'okusuubula ebizimbe n'ettaka byeyayingira ng'avudde muby'okuvuunula vidiyo. Mu 2002, yagenda mu South Afirika gye yafunira obugagga n’abusiga mu nsi ye Uganda. [7]mu 2020, Mbuga yatandikawo Select 4 Fun, kampuni y'eby'amawulire omwali ttivi ng'ekola nga STV Uganda. [8] gyeyakola n'ekigendererwa eky'okufuula eby'okusanyusa by'omu Uganda ebinene era nga birungi.[9] [10]

    Omugabi w'obuyambi

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Mu mwaka gwa 2021, Sulaiman Mbuga yawaayo ttani z’emmere emitwalo ena eri Bannayuganda mu kiseera ky’omuggalo gwa corona . ] ​ Mu 2023, yeegatta ku kampeyini y'obwannakyewa eya Linda Ainembabazi eyali alwanyisa kookolo . Sulaiman Mbuga yazimba eddwaaliro ku ntandikwa ya 2015 nga lisangibwa e Kansanga, mu kitundu kya Kiwempe mu masekkati ga Uganda. Yagenderera okusitula ebyobulamu mu Kampala n’ebitundu ebirala ebiriraanyewo. Mu 2017, Mbuga yatandikawo ekitongole ky’obwannakyewa ekiyitibwa Mbuga cares foundation ekyawa obuyambi eri abaana b’oku nguudo, bamaama abali obwannamunigina n’abakadde.

    Sulaiman Mbuga tmuzadde w'abaana abalenzi n'abawala mu makaage e Buziga mu Uganda. Amanyiddwa olw’okubeera omwejalabi ne mubulamu obw'ebbeeyi. [11] [12] [13]

    1. https://en.wikipedia.org/wiki/Philanthropist_(award)
    2. https://en.wikipedia.org/wiki/Philanthropist_(award)
    3. https://en.wikipedia.org/wiki/Philanthropist_(award)
    4. https://en.wikipedia.org/wiki/Philanthropist_(award)
    5. https://en.wikipedia.org/wiki/Bwaise
    6. https://en.wikipedia.org/wiki/Bwaise
    7. https://en.wikipedia.org/wiki/Bwaise
    8. https://en.wikipedia.org/wiki/Bwaise
    9. https://en.wikipedia.org/wiki/Bwaise
    10. https://en.wikipedia.org/wiki/Bwaise
    11. {{cite web}}: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/Kansanga
    12. https://en.wikipedia.org/wiki/Kansanga
    13. https://en.wikipedia.org/wiki/Kansanga