Sabiiti Muzeyi
Major General Steven Sabiiti Muzeyi (yazaalibwa 1975), mukungu mu magye era mukungu ne mu poliisi Munnayuganda, eyaweereza ng'omumyuka w'omukulu mu kunoonyereza mu poliisi mu Uganda Police Force, eddaala eryokubiri okuva waggulu mu kitundu ekyo ekya gavumenti ya Uganda, okuva nga 4 Ogwokusatu 2018 okutuuka nga 16 Ogwekkumineebiri 2020. [1]
Yadda mu bigere bya Martin Okoth Ochola, eyakuzibwa n’afuulibwa Omukulu mu Kunoonyereza mu Police. Amangu ddala nga tannasindikibwa ku kifo ekyo, Sabiiti, ku ddaala lya brigadier, yaliko Omuduumizi wa Poliisi y’amagye mu ggye ly'eggwanga erya Uganda People’s Defence Force (UPDF). Sabiiti yasizibwa Major General Paul Lokech mu kifo ky'Omumyuka w'akulira eby'okunoonyereza. [1]
Ku Lwokutaano nga 5 Ogwokubiri 2021, Major General Sabiiti Muzeyi yalondebwa ku bwa General Manager Luwero Industries, kkampuni ya National Enterprise Corporation (NEC). [2]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y’eMbarara nga 1 Ogwekkumineebiri 1975. Taata wa Sabiiti, Zekeriah Muzeyi Magyenyi yali mufumbo n’omu ku ba maama abato aba Museveni. Omujaasi mu lutalo lwa Uganda mu olw'omunsiko eyawummula Magyenyi yafa mu Gwamukaaga 2007. [3] Maama wa Sabiiti ye Javanis Magyenyi. Sabiiti mu buto yasomera ku Ntare School, oluvannyuma Mbarara High School nga tannayingizibwa mu Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene. [4]
E Makerere yasoma biochemistry, n'atikkirwa diguli era yayitira mu daala erisooka mu Diguli mu Sayansi. Mu 1997, yeegatta ku ggye lya UPDF, n’awandiikibwa mu kibiina ekyali kiyitibwa Presidential Protection Unit (PPU) mu kiseera ekyo. Okuva olwo PPU yakyusibwa erinnya n’etuumibwa Special Forces Command (SFC). Sabiiti yeetaba mu kifo gyebatendekebwa mu ttendekero lya Kasenyi Training Wing, e Entebbe . Abayizi 117 be baatandika omusomo gw’okutendekebwa okusookerwako. 25 ku bo baagwa era Kapiteeni omuggya Sabiiti Muzeyi n’atikkirwa nga yaakulembedde banne e 92. [5]
Oluvannyuma yasomera mu ttendekero lya Uganda Senior Command and Staff College, e Jinja, mu Ttundutundu ly'oBuvanjuba bwa Uganda . Ku ddaala lya Kkano, yawangula ekifo okugenda okusoma ku y'abaduumizi abakulu mu ttendekero ly'amagye ga Amerika erya Command and General Staff College e Fort Leavenworth, mu Kansas . Gavumenti ya Amerika bwe yamumma ekifo, yasindikibwa mu ttendekero ly’amagye mu Russia . [5]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Sabiiti yali mmemba w’ekitongole ky’ebyokwerinda ekya PPU ekyawa obukuumi bwa VIP mu kukyala kwa Pulezidenti wa Amerika Bill Clinton mu Uganda mu 1998. Oluvannyuma yeewandiisa mu ssomero erimu era n’asomesangayo ekitundu ku magezi g’ab’omu maka ge, nga tannadda mu PPU. [5]
Yagenda alinnya mu madaala, era n'obuvunaanyizibwa bwe ne bweyongera. PPU bwe yatuumibwa erinnya lya Presidential Guard Brigade (PGB), nga likulemberwa mutabani w'omukulembeze w'eggwanga Muhoozi Kainerugaba, Sabiiti Muzeyi ye yalondebwa okuba omuduumizi owookubiri. Sabiiti, ku ddaala lya lieutenant colonel, yaduumira ekibinja kino, Muhoozi bwe yali e South Africa, ng’agenda mu lusoma lw’amagye. [5]
Muhoozi bwe yakuzibwa n’afuulibwa brigadier, Sabiiti yasitulwa n’afuulibwa Kkano . Yafuuka brigadier era omuduumizi wa Poliisi y’amagye ga Uganda, oluvannyuma lw’okudda okuva mu lusoma lw’amagye mu Russia. Akawungeezi ka Ssande nga 4 Ogwokusatu 2018, yalondebwa okuba omumyuka w’omuduumizi wa poliisi,nga amyuka Martin Okoth Ochola . [5]
Mu Gwokubiri 2019, ng’omu ku kaweefube w’okukuza abantu mu ggye lya UPDF, abasajja n’abakazi abasoba mu 2,000, yakuzibwa okuva ku kya brigadier n’afuuka major general. [6]
Famire ye
[kyusa | kolera mu edit source]Steven Sabiiti Muzeyi mufumbo ne Esther Sabiiti. Balina abaana babiri. [7]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Brigadier Sabiiti Muzeyi yalondeddwa okuduumira poliisi y’amagye Nga 4 April 2017.
- 1 2 http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-fires-Kayihura--Tumukunde/688334-4328396-8ig9p9z/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/maj-gen-sabiiti-muzeyi-appointed-new-luwero-industries-boss-3281092?view=htmlamp
- ↑ http://nilepost.co.ug/2018/03/05/brig-sabiiti-muzeyi-a-quiet-officer-who-considers-museveni-as-his-father/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-03-07. Retrieved 2025-07-31.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 4 5 http://www.monitor.co.ug/News/National/Muzeyi-Gifted-student-firm-commander/688334-4330656-35fl85z/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-promotes-Muhoozi-Kainerugaba-Lieutenant-General/688334-4972994-mqpx8tz/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-14. Retrieved 2025-07-31.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)