Samite
Samite lye linnya lya siteegi ery'omuyimbi Omufirika Samite Mulondo . Yazaalibwa mu Uganda, Samite kati abeera Tully, New York . Mukommonsi w'amulere (flute) ne kalimba, ekika ky'ennanga ekizanyibwa n'engalo ensajja . Mu kiseera kino Samite mufumbo eri Sandra Mulondo nga musomesa mu Tully Central School District e Tully mu New York.
Samite ayagala nnyo okugatta ennyimba ze n'enfumo za Uganda saako n’okulaga obulamu bwe yali ayiseemu mu Uganda.
Samite yakulira mu maka magagga mu Uganda naye ate nga akyagabana empulira n'okufaayo eri Bnnayuganda bonna ng'ayita mu nnyimba ze. Omuziki gwa Samite gwagalwa nnyo mu Uganda mu gavumenti n’abantu babulijjo. Ng'ayita mu nnyimbaze, Samite tasuubira kukoma ku Bannayuganda bokka, wabula n'okwogera n’abantu okuva mu mawanga ag'enjawulo okubamanyisa obuwangwa bwa Uganda.
Samite era y’omu ku batandikawo ekibiina ekitali kya magoba ekya Musicians for World Harmony, ekyanjula emiziki mu bamulekwa mu Afrika. Samite ye yatandikawo ekitongole ekigaba obuyambi ne mukyala we omugenzi Joan. Samite era agabana n’okusomesa ku byeyayitamu mu Uganda n’okubeera abundabunda olw'ebyobufuzi.
Olutambi lwe olw’omusanvu, Embalasasa, lwafulumizibwa mu 2005 aba Triloka Records.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Official website
- [Template:AllMusic Samite on AllMusic.com]
- Biography and discography at World Music Central
Lua error: Invalid configuration file.