Salufa (Sulphur)

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Akaziba ka Salufa era oyinza okukayita Atomu ya Salufa (Sulphur atom)
Obuziba bwa Salufa buzito okusinga obwa sirikooni naye buwewufu okusinga obwa kkalwe. Buli kaziba ka salufa kalina obukontanyo 16 ne nampawengwa 16. Okufaanana sirikooni ne kkalwe, obuziba bwa Salufa bwonna bukolebwa munda mwa njuba ezikaddiwa era nga zikozesezza amafuta gaazo naye nga tezinnafuuka semufu (supernovas).
Enjuba bw’efuuka semufu, efulunya Salufa era omu ku salufa ono n’afuuka kitundu ku nkulungo nga Ensi. Era tumanyi nti waliwo salufa mungi nnyo ku gumu ku myezi gya kibuuka (Jupitor).
Ku nsi, salufa atera okufaanana olwazi olugonvu olwa kyenvu. Waliwo salufa mungi mu njuba z’amagi era salufa ono kye kimu ku bifuula enjuba y’eggi okuba eya kyenvu era bw’owunya ku njuba y’eggi effumbe, ewunya nga molekyo ya“salufadi ne kitondekamazzi” nga (hydron sulfide), eno nga molekyo eya atomu za mazzi ne salufa.
Salufa y’aleetera amagi amavundu okuwunya obubi ennyo. Lwaki enjuba z’amagi zirina salufa mungi nnyo kiva ku kuba nti ekitundu ku “obutaffaali bw’obulamu” (living cells) bwonna, obw’ebimera n’ensolo bukolebwa salufa, ekitegeeza nti eggi bwe liba likula okufuuka akakoko akato, ako kaba kalina okukozesa salufa oyo okukula. Salufa asimibwa mu nsozi z’ebipuluko (volcanic mountains).