Jump to content

Sam Kutesa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sam Kahamba Kutesa (yazaalibwa 1 February 1949) munnabyabufuzi, musuubuzi era munnamateeka mu Uganda [1] eyenyigira mu misango gy’obuli bw’enguzi egiwerako. Ku lw'okufumbirwa kwa muwala we Charlotte Kutesa Muhoozi [2] eri Muhoozi yafuuka ekitundu ku kibiina eky'omunda ekya pulezidenti Museveni .

Kutesa yali Minisita w’ensonga z’ebweru mu kabineti ya Uganda, ekifo kye yalimu okuva nga 13 January 2005 era n’akiweelelezaamu ngayita mu nkyukakyuka za kabineti ssatu okutuusa mu May 2021. [3] [4] [5]

Era yalondebwa ng'omubaka wa Palamenti (MP) mu ssaza ly'e Mawogola mu Disitulikiti y'e Sembabule . [6] Yali Pulezidenti w’olukiiko lw’amawanga amagatte mu lutuula lwalwo olw’omulundi ogwa 69 mu 2014–2015. [7]

Obulamu obuto n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Kutesa yasomera mu somero ly'eMbarara Siniya . Alina diguli mu by'amateeka okuva mu yunivasite y'e Makerere, [8] emabega ettendekero lino bwe lyaari ekitundutundu ku yunivasite y'omubukiikakono bwa Afrika . Alina ne diguli eyookubiri mu by'amateeka okuva mu kitongole kya Law Development Centre mu Kampala. [6]

Kutesa yakola amateeka g’obwannannyini wakati wa 1973 ne 2001. Yaweereza ng’omubaka wa Palamenti (MP) w'e kitundu ky'omubukiikakono w' eMbarara okuva mu1980 okutuuka mu 1985 era nga Ssaabawolereza wa Gavumenti okuva mu 1985 okutuuka mu 1986. Wakati wa 1994 ne 1995, yaweereza ng’omubaka mu lukiiko lwa Ssemateeka olwawandiika ebbago lya Ssemateeka wa Uganda. Yalondebwa nga omubaka w'essaza lye Mawogola mu 2001 n'addamu okulondebwa mu 2006. Yali Minisita w'eggwanga ow'ebyokusiga ensimbi okuva mu 2001 okutuuka mu 2005. Pulezidenti Yoweri Museveni yalonda Sam Kutesa ku bwa Minisita w'ensonga z'ebweru mu 2005, [9] oluvannyuma lw'okufa kwa James Wapakhabulo. [6]

Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [10]

Obuli bw’enguzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2011, Kutesa yavunaanibwa ogw'okufuna enguzi mu kunoonyereza kwa palamenti okuva mu kkampuni y’amafuta eyaTullow Oil eya Ireland. [11] Wadde ababaka ba Palamenti baamusaba alekulire wamu n’abalala abaali bavunaanibwa, munnamateeka, Severino Twinobusingye, yasobola okuwawaabira Ssaabawolereza wa Gavumenti n’ayimiriza emisango era naziyiza emilanga jy'okulekulira kwe

. [11] Okugobelela okwekengera okwaava ku musango gwa Tullow Oil mu kkooti ne Heritage Oil n'omusolo gwayo ku by'obugagga bya Uganda, akakiiko ka paalamenti ak'ekiseera kaayitibwa okwongera okunoonyereza ku byaali bigambibwa nti waaliwo obuli bw'enguzi. [12][13] [14]

Nga 5 December 2018 abalamuzi ba federo mu kibuga New York baasingisa Chi Ping Patrick Ho omusango gw’okusasula enguzi eri abakungu ba Uganda ab’oku ntikko Sam Kutesa ne Yoweri Museveni. Mu May 2016, Ho n’abakulira CEFC China baagenda mu Kampala. Bwe yali nga tannasimbula, Ho yakakasa nti ddoola 500,000 zaasindikibwa ku akawunti Kutesa gye yali yamuwa. Ho era yawa mukama we Ssentebe wa CEFC China amagezi okuwa Pulezidenti Museveni ddoola 500,000 mu kaashi, nga kigambibwa nti zaali za kampeyini, wadde Museveni yali amaze okulondebwa omulundi omulala. Ho yagenderera okukozesa okusasula kuno ng’enguzi okusikiriza Kutesa ne Museveni okukozesa obuyinza bwabwe obutongole okugonza bizinensi eri CEFC China. [15]

Olukiiko lw’amawanga amagatte

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw’okuba Afrika yali egenda kutegeka olukiiko lw’amawanga amagatte olw’omulundi ogwa nkaaga mu mwenda olwa pulezidenti (UNGA), olukiiko olufuzi olw’omukago gwa Afrika lwamulonda awatali kuwakanyizibwa okubeera kandideeti waabwe oluvannyuma lw'okulekulira kwa minisita wa Cameroon ow’ensonga z’ebweru Pierre Moukoko Mbonjo . Okwesimbawo kwe kwakkirizibwa awatali kuwakanyizibwa mu lukiiko lwa baminisita olw’omulundi ogwa 17 olw’ekibiina ekitali mu mukago, olwatuula mu kibuga kya Algiers, Algeria mu May 2013. [16] Ekibiina kya UNGA ky'amulonda mu butongole nga 11 June 2014. [9]

Olw’okuba Kutesa yawolereza etteeka eli wakanya ebisiyaga erya Uganda Anti-Homosexuality Act, 2014, ebibiina ebikuuma eddembe ly’obuntu byawulira ng’ekifo kye eky’obwapulezidenti w’ekibiina ky’amawanga amagatte ekyali tekiwagira mpisa ezaali mu kiwandiiko ky'ekibiina ky'amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu ekya Universal Declaration of Human Rights . [17] Ekiwandiiko kyasaba minisita w' Amerika ow’ensonga z’ebweru John Kerry okusazaamu viza ya Kutesa era alemelerwe okutwala ekifo kya pulezidenti wa UNGA. [18] Okusaba kuno – okwakung’aanya emikono egisukka mu 15,000 ku mukutu gwa Change.org – kwawandiikibwa Munnayuganda Milton Allimadi, omuwandiisi wa Black Star News . Yakulembeza ku buwagizi bwa Kutesa eri ebbago ly’etteeka lya Uganda erirwanyisa ebisiyaga n’ebigambibwa nti yali yalya enguzi. Wadde nga waliwo okwekalakaasa n’okusaba, Kutesa yafuuka pulezidenti. [9]

Enkaayana endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga April 27th 2025, emikutu gya yintaneeti gyajjula ebifaananyi by’ekkanisa ennungi eyazimbibwa Kutesa mu disitulikiti y'e Sembabule. Yali yazimbibwa obuwumbi 3 obwa sente z'a Uganda (obusoba mu 820,000 USD ez'Amerika). Ku mukolo gw’okuggulawo ekkanisa eno, Kutesa yategeeza abantu nti ekkanisa yagizimba oluvannyuma lw’okuwona kookolo w’emimiro, oluvanyuma lw'emyezi 6 gye yamala nga ngafuna obujjanjabi e Girimaani mu 2022. Bannayuganda bangi naddala ku mikutu gya yintaneeti nga Twitter ne Facebook, baavumirira akabonero kano nga akaali ak'obusirusiru, nga bakikkaatiriza nti yandizimbyeemu eddwaaliro mu kifo ky’ekkanisa, okusinziira nti yalina kusooka kugenda wabweeru we'ggwanga okufuna obujanjabi kubanga empeereza y'ebyobulamu mu ggwanga yali mbi, era yalina okusaasira Bannayuganda abaavu abatasobola kulinnya nnyonyi okugenda e Germany singa balwaala. [19] [20]

Obulamu bw’omuntu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Sam Kutesa Yali Yafumbirwa Jennifer Nankunda Kutesa eyafa mu 2002 olw'obulwadde obw'ekuusa ku kookolo, [21] [22] [23] era yali kizibwe wa Janet Museveni . [24] Bombi awamu baazaala abaana 6 okuli;


Oluvannyuma mu 2008, Yawasa Edith Gasana Kutesa nga August 17, 2008. [31] [32] [33]

Abamu ku bazzukulu be nabo kuliko;

  • Abazzukulu okuva mu Charlotte Nankunda Kutesa ne Muhoozi Kainerugaba kuliko; Kenshuro Kainerugaba, [34] Namisi Rodney Kefas, [35] Ruhamya Kainerugaba, [36] Ihunde Kainerugaba. [34]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.un.org/africarenewal/africaga/he-mr-sam-kahamba-kutesa
  2. https://www.independent.co.ug/museveni-govts-family-tree/
  3. https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
  4. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  5. https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  6. 1 2 3 http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=t&n=t&details=t&j=133&const=Mawogola++County&dist_id=11&distname=Ssembabule
  7. https://www.un.org/pga/69/about-the-president/
  8. https://flashugnews.com/sam-kahamba-kutesa-biography-education-family/
  9. 1 2 3 https://www.bbc.com/news/world-us-canada-27789108
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-15. Retrieved 2025-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2024-10-07. Retrieved 2025-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=29073
  13. http://allafrica.com/stories/201303180239.html
  14. https://web.archive.org/web/20140801100446/http://independent.co.ug/the-last-word/the-last-word/7607-tullows-alleged-bribe-to-museveni
  15. https://www.justice.gov/opa/pr/former-head-organization-backed-chinese-energy-conglomerate-convicted-international-bribery
  16. https://archive.today/20150227025045/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=656153&CatID=435
  17. https://www.theguardian.com/world/2014/jun/01/uganda-anti-gay-minister-human-rights-kutesa
  18. http://www.huffingtonpost.com/milton-allimadi/why-ugandas-sam-kutesa-mu_b_5240024.html
  19. https://ugandatimes.ug/2025/04/27/museveni-commissions-church-built-by-sam-kutesa-after-cancer-recovery/
  20. "Archive copy". Archived from the original on 2025-05-14. Retrieved 2025-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  21. http://www.newvision.co.ug/news/1085960/kuteesa-dead
  22. http://www.newvision.co.ug/news/1061682/mps-mourn-kutesa
  23. https://www.independent.co.ug/kutesa-in-paradise/
  24. https://www.independent.co.ug/kutesas-dodgy-deals/3/
  25. https://chimpreports.com/minister-kutesas-son-weds-gen-arondas-niece/
  26. https://www.mywedding.co.ug/real-stories/201909/minister-kutesas-son-weds-gen-arondas-niece-in-outdoor-wedding.html
  27. "Archive copy". Archived from the original on 2025-06-30. Retrieved 2025-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  28. https://kenyalogue.com/all-about-charlotte-nankunda-kutesa-muhoozi-kainerugabas-wife/
  29. https://www.newvision.co.ug/category/entertainment/my-wife-is-the-most-beautiful-woman-on-earth-NV_124545
  30. https://chimpreports.com/photos-pomp-as-muhoozi-mugume-sabiiti-are-decorated/maj-gen-muhoozi-and-the-wife-arrive-for-the-function/
  31. http://www.newvision.co.ug/news/1183114/kuteesa-weds-official
  32. https://www.google.com/search?q=sam+kutesa+marries+edith&hl=en-GB
  33. https://www.congoindependant.com/how-kutesa-wife-edith-solicited-500000-bribe/
  34. 1 2 https://ultimatepost.dantty.com/post/2037
  35. https://mabumbe.com/people/muhoozi-kainerugaba-age-net-worth-and-career-highlights/
  36. "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-04. Retrieved 2025-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:S-off Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-inc Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-break Template:S-intgov Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end