Jump to content

Samuel Sejjaaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Samuel Kisakye Sejjaaka Munnayuganda mubalirizi w’ebitabo, asoma era musuubuzi. Ye Mukulu w’essomero era nga ye mukulembeze wa ttiimu y’eggwanga mu ssomero lya MAT ABACUS Business School. [1] Wakati wa 1993 ne 2014, yasomesaako mu ttendekero lya waggulu erisinga obukadde mu Uganda, Makerere Yunivasite (oluvannyuma ne mu bbanguliro ly'ebya bizinensi erya Makerere University Business School) n’alinnya ku kifo ky’omumyuka w’omukulu w’essomero. Mu Gwekkuminebiri 2014, yawummula emirimu gy'ettendekero lino ku myaka 50. Oluvannyuma yayambako okutandikawo Abacus Business School, ettendekero ly’ebyenjigiriza erisinga obukulu mu Uganda. Mu 2019, essomero lya Abacus Business ly'egatta ku Kkampuni ya Management Accountancy Training Company (MAT) okukola essomero lya MAT ABACUS Business School.

Dr. Sejjaaka mu kutongoza ettendekero lya MAT ABACUS (2019)

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Samuel Kisakye Sejjaaka yazaalibwa nga 10 Ogwolubereberye 1964 mu ddwaliro ekkulu elya Mulago National Referral Hospital mu Kampala ekibuga ekikulu ekya Uganda ekisinga obunene. Ng’akyali mwana muto, yabeeranga ne famire ye Entebbe, ng’asomera mu ssomero lya St. Theresa ne ku Lake Victoria Schoola. Okusoma okumalirirza siniya ey'okuna n'eyomukaaga, yasomera mu Kings College Budo, essomero ly'abawala n'abalenzi elisangibwa mu Disitulikiti y’e Wakiso .

Okuva mu King’s College Budo, yeegatta ku Ssettendekero wa Makerere, n’afuna diguli mu by'obusuubuzi eya Bachelor of Commerce mu 1986. Eyo yagyongerezaako ne Diploma mu byuma bikalimagezi eya Diploma in Computer Science, nga nayo yagifunira Makerere mu 1988. Oluvannyuma yagenda mu University of Strathclyde mu Bungereza, n’afuna diguli ey'okubiri mu by’ensimbi mu 1990. PhD ye mu kubala ebitabo n’ebyensimbi yagufunira mu Ssettendekero wa Makerere. [2] Sejjaaka mmemba mu kibiina ekigatta ababalirizi b'ebitabo abakakasiddwa ekya Association of Chartered Certified Accountants era omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti eyakakasibwa .

Emirimu gye egy'ekikugu

[kyusa | kolera mu edit source]

Samuel Sejjaaka akolagana n'aba kkampuni y'ababalirizi b'ebitabo eya Sejjaaka, Kaawaase & Company, Certified Public Accountants. Kkampuni eno yali emu kw'ezo ezaali mu kibiina kya SNG Africa Group, ekitongole ekisinga obunene mu South Afrika eky’abaddugavu ababalirizi b'ebitabo n'ebyensimbi oluvannyuma eky'egatta ne Grant Thornton . [3] Yatandikawo kkampuni eno nga ab'ebuuzibwako mu nkola y'emirimu mu 1988 era mu kiseera kino y’emu ku kkampuni z’ababalirizi b’ebitabo esinga obunene mu Uganda. [4]

Dr. Sejjaaka aweerezza okuva mu 2015 nga Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Kkampuni y'eby'ensimbi eya UAP - Old Mutual Financial Services era nga Dayirekita wa kkampuni ekwasaganya eby'obulamu eya UAP Life Insurance okuva mu 2009. [5]

Dr. Sejjaaka yaliko omumyuka wa Ssentebe w’olukiiko era Dayirekita mu Stanbic Bank (Uganda) Limited, bbanka y’ebyobusuubuzi esinga obunene mu ggwanga okuva mu 2007 okutuusa mu 2017. [6]

Wakati wa 2012 ne 2018, yaweerezaako nga Ssentebe wa bbanka ya Uganda Development Bank (UDBL) ekitongole ekikola ku by’ensimbi mu nkulaakulana ekyatandikibwawo Gavumenti ya Uganda . Ekigendererwa ekikulu ekya UDBL kwe kutumbula n’okusonda ssente z’enkulaakulana mu bitundu by’ebyenfuna eby’enjawulo ng’essira eriteeka nnyo ku by'obulimi, amakolero, eby’obulambuzi, amayumba, n’ebyobusuubuzi. Mu kiseera kye yamala mu UDBL, enkyukakyuka eziwerako zakolebwa mu bbanka eno era nga waliwo n’abakozi abawerako abalekulira nga kino nakyo kyaleetawo entalo za kkooti eziwerako. [7] Wabula mu kiseera kye kimu, yaleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi ezaalaba ezaleetera bbanka okuzza eby'obugagga byayo ebyali bitakola n'ebifuula eby'amagoba saako n'okukyusa elinnya lyayo. Gavumenti nayo yawaayo ssente mu Bbanka eno ng'enyongereza ya bukadde bwa ddoola za Amerika 145, n'ekigendererwa eky'okuzza obuggya enkola ezo ezaali ziweddewo. Olwaleero Banka eno yeewaanira Fitch era yalondeddwa ekibiina ekigatta ebitongole by’ebyensimbi n'enkulaakulana mu Afrika ekya African Association of Development Finance Institutions (AADFI) ng’emu ku kitongole ekisinga mu kukulakulanya eby'ensimbi mu Africa. [8]

Okuva mu 2009 okutuuka mu 2014, yaliko omumyuka w’omukulu w’ebbanguliro ly'ebya bizinensi erya Makerere University Business School . [9] Oluvannyuma lw’okuva e Makerere mu 2014, yatandikawo essomero lye erya Abacus Business School (ABS) okusomesa n’okutendeka abakozi mu makolero ne bizinensi okweyoloola sekita ez'enjawulo n’emitendera gyonna egy’okuddukanya emirimu egy’omutindo ogwa waggulu. Mu 2019, Abacus Business School yafuuka MAT ABACUS Business School, ettendekero eryatandikibwawo oluvannyuma lw'okwegatta ne kkampuni etendeka abaddukanya emirimu n’okubala ebitabo eya Management and Accountancy Training Company (MAT).

Mu Gwokutaano 2019, Dr. Sejjaaka yalondebwa Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, okubeera ssentebe w’akakiiko k'abantu omusanvu akawabula ku by’ensimbi *IAC) mu nsawo y’amafuta, ekyetaagisa wansi w’akawayiro 66 ak’etteeka erifuga ensimbi za gavumenti (PFMA) 2015. Omulimu omukulu ogw’akakiiko kano kwe kuwabula ku nsimbi ezigenda okuteekebwa ku nsonga y'amafuta eya Petroleum Revenue Investiment Reserve (PRIR). Akakiiko kano kitundu ku nkola ya Gavumenti egenderera okukakasa nti byonna ebikolebwa ku mafuta ne gaasi, olw'okuba nga by'abugagga ebitazzibwa buggya bigobelera enkola y'omutindo gw'ensi yonna era saako n'okuganyula omulembe oguliwo n’ogunagya mu maaso. [10]

Mu Gusooka 2022, Dr. Sejjaaka yalondebwa okuba Ssentebe w’olukiiko olufuzi Daily Monitor /Monitor Publications, olupapula lw’amawulire olwetongodde olusinga obunene mu Uganda, okugatta ku ekyo, yalondebwa nga Non-Executive Director owa Nation Media Group, ekibiina ekigatta emikutu gy’amawulire, ekisangibwa mu kibuga Nairobi ekya Kenya era nga emigabo gyayo giwandiikiddwa ku katale k’emigabo e Nairobi era nga giwandiikiddwa ne ku lukalala lwa Uganda Securities Exchange, ng’erina emigabo egifuga ebyo ebifulumira mu Monitor. [11]

Obumanyirivu bwe mu mirimu mulimu emyaka egisukka mu 25 mu nzirukanya y’ensimbi za gavumenti n’enkola egobererwa. [12] Yakolako ne Minisitule y’ebyensimbi, enteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna nga eyebuuzibwako ku nsonga z'eby'ensimbi n'enkola ezigobererwa mu bitundu by’ensaasaanya ya gavumenti, okuddukanya embalirira, n’okuteekateeka enkola ezigobererwa mu kusaasanya ensimbi. Era abaddeko ng’omuwi w’amagezi ku by’ensimbi era omubalirizi w’ebitabo mu bibiina bya gavumenti n’eby’obwannannyini okumala emyaka egisoba mu abiri mu etaano. [13]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://matabacus.ac.ug/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2025-01-18. Retrieved 2025-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.iol.co.za/business-report/companies/grant-thornton-and-sng-integration-advances-16051952
  4. http://samuelsejjaaka.com/sejjaaka-kaawaase-company
  5. https://www.bloomberg.com/research/stocks/private/person.asp?personId=401866413&privcapId=24351707&previousCapId=24351707&previousTitle=UAP%20Holdings%20Limited
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-16. Retrieved 2025-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1327786/igg-arrests-udbl-officials
  8. https://www.udbl.co.ug/udbl-rated-the-best-performing-african-dfi/
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-15. Retrieved 2025-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-19. Retrieved 2025-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.ceo.co.ug/prof-samuel-sejjaaka-appointed-new-board-chairman-of-monitor-publications-limited/
  12. http://www.udbl.co.ug/about-us/board-of-Directors
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2025-01-18. Retrieved 2025-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]