Jump to content

Sammy Ssebadduka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sammy Raynald Ssebaduka (yazaalibwa 30 Ogwekkumineebiri 2002). [1] Munnayuganda omuzannyi wa mupiira enzaalwa y'e Canada - era azannyira Kampala Capital City Authority FC mu liigi ya Uganda Premier League nga azannya kifo kya muwuttanyi . [2] [3] [4]

Obulamu bwe obw'obuto

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssebaduka yazaalibwa Godfrey Sembeguya ne Solome Nanvule, nga bano bafumbo. [5] Olugendo lwe olw’omupiira yalutandika ng’akyali muto ng’ayita mu matendekero g’omupiira ag’enjawulo nga SC Toronto (2009-2013), Benfica Academy mu Portugal (2014), Power Soccer Academy (2014-2017), Toronto Sporting Football Club Academy (2019), Gil Vicente Academy Toronto (2019-2020), North York Academy 2021, Police FC (2021-2022), York University men's Soccer team (2002), Vaughn League 1 men's soccer team (2023), Masters Futbol League 2 team (2024) era mu kiseera kino azannyira mu Kampala Capital City Authority FC . [6] [7]

Mu Poliisi FC

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwolubereberye gwa 2022, Ssebaduka yeegatta ku Poliisi FC n’azannya omupiira gwe ogusooka nga 8 Ogwokuna 2022, mu kisaawe kya Phillip Omondi Onduparaka FC bwe yabakubba ggoolo 4-1. [3] Yazannya omupiira gwe ogwasembayo nga 21 Ogwokutaano 2022 mu kisaawe kya St. Mary's Stadium ne Vipers SC, era ne babakuba 5-0. [8] [9]

Mu Gwomwenda gwa 2024, Ssebaduka yakola endagaano ne Kampala Capital City Authority FC nga ndagaano ya myaka esatu. [10] Yasooka kuzannya nga 20 Ogwomwenda 2024, mu kisaawe kya Lugazi FC Stadium mu ddakiika ya 76 ng'adda mu bigere bya Shafik Kwikiriza Nana era omupiira ne guggwa kyenkanyi ekya ggoolo 1-1. [4] [11] [12]

Ku Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssebaduka azze asunsulwa enfunda eziwera ku ttiimu ya Uganda U20 (Hippos). [5] [13] [14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.flashscore.com/player/ssebaduka-sammy/xlfIMpND/
  2. https://www.soccer24.com/player/ssebaduka-sammy/xlfIMpND/
  3. 1 2 https://globalsportsarchive.com/people/soccer/sammy-ssebaduka/7978382/
  4. 1 2 https://www.kccafc.co.ug/player/james-mubezi-2/
  5. 1 2 https://thetowerpost.com/2020/11/05/meet-sammy-ssebaduka-the-canada-based-footballer-named-on-uganda-u20-national-team/
  6. https://yorkulions.ca/sports/mens-soccer/roster/sammy-ssebaduka/9716
  7. https://www.sofascore.com/player/sammy-raynald-ssebaduka/1988356
  8. https://insportline.pro/statistic-app/statisticpopup/player/1/624df20cf75a663f69b0c5ef
  9. https://e-scorespot.com/player/ssebaduka-s/561662
  10. https://www.kccafc.co.ug/new-signing-sammy-ssebaduka-puts-pen-to-paper/
  11. https://www.visoccer.com/player/ssebaduka-sammy/xlfIMpND/
  12. https://www.kccafc.co.ug/match-report-lugazi-fc-1-1-kcca-fc/
  13. https://kawowo.com/2020/11/06/ssebaduka-hopes-uganda-hippos-call-will-be-a-springboard-to-the-senior-team/
  14. https://www.newvision.co.ug/news/1531389/canada-ssebadduka-joins-hippos-u20-afcon-qualifiers#google_vignette