Saidi Mayanja
Saidi Mayanja Munnayugandao muzannyi w'omupiira mu omukugu era azannyira mu kifo kya makkati mu KCCA FC mu liigi ya Uganda . [1] [2]
Obuto n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Saidi Mayanja yazaalibwa nga 12 Ogwomunaana, 2003, mu Uganda.olugendo lw’omupiira yalutandikira ku myaka emito. Yawagala obukugu bwe mu ttiimu y'abato eya Edgar’s FC ne Mydel Academy, gye yalaga obusobozi bwe era n’asikiriza kiraabu ez’omutindo ogw’awaggulu. Yasomera mu Kibuli Secondary School okuva mu 2012 okutuuka mu 2015 okumala siniya eyookuna n’oluvannyuma yeegatta ku Kawempe Muslim Secondary School okumala siniya eyoomukaaga mu 2016 okutuuka mu 2017. Ng’oggyeeko omulimu gw’omupiira, Mayanja asoma diguli esooka eya bachelor’s mu Industrial Art and Design mu Kampala University, mu kiseera kino ali mu mwaka gwe ogw’okusatu. [3] [4] [5]
Omulimu gwe ogwa kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu KCCA FC
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomusanvu gwa 2022, ku myaka 18, Saidi Mayanja yakola endagaano ya myaka etaano ne KCCA FC, okuva mu 2022 okutuuka mu 2027. Kye yayongera ku ttiimu eno kyaleeta okuggumira kw'amakkati ga tiimu ya KCCA, gy’avuganya n’abazannyi abamaze ebbanga nga Moses Waiswa, Faisal Wabyoona, Ashraf Mugume, ne Emmanuel Wasswa. Obusobozi bwa Mayanja obw’ekikugu, obukkakkamu, n’okutegeera obukodyo bimufudde eky’obugagga eky’omuwendo eri kiraabu eno. [6] [7] [8]
Sitayiro ye ey'okuzannya
[kyusa | kolera mu edit source]Engeri Mayanja gy’azannyamu emanyiddwa olw’okuzannya wano na wali. Akyuka bulungi wakati w’emirimu gy’okuwuwuttanya omupiira n’ogwobuzibizi, ng’alaga okufuga omupiira obulungi, okuyisa obulungi, n’obukugu obw’amaanyi mu kuzibira. [9] [10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.kccafc.co.ug/squad-numbers-2022-23-licensed-players/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/kcca-fc-defeat-ura-to-secure-first-win-of-new-NV_195803
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/mayanja-says-kccas-overtures-were-hard-to-res-NV_138305
- ↑ https://swiftsportsug.com/2024/09/14/mayanja-inspires-kcca-to-maximum-points-in-league-opener-against-ura/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/mugumes-last-minute-heroics-secure-draw-for-k-NV_199346
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/kcca-fc-show-kitara-fc-who-is-boss-NV_196688
- ↑ https://thetouchlinesports.com/kcca-fc-announce-third-signing-of-the-window/
- ↑ https://chimpreports.com/kcca-unveils-saidi-mayanja/
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/saidi-mayanja-too-good-for-busoga-as-he-inspires-kcca-to-dominant-victory-2024032906512736721
- ↑ https://kawowo.com/2024/09/13/kcca-1-0-ura-mayanja-on-target-as-kasasiro-lads-win-2024-25-season-opener/