Jump to content

Samuel Turyagyenda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Samuel Turyagyenda Munnayuganda, muserikale wa poliisi, omuvuzi w'ennyonyi nnakinku era omuserikale w'amagye . Yaliko omuduumizi w'eggye ly'omu bbanga erya Uganda People's Defence Force (UPDF). Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwokutaano 2013, [1] ng’abadde omumyuka w’omuduumizi w’eggye lya Uganda Air Force, amangu ddala nga tannalondebwa. [2] Yawummula mu Gwousanvu 2019. [3]

Obuto bwe n’okutendekebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Samuel Turyagyenda yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Rukungiri mu 1952. Okuva mu 1973 okutuusa mu 1976, yasomera mu nsi eyali Soviet Union, n’afuna Diploma Commercial Civil Aviation, ate nga mmemba wa Uganda Police Force . Mu 1986, yasomera mu Libya, nga yali akola essomo lya Conversion Course ku nnyonyi ekika kya nnamunkanga MI-8 / MI-17 . Era yetaba mu musomo gwa gw’okuduumira ennyonyi n’abakozi ku nkamb ya Maxwell Air Force Base, mu Montgomery, Alabama, Amerika. Oluvannyuma, yakola omusomo gwa nnamunkanga ogw’okwejjukanya mu kibuga Kazan, Russia. Era yayongerako kkoosi ku Commercial Rotorcraft mu Amerika, mu 1997. Oluvannyuma yetaba mu musomo gw’okukyusa n'okubonga ennyonyi mu Bell Helicopter Training College mu Hurst, Texas ekya Amerika. [1]

Obuweereza bwe mu maggye

[kyusa | kolera mu edit source]
Turyagyenda (wakati) ku Entebbe Air Base

Samuel Turyagyenda yakola nga omjsirikale wa poliisi, mu Uganda Police Force, okuva mu 1973 okutuuka mu 1985. Mu 1986, yakyuka n’adda mu ggye ly'abayeekera eryaNational Resistance Army . Abaddeko nga Squadron Commander of the MI-17 Helicopters, mu ggye lya Uganda erya Uganda People's Defence Forces . Oluvannyuma yafuuka Dayirekita w'eggye lya Uganda Air Force . Yali mumyuka w'omuduumizi w'amagye g'omu bbanga ku ddaala lya brigadier, amangu ddala nga tannakuzibwa ku bwa major general n'okulondebwa mu kifo ky'alimu kati [4] ng'omuduumizi w'eggye ly'omu bbanga erya UPDF era nga ye Chief Pilot wa nnamunkanga ya Pulezidenti . [5]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mufumbo era alina abaana mukaaga. Wa nzikiriza ya Kikulisitaayo .

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
  2. https://www.usafe.af.mil/news/story?id=123284938
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1523633
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-21. Retrieved 2025-08-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.newvision.co.ug/news/643116-katumba-wamala-new-cdf.html

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]